Amawulire
Alupo avudeyo ku byókutaasa obutonde
Bya Benjamin Jumbe, Amyuka omukulembeze weggwanga Jessica Alupo alaze obwetaavu obwokukwatira awamu mu kutaasa obutonde bwensi. Okwogera bino abadde atongoza kawefube owokusimba emiti mu bitundu bye Entebbe. Alupo agambye nti kawefube ono agenderedwamu okulwanyisa obulabe obuli mu kusanyawo ebibira era agambye nti gavt erina ekirubirirwa […]
Palamenti eyisiza embalirira ya 2022/23
Bya Rita Kemigisa, Palamenti eyisiza embalirira yomwaka gwe byensimbi 2022/23 yabusse 48.1 era essira litereddwa mu kubulula ebyenfuna bye ggwanga oluvanyuma lwokukosebwa ekirwadde kya Covid-19. Embalirira eyo yakuwagirwa wansi womulamwa “okuwagira amakolero ne kigendererwa kyokuleeta enkulakulana. Embalirira yomulundi guno yeyongeddeko nobusse 3.3 okuva kubusse 44.7 […]
Bannamagoye balajanidde Gavt
Bya Prossy Kisakye, Banamagoye mu ggwanga lino bazzemu okusaba Gavumenti okugya omusolo ku bintu bye bakozesa okukuuma ensusu zabwe obutafuna birwadde naddala kokolo wólususu. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu kampala, Melanie Mataaga, Project Assistant, wékibiina ki Source of the Nile Union of persons with Albinism, […]
Ababbi bémmundu balumbye Baasi ya Link e Mityana
Bya Rita Kemigisa, Poliisi e Mityana etandise okunonyereza kubwa kkondo obwakoleddwa ku baabaze mu Bus ya Link, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mubende. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala Rachel Kawala, agambye nti bino bibadde mu lusaalu lwe Bamujugu ku […]
Obubbi bweyongedde e Jinja
Bya Abubaker Kirunda, Omuddumizi wa poliisi yé Kiira north Romel Onek yenyamidde olw’bubbi obukudde ejjembe mu tawuni kanso yé Buwenge mu disitulikiti yé Jinja Onek okwogera bino kidiridde okukwata ababbi basatu okuva mu disitulikiti yé Buyende. Bano basangibwa nga batambuza embuzi enzibe ezitaliiko biwandiiko. Onek […]
Agambibwa okubba embuzi yetuze
Bya Abubaker Kirunda, Agambibwa okuba omubbi wémbuzi mu disitulikiti yé Buyende, yetuzze oluvanyuma lwokutoloka ku batuuze ababadde bagala okumugajambula. Omugenzi ye Mohammed Muyimba nga mutuuze wé Busamo mugombolola yé Ngando mu Buyende district. Ssentebe wékyalo kino Paul Mwandha, atubuulidde nti omugenzi yasangibwa abaaga embuzii enzibe […]
Abantu 3 bawangudde emmotoka za MTN Momo Waaka Promotion
Bya Moses Ndaye, Omutuuze w’eMasaka ajaganya ng’akimezezza okwenjala, bwawangudde emmotoka ya MTN-Uganda mu mugano gwa MTN Momo Waaka Promotoin. Edith Tusiime omutuuze w’eMasaka yoomu ku bantu 3 abakwangula emmotoka kika kya Toyota Succeed, mu kannyo kano nga byonna byabaddewo mu kalulu akakubiddwa akawungeezi k’eggulo. Abalala […]
Palamenti eyisiza embalirira eyényongeza ya buwumbi obusoba mu 600
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku mbalirira yayisiza embalirira eyenyongereza ya buwumbi 617.9 okuyambako enzirukanya yémirimu mu bitongole bya gavumenti nókusasula emisaala gyábakozi. Ebitongole ebimu ebigenda okuganyulwa mu nsimbi zino, kuliko yafeesi ekola kunsonga zómuk weggwanga nóbuwumbi 86.3 bn nga zakukola ku pulogulamu […]
Omubaka Nandutu awakanyiza ebyókugwa mu Kinaabiro
Bya Ivan Ssenabulya, Omukubiriza wa palamenti Anitah Among wamu nababaka baniriza minisita omubeezi owensonga ze Karamoja, Agnes Nandutu okuva mu bulwadde. Nandutu nga ye mubaka omukyala owe Bududa mu ssabiiti ewedde amawulire gasasaana ku mitimbagano nga bwavudde mu bulamu bwensi eno oluvanyuma lwokugwa mu kinaabiro […]
Omupiira gwábakyala ogwebigere gweyongeddeko omutindo
Bya Ivan Ssenabulya, Pulezidenti wé kibiina ekidukanya omuzanyo gwomupiira mu ggwanga ekya FUFA, Eng Moses Magogo alina essuubi nti omupiira gwa bakyala ogwebigere gwakwongera okuyitimuka. Bwabadde ayogerera mu lukungana lwa FIFA-FUFA Club Licensing Workshop mu Kampala, Magogo agambye nti Uganda erina abawala abasoba mu 5000 […]