Amawulire
Mayiga akubiriza abafumbo okukola enyo
Bya Prossy Kisakye, Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga, akubiriza abafumbo okukola enyo kibasobozese okwegobako obwavu obuvirideko abafumbo bangi okufuna obutakanya oluusi nóbufumbo okusasika. Ono okwogera bino asinzidde ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo, bwabadde ayogerako nékibiina kya Bafumbo ekya Tuesday Class okuva ku […]
Ogwókuggala ensalo gulamuddwa
Bya Ruth Anderah, Kkooti etawuluza amawanga agali mu buvanjuba bwa ssemazinga Africa eya East African Court of Justice enenyeza gavt ya Rwanda okuggala ensalo mu bitundu ebyókunsalo ne Uganda okuli Cyanika Gatuna ne Mirama Hills. Abalamuzi abatuula mu kkooti eno nga bakulembeddwamu, DR.Yohane Masara bagambye […]
Abasomesa balagiddwa okudda ku mirimu obutassuka lwa kutaano
Bya Benjamin Jumbe, Govt okuyita mu minisitule evuananyizibwa ku bakozi ba gavt eragidde abasomesa bonna mu masomero ga gavt okudda ku mirimu obutasuka lwa kutaano luno nga 24th June 2022 abatakikola tebejjusanga. Mu bbaluwa gyebawandikidde ekibiina omwegatira abasomesa mu ggwanga, omuwandiisi owenkalakalira mu minisitule eno […]
Aba EC batangaziza ku bukulembeze bwa NUP obutuufu
Bya Juliet Nalwooga, Akakiiko k’ebyokulonda katangazizza ku bukulembeze obutuufu obw’ekibiina kya National Unity Platform (NUP). Endoliito mu kibiina zzatusse oluvanyuma lwa Moses Kibalama omutandisi w’ekibiina kino ne Paul Simbwa okuggulawo wofiisi yekibiina e Rubaga, gyebagamba nti webagenda okutuula era ky’ekibiina ekituufu songa ne kitebe e […]
NUP eyogedde kubya Kibalama okutongoza yafeesi zékibiina endala
Bya Prossy Kisakye, Abavuganya gavumenti abekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddemu omwasi ku lutalo olwabaluseewo waati waabwe nekiwayi ekirala ekikulemberwa Moses Kibalama Nkonge. Olunnaku lweggulo abakulu bano baliko wofiisi gyebaguddewoe Rubaga nebakakasa nti wewagenda okutuula ekibiina ekituufu, era ekyawandisiddwa. Bagamba nti baliko byebaali bakanyako […]
Akakiiko kébyókulonda kogedde ku bya Kibalama okukola yafeesi za NUP e Rubaga
Bya Benjamin Jumbe, Akakiiko ke byokulonda kakakasiza okufuna ebbaluwa eraga okuyusa mu bukulembeze bwe kibiina kye byobufuzi ekya National Unity Platform Party. Bino byogeddwa amwogezi wa kakiiko ke byokulonda Paul Bukenya, agambye nti ebbaluwa ebaweereddwa Paul Ssimbwa Kagombe. Bukenya agambye nti akakiiko kakuteeka ekitiibwa mu […]
Abayekera ba M23 bogedde
Bya Robert Muhereza Abayekera ba M23 abali mu kulwanagana námaggye ga gavt ya DRC bavudeyo ne bategeeza nti bakwanukula ku byasaliddwawo abakulembeze ba mawanga agali mu mukago gwa East African Community ebyatukiddwako olunaku lweggulo. Kino kidiridde abakulembeze okusisinkana mu kibuga Nairobi e Kenya akawungeezi akayise […]
Palamenti ewagidde eggye eryawamu okugenda e Congo
Bya Prossy Kisakye, Ssentebe wa kakiiko ka palamenti akakola ku byókwerinda Rosemary Nyakikongolo ayaniriza ekyókusindika eggye eryawamu mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo. Bwabadde ayogerako ne banamawulire ku palamenti, Nyakikongolo agambye nti eggye lino lyalwawo nókugendayo kuba olutalo luno lusanyalaza entambula ye mirimu mu […]
Museveni atendereza aba UPDF ku kikwekweto kya Shuja
Bya Benjamin Jumbe, Omuk weggwanga Museveni atendereza eggye lye ggwanga erya UPDF olwómulimu gwe bakoze mu kikwekweto kya Shuja, mwebalwanyisa abayekera ba ADF abaasimba amakanda mu buvanjuba bwa DR Congo. Amawulire agava mu ddwaniro galaga nti mu kiseera kino abayekera bali mu kusasaanira mu lusozi […]
Kaliisoliiso asesemeza abakungu sente
Bya Benjamin Jumbe, Kalisoliiso wa gavumenti alagidde abakungu mu minisitule yebyobulimi 15, bakomyewo obuwumbi 9 kigambibwa zebabulankanya. Abakulu ku ttendekero lyebyobulimi erya Bukalasa Agriculture College and Fisheries training institute babadde banonyerezebwako ku buwumbi 9 Okusinziira ku kunonyereza, minisitule yawa amatendekero gebyobulimi gamirundi 2, ssente mu […]