Amawulire
Abatunulizi bébyókulonda kibawedeko ku byabadde mu Omoro
Bya Rita Kemigisa, Abalondoola ensasanya ya ssente mu byobufuzi wansi wekibiina ki Alliance for Finance Monitoring (ACFIM) bakubye ebituli mukudamu okulonda omubaka wa palamenti mu disitulikiti ye Omoro Abantu 6 bebavuganyizza mu kulonda kuno okwawanguddwa owa NRM Andrew Ojok eyali mutabani womugenzi Jacob Oulanyah. Bwabadde […]
Besigye asuzze mu Komera e Luzira
Bya Ruth Anderah, Eyavuganyako kuntebbe eyobuk bweggwanga enfunda nya era nga yakulembera ekisinde kya People Front for Transition (PFT), Dr.Kiiza Besigye asimbiddwa mu kkoti navunanibwa emisango okuli okukuma omuliro mu bantu nagyegaana. Besigye agaanye n’okusasula obukadde bwensimbi 30 nga akakalu asobole okweyimirirwa Omulamuzi wa kkooti […]
Gavt yasasanya obuwumbi 137 ku balwadde b’emitwe omwaka oguwedde
Bya Juliet Nalwooga, Ssenkulu weddwaliro ekkkulu eryemitwe, Butabika National Referral Hospital nga ye Dr Juliet Nakku ategezezza nga gavumenti bweyasasanya obuwumbi 137 mu bujanjabi bw’obwongo mu mwaka gwa 2021. Bwabadde ayogerera mu lukungaana olukwata ku birwadde byemitwe olutudde e Bugolobi, Dr Nakku agambye nti wabaddewo […]
Bannauganda basabiddwa okwongera okuggumira embeera ku beeyi y’ebintu
Bya Rita Kemigisa, Minisitule yébyensimbi esabye bannauganda okugumira emiwendo gye bintu egyekanamye kuba okupapira okuvaayo ne byokudamu kyakukosa ebyenfuna gye bugya. Bwabadde ayogerera mu musomo ogukwata ku beeyi ye bintu, minisita omubeezi owa guno na guli mu minisitule ye byensimbi Henry Musasizi, agambye nti gavt […]
Vanilla wakukungulwa nga 7 omwezi ogw’omusanvu
Bya Jumbe Benjamin, Minisita omubeezi avunanyizibwa ku byobulimi Fred Bwino, alangiridde ennaku zomwezi 7th July 2022 ngólunaku olwokukungulirako ekirime kya Vanilla okwetoloola eggwanga wabula abalimi balabuddwa obutagezako kukungula atakuzze bulungi. mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, minisita agambye nti omutindo gwa vanilla wa uganda gweyongedde […]
Omusamize eyatta omulwaddewe asingisiddwa emisango
Bya Ivan Ssenabulya, Kkooti enkulu etula e Mukono eriko omusawo w’ekinnansi gw’esingisiza emisango 6, nga kuliko 5 gyakusaddaaka muntu n’ogumu gwakuwamba muntu eyali agenze okumusawula. Omuvunaanwa ye Mohammed Wamala ow’e myaka 39 nga musawo w’ekinnansi ku kyalo Kisoga ekisangibwa mu disitulikiti ye Kayunga. Oludda oluwaabi […]
Kaliisoliiso wa Gavt yegaanye obuwmbi bw’ensimbi 10.6
Bya Prossy Kisakye, Eyaliko Minisita avunanyizibwa ku bye ttaka yegaanye okuba ne kyamanyi ku buwumbi bwensimbi 10 nobukadde 600 ezafulumira mu mbalirira yenyongereza. Bwalabiseeko eri akakiiko ka plamenti akavunanyizbwa ku bitongole bya gavt, Kamya agambye nti ye yali agoberera biragiro bya mukulembeze era yakoma kukuwandiika […]
Poliisi e Jinja ewenja Omuzamize eyasobeza ku mulwaddewe
Bya Abubaker Kirunda, Poliisi mu kibuga ky’e Jinja ebakanye nomuyiggo ku musawo wekinnansi agambibwa okusobya ku mukazi eyabadde agenze okumusawula. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira James Mubi agambye nti bino byabadde ku kyalo Budondo mu Jinja North. Mubi agambye nti omukazi ono yabaddeko ebyokoola, […]
Museveni akunze abé Omoro okulonda munna NRM Ojok
Bya Benjamin Jumbe, Omuk weggwanga Museveni eranga ye ssentebe wékibiina kya NRM akunze abakulembeze nábantu bé Omoro okuwagira munna NRM mu kudamu okulonda omubaka wa palamenti owa Omoro county. Bino abyogeredde mu kunonya akalulu Adrew Ojok Oulanya mu konsituwensi eno. Museveni akawungezi kaleero asuubirwa okukuba […]
Akakiiko ké byókulonda kasabiddwa okumanyisa bannauganda ku kulonda kwábakyala
Bya Prossy Kisakye, Abatunulizi bébyokulonda mu ggwanga bagamba nti bannauganda obutenyigira mu kulonda kwa bakyala kiva ku butasomesebwa kimala kumanya bukulu bwa kulonda kuno. Bino byogeddwa Charity Ahimbisibwe, eyali akulira ekibiina ekirondoola ebyokulonda mu ggwanga ekya CCEDU, bwabadde ayogerera mu lukungana olutegekeddwa ekibiina kya Netherland […]