Bya Juliet Nalwooga,
Minisita owebyenjigiriza ebisokerwako Joyce Moriku Kaducu asabye abasomesa wansi wekibiina ekibagatta ekya Uganda National Teachers' Union (UNATU) okuyimiriza akediimo kaabwe baddeyo ku mirimu.
Bwabadde ayogerera mu kutongoza ebikujjuko byekitongole kya National Curriculum Development Centre (NCDC) ekibaga ebisomesebwa ebyemyaka 50 minisita agambye nti akediimo kagenda kugotaanya okutekesa mu nkola curriculum empya.
Asabye abasomesa okutukirira minisitule yebyobulamu…
Bya Ruth Anderah,
Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu 3 bakaksizza okulondebwa kw’omubaka Paul Nsubuga ngomubaka wa Busiro North.
Abalamuzi babadde bakulembeddwamu amyuka Ssabalamuzi Richard Buteera nga bagobye omusango ogubadde gwawaabwa Edgar Lubadde eyajulira ngawakanya ennamula yomulamuzi wa kooti enkulu Winfred Nabisinde.
Ennamula eno esomeddwa omuwandiisi wa kooti Lillian Buchana, nga basoose kugoba okusaba okubadde kusaba obudde, okuwa oba okusavinga…
Bya Prossy Kisakye,
Ssentebe wékisinde ekya People’s Front for Transition Dr Kiiza Besigye agombedwamu obwala olunaku lwa leero oluvanyuma lwokukuba poliisi ekimooni nafuluma amakage nayingira ekibuga mu ntekateekaye eyókuwakanya ekye beeyi ye bintu eyekannamye.
Besigye nga yavuganyako ne kuntebbe eyomukulembeze weggwanga enfunda nya, omwezi oguwedde lweyatandika okutambuza ebigere nga awakanya ekya gavumenti okusirika obusirisi nga bannauganda bakaaba…
Bya Ivan Ssenabulya,
Minisitule ey’eby’obulamu erangiridde abantu 82 okuba nti balina ekirwadde kya covid ate waliwo nómuntu omu afudde ekirwadde okusinzira kubyavudde mu musaayi nga 11 June 2022.
Mu balwadde abapya Kampala erinako (67), Wakiso (11), Yumbe (1), Jinja (1), Mukono (1) ne Mbarara (1).
Minisitule enokodeyo Kampala ne Wakiso okuba nti zezisingamu obulabe bwekirwadde kati.
Uganda yakafuna abalwadde…
Bya Ivan Ssenabulya,
Eyali omuwandiisi owenkalakalira mu minisitule eye byensimbi Keith Muhakanizi, ne yali omumyukawe Patrick Ocailap ne yali dayirekita wa wa Budget at Finance Ministry Kenneth Mugambe balabiseeko leero mu kakiiko ka palamenti akalondoola ebintu bya gavt aka COSASE. okutangaza ku byafulumira mu alipoota Auditor General kunkola ya kakiiko ke byettaka.
Ssentebe wa kakiiko kano Nakawa…
Bya Prossy Kisakye ne Rita Kemigisa,
Akakiiko akalwanirira eddembe lyobuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission kasabye gavumenti okwongerwa kunsimbi basobole okwanguyirwa nga bakola egyabwe.
Bino byogeddwa ssentebe wa kakiiko Mariam Wangadya bwabadde awaayo alipoota yabwe ekwata ku ddembe lyobuntu eyo mwaka 2021 eri amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa.
Ono agambye nti bulijjo bafuna ensimbi ntono okusinzira…
Bya Prossy Kisakye,
Minisitule eye byobulamu eri mu kunonyereza ku byómwana agambibwa okuba nti yagemebwa ekirwadde kya covid ku SSomero nayononeka ebitundu bye ebyomunda.
Kigambibwa nti Jonah Luyinda nga muyizi ku ssomero lya St Martin Janya secondary school mu disitulikiti yé Mpigi yagemebwa ne banne ku ssomero kunkomerero yomwezi ogwokubiri bbo ne bafuna okukosefu obutonotono ate ye…
Bya Rita Kemigisa,
Abasuubuzi bómu kampala abakakalabiza emirimu gyabwe mu akeedi bawakanya etteeka erikwata ku land loodi nómupangisa elyayisibwa.
Omukulembeze weggwanga gye buvudeko yatadde omukono ku mateeka 8 nga ne lino mwolitwalidde.
Mu tteeka lino omupangisa ne landiloodi batekeddwa okukola endagano nga omupangisa tanayingira nyumba.
Wabula sentebe wekibiina omwegatira abasuubuzi abakakalabiza emirimu mu bizimbe byomu akeedi ki Kampala Arcade…
Bya Prossy Kisakye,
Ssabaminisita Robinnah Nabbanja, yeyamye okulwanyisa obulyake nga ye yambisa ekifo kye.
Bino abyogedde ayogera ku pulogulamu ye Ebigambo Tebitta ku NTV mu kujjukira nga bwawezeza omwaka mulamba nga awereza nga ssabaminisita.
Nabbanja agambye nti Uganda yali badde wala singa abakulembeze beewaayo ne bamalirira okulwanyisa obuli bwenguzi obulemeseza eggwanga okugenda mu maaso mu byenkulakulana.
Ono agambye nti…
Bya Ivan Ssenabulya,
Minisitule evunanyizibwa ku byóbulamu mu ggwanga ewakanyiza ebigambibwa nti yakugema abaana be ggwanga ku buwaze okuva eri ekirwadde kya covid-19 mu masomero.
Amyuka kamisona avunanyizbwa ku byókugema, Dr Alfred Driwale, yategeeza mu ssabiiti eno nti minisitule yakugema abaana wakati wemyaka 5-17 okuva eri ekirwadde kya covid-19
Ono yabadde agambye nti bakugema abaana bano awatali kufuna…