Amawulire
Okutegeka ebifo ebirondebwamu obukiiko bwábakyala kuwedde
Bya Prossy Kisakye ne Juliet Nalwooga, Akakiiko ke byokulonda kamaliriza entekateeka eyokulamba ebifo ebirondebwamu ku mutendera gwe kyalo, emiruka, amagombolola ne ku disitulikiti mu kwetegekera okulonda kwa bakyala. Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, ssentebe wa kakiiko kano, Simon Byabakama,agambye nti akakiiko kamaliriza okutegeka ebifo […]
Nyanjula ne banne basindikibwa ku alimanda
Bya Ruth Anderah, Amyuka Loodi Meeya wa Kampala Doreen Nyanjura nómubaka omukyala owa disitulikiti yé Soroti mu palamenti Anna Adeke, ne banabwe abalala 6 badizidwayo ku mmere e Luzira Oludda oluwaabi lutegezeza kkooti nga bwebetaagayo akadde okwekenenya ebiwandiiko ebireetebwa ababadde bagenda okweyimirira abavunanwa. Omulamuzi Augustine […]
Lukwago mwenyamivu olwa KCCA obutalondoola bizimbe ebitali ku mutindo
Bya Prossy Kisakye, Loodimeeya wa Kampala Elias Lukwago mwenyamivu olwa badukanya ekitongole ekidukanya ekibuga Kampala, ekya KCCA okulemererwa okukangavula abazimba ebizimbe ebitali ku mutindo mu kibuga ekivaako okutendewalirwa ne biggwa ne bisanyawo obulamu bwantu. Lukwago okwogera bino asinsindde ku City Hall mu kampala bwabadde awa […]
Poliisi erungamiza kuntambula yébidduka ku lunaku lwa bajjulizi
Bya Rita Kemigisa, Ngennaku ebula 3 okutuuka ku lunaku lwa bajjulizi okukuzibwa buli nga 3 june e Namugongo, poliisi efulumiza entabula ye bidduka nga byenabeera ku lunaku olwo. Addumira poliisi ye bidduka mu kampala ne miriraano, Rogers Nsereko mu kiwandiiko kyafulumiza agambye aweze siteegi za […]
Omulamazi afudde ngayakatuuka e Namugongo
Bya Rita Kemigisa, Omu ku balamazi okuva mu West Ankole Diocese, afudde bwebabadde batuuka ku kiggwa kyaba-Anglican e Nakiyanja. Omugenzi ye Jackline Alinaitwe, abadde wamyaka 49, ngabadde mutuuze kukyalo Katerera mu disitulikiti ye Rubirizi. Rev Sam Katagye, yeyakulembeddemu abalamazi abali mu 100 okuva mu West […]
FDC evumiridde engeri poliisi gyekuttemu abakyala bannakibiina ababadde beekalakaasa
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kye byóbufuzi ekya FDC kivumiridde engeri abakyala ba FDC abakedde okwekalakaasa mu Kampala olwe bbeeyi ye bintu eyekanamye mu ggwanga gye bakwatibwamu poliisi. Enkya ya leero poliisi e Wandegeya ekutte abakyala banakibiina ki Fdc ababadde beekalakaasa olwebbeeyi yebintu okubeera waggulu enyo […]
Poliisi ekutte Omusawo lwa kusobya ku mulwaddewe
Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi mu disitulikiti eye Mbale eriko omusawo atemera mu gyobukulu 25 gyetadeko obunyogoga ku bigambibwa nti yasobeza ku mulwaddewe owemyaka 15. Omukwate ye kigambibwa nti omusango yaguddiza ku ddwaliro ku kyalo Bujoroto mu Northern city Division. Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu […]
Abóbuyinza beeralikiridde olwa baana abakonziba olwéndya embi e Kabongo
Bya Moses Ndaye, Omuwendo gwa abaana abali wansi wemyaka 5 abakonziba olwendya embi gwelalikiriza abóbuyinza mu disitulikiti yé Kabongo. Okusinzira ku ssentebe wa distulikiti eno, Mary Gimo ku baana batono mu disitulikiti eno osangako 2 nga baakonziba olwendya embi. Kino akitadde ku mbeera eyobubbi bwente […]
Omuliro gukutte ekkolero lya Sukaali wa Kakira
Bya Abubaker Kirunda, Poliisi mu disitulikiti ye Jinja etandise okunonyereza ku nnabambula womuliro ogukutte ekkolero lya Kakira sugar factory limited. Omwogezi wa poliisi yé Kiira James Mubi agambye nti omuliro guno ogubadewo mu matumbi budde gukutte ettelekero lye bikajjo ne bintu ebirala ebintu bya bukadde […]
Eyatta omuntu asibiddwa emyaka 50
Bya Ivan Ssenabulya, Kkooti enkulu e Mukono eriko omusajja gw’esindise mu nkomyo yebakeyo emyaka 50 oluvanyuma lw’okusingizibwa omusango ogw’okutta omuntu Omuvunaanwa ye Peter Bukenya ow’emyaka 49, nga yeyali ow’ebyokwerinda ku kyalo Tagoye mu district y’e Kayunga. Omuwaabi wa gavumenti George Bigirwa ategezezza kkooti nga Bukenya […]