Bya Ruth Andearah,
Eyali akulembera ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye kooti ya Buganda Road temuwadde kweyimirirwa ngomulamuzi agambye nti tewali bukakafu nti taddemu kuzza emisango gyegimu.
Omulamuzi we ddaala erisooka Asuman Muhumuza agambye nti Besigye ne Lubega Mukaku bwebavunanibwa nga bwebakwatibwa ku misango gyegimu egyokukuma omuliro mu bantu, mu wiiki bbiri emabega.
Omulamuzi agambye nti alina ekkatala…
Bya Benjamin Jumbe,
Ssabaminisita Robinah Nabbanja asabye bannauganda okuwagira gavumenti mu pulogulamu yaayo eya Parish Development Model.
Bino abyogedde atongoza alipoota ku bitukidwako mu kutukkiriza ebirubirirwa bya gavt ebyenkulakulana.
Ono agambye nti pulogulamu eno ekwatagana bulungi ne birubirirwa bya gavt kuba egenderedde okuyamba abantu okwongera ku byenfuna byabwe.
Mungeri yemu Nabbanja minisita omubeezi owa guno na guli mu yafeesi…
Bya Ivan Ssenabulya
Ekikwekweto kigenda mu maaso ku kyalo Kikuba-Jinja Piida mu Kasana Luweero, eggye lye ggwanga erya UPDF ligezako okwetegereza enkambi egambibwa okuba eya bayekera ba ADF gyebagudeko.
Omwogezi we ggye lye ggwanga erya UPDF Brig Gen Felix Kulaigye olunaku lweggulo yakakasiza nga bwebagudde ku nkambi eno
Kati mu kwogerako ne radio eno, omu ku batuuze atubuulidde…
Bya Robert Muhereza
Abóbuyinza mu disitulikiti eyé Kisoro beelalikirivu olwomuwendo gwa banonyi bobubudamo okuva mu DRC abakwatibwa akawuka ka covid-19 mu kambi eye Nyakabande.
Bino okubaawo ngokulwanagana wakati wa bayekera ba M23 námaggye ga gavt kugenda mu maaso mu kibuga kye Bunagana.
Omubaka wa gavt e Kisoro Hajji Shafiq Sekandi era nga ye sentebe wa kakiiko akalwanyisa ekirwadde…
Bya Moses Ndaye,
Abakugu mu byenfuna banyonyodde nti amateeka ku byenfuna agaliwo, tegayinza kugonjoola ekizbu kyokulinnya kwebbeyi yebintu.
Asad Lukwango, nga mukugu okuva ku kitongole kya KPMG-Uganda agambye nti ebizibu ebyaletebwa olutalo lwa Russia mu Ukraine nebirala ebyekuusa ku muggalo gwa ssneyiga omukambwe mu China bikosezza entambula yebyamaguzi.
Ono agambye nti ekituufu mpaawo Uganda kyeyinza kukola, okujjako okulinda…
Bya Prossy Kisakye,
Abalwanirizi béddembe lya bakyala balabudde bannauganda okukomya okwerimbika mu byóbuwangwa okumenya amateeka
Kino kidiridde akatambi ka vidiyo akalaze abaana abobuwala nga kumpi bali bukunya bwebadde mu mweleso gwe byóbuwangwa ogwa Elgon cultural gala e Mbale nga amabeere gali bweru bagasizeko langi ne bitundu byabwe ebirala ebyómubiri nga tebisabikiddwa bulungi
Mu katambi kano abawala bano babadde…
Bya Ndaye Moses,
Abavubuka wansi wekibiina ekibagatta ki National Youth Council batiisatiisiza okugaana omutemwa gwensimbi ze balina okufuna mu pulogulamu ya gavt eya Parish Development singa gavt tebawa ebitundu 30% nga bbo ku mutendera ogwawansi.
Ssentebe wékibiina kino Jacob Eyeru, anyonyodde nti gavt yali yabasuubiza omutemwa guno okugubawa bokka nga tegugatibwa ku balala wabula kino tekikolebwa songa…
Bya Benjamin Jumbe,
Omukulembeze weggwanga Museveni asabye bannabyabufuzi okuwagira gavt muntekateeka yaayo eyókulaba nti abayizi bonna mu ggwanga ku mutendera ogwa pulayimale ne sekendule basomera bwerere.
Bino abyogedde ayogerako eri abakungu abakunganidde ku kisaawe e Kololo mu kusoma embalirira ye ggwanga oluvanyuma lwokukitegeera nti yadde nga mu pulayimale bayingira bangi ate mu sekendule batono abamaliriza.
Ono agambye nti…
Bya Benjamin Jumbe,
Mu mbalirira yómwaka gwensimbi ogujja, Gavt essira elitadde kukya nfuga eri wansi wa mateeka, okulwanyisa enguzi nókunyweza ebyokwerinda.
Bino byogeddwa minisita owebyensimbi Matia Kasaija mu kusoma embalirira ye ggwanga eyomwaka gwensimbi 2022/23 ku kisaawe e kololo.
Omukolo gwetabidwako nómuk weggwanga YK M7, Ababaka ba palamenti, na bakwatibwako ensonga.
Agambye nti embalirira era egenda kutunulira nyo pulogulamu…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kya Democratic Party nenyamivu olwa gavt okulemerwa okuteeka ensimbi mu bintu ebigasa bannuganda mu mbalirira ye ggwanga
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti ebyóbulimi ebiyimirizawo bannauganda abakola ebitundu 80% byaweereddwa ebitundu 2.64%.
Agambye nti kino kikontana ne byatukibwako mu Maputo Declaration 2003 eragira…