Amawulire
Gavt esomoozeza bannauganda ku butonde bwensi
Bya Benjamin Jumbe, Gavumenti esoomozeza bannauganda buli omu okubaako kyakola okutaasa obutonde bwensi. Bino byogeddwa minisita owa mazzi nóbutonde bwensi Sam Cheptoris, ngeggwanga lye teekateeka okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lwobutonde olwa world Environment day olubeerawo bulinga 5th June Minisita alaze obwetaavu obwokukuuma obutonde okwewala […]
Winnie Kiiza asabye abakyala bayambibweko mu kukulakulana mu by’ensimbi
Bya Prossy Kisakye, Eyali akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kiiza, alaze obwetaavu obwokuwagira abakyala mu byensimbi basobole okuba ne mbavu ezetaba mu byóbufuzi. Bino abyogedde ayogerera mu lukungana olwa bakwatibwako ensonga e’zokulonda kwábakyala nóbukiiko bwabwe olutegekeddwa ekibiina kya Netherlands Institute of Multiparty Democracy […]
Omubaka Moses Okia agobeddwa mu palamenti
Bya Ruth Anderah, kkooti eno egobye omubaka wa soroti city east mu palamenti, Moses Okia, eragidde okulonda kuddibwemu nga bagoberera ebifo ebituufu ebirondebwamu. Abalamuzi 3 okuli Cheborion Barishaki, Stephen Musota ne Christopher Gashirabake bakkiriziganyiza nómulamuzi wa kkooti enkulu e Soroti, eyasooka okuwakanya okulondebwa kwa Okia […]
Jim Muhwezi akakasiddwa ngómubaka wa Rujumbura county mu palamenti
Bya Ruth Anderah, Kkooti ejjulirwamu ekakasiza okulondebwa kwa minisita owe Jim Muhwezi,ngómubaka wa Rujumbura County mu palamenti. Munnakibiina kya FDC Fred Turyamuhweza. Yeyawalawala Muhwezi mu kkooti. Muhwezi yawangula Turyamuhweza nóbululu 23,990 ate ye nafuna obululu 20,556 Wabula Turyamuhweza teyakkiriza byava mu kulonda bweyategeeza nti okulonda […]
Kkooti ekakasiza omubaka Nsegumire
Bya Ruth Anderah, Kkooti ejjulirwamu egobye omusango gwe byokulonda eyavuganya ku bubaka bwa palamenti mu kifo kya Mityana North, Dr Gordon Sematiko Katende mwawakanyiza obuwanguzi bwómubaka Nsegumire Muhammad Kibedi. Abalamuzi basatu abagubadde mu mitambo okuli Geoffrey Kiryabwire, Stephen Musota ne Christopher Gashirabake bategezezeza nti omusango […]
FDC ekubye ebituli mu kwogera kwa Pulezidenti
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kye byobufuzi ekya FDC kinyoomye okwogera kwomukulembeze weggwanga akiro ekiyise nga kigamba nti ebya Museveni okugamba bannauganda okutandika okukekereza tebikola nga ye wakozesa buwanana bwa nsimbi mu mbalirira yomwaka gwe byensimbi ogujja. Olunaku lweggulo bweyabadde ayogerako eri eggwanga ku miwendo gye […]
Abalamazi okuva e Fortpotal basimbudde
Bya Rita Kemigisa, Abalamazi abali mu 1000 basimbudde olwaleero okuva e Fort-Portal okwolekera Namugongo ku kiggwa kyabajulizi. Bano basimbuddwa omulabirizi Robert Muhirwa ku ssaawa 9, oluvanyuma lwa mmisa yakawungeezi. Omwogezi wakakiiko akategeka okulamaga kwomwaka guno mu ssaza lye Fort Portal Stephen Alinaitwe agambye nti baakoze […]
Besigye azeemu okukwatibwa
Eyali akulembera ekibiina kya FDC Dr Kizza Besigye nate akwatiddwa poliisi bwabadde ava awakaawe e Kasangati mu Wakiso. Besgigye baali baamuggalira mu maka ge wiiki ewedde bweyaddamu okutambula ngawakanya okulinnya kwebbeyi yebintu. Amakya ga leero Besigye akaladde nalayira nti tajja kugondera biragiro byakubeera mu nnyumba […]
EU esabye Gavt ku mutindo gwómubisi gwénjuki
Bya Moses Ndaye, Omukago gwa bulaaya ogwa European Union gusabye gavt ya Uganda okulaba nti omubisi gwe njuki ogukungulwa wano guli ku mutindo gwensi yonna. Okusinzira ku amyuka kamisona owebikolebwa mu Minisitule eyebyobulimi of the agriculture industry and Fisheries, Lawrence Uganda erina obusobozi obufulumya tani […]
Abé Manafwa basibye okutambula kw’e Bisolo olwékirwadde
Bya Prossy Kisakye Gavumenti erangiridde kalantini ku bisolo mu disitulikiti yé Manafwa oluvanyuma lwe kirwadde kya Kalusu okubalukawo mu disitulikiti yé Budada. Okusinzira ku bbaluwa efulumiziddwa akulira abakozi mu disitulikiti eyo, peter Henry Wotunya, ekiragiro kino kitandikiddewo okukola. Ono agambye nti oluvanyuma lwensisinkano nábakulembeze mu […]