Amawulire
Abalwanirira ebyendya ennungi bagala wabeewo amateeka agakyusibwa
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko ka palamenti akavunayizibwa ku ndaya ennungi wamu ne bannakyewa abalafubana okulaba nti abaana beggwanga bafuna emmere ennungi basabye gavumenti okukyusa mu mateeka agaliwo ku byendya ennungi. Mu kwogerako ne bannamawulire ku palamenti wakati mu kufumintiriza ku ku lunaku lwomwana womuddugavu olwakuzibwa […]
Besigye azeemu okusindikibwa ku alimanda mu komera e Luzira
Bya Ruth Andearah, Eyali akulembera ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye kooti ya Buganda Road temuwadde kweyimirirwa ngomulamuzi agambye nti tewali bukakafu nti taddemu kuzza emisango gyegimu. Omulamuzi we ddaala erisooka Asuman Muhumuza agambye nti Besigye ne Lubega Mukaku bwebavunanibwa nga bwebakwatibwa ku misango gyegimu […]
Nabbanja asabye bannauganda okuwagira pulogulamu ya PDM
Bya Benjamin Jumbe, Ssabaminisita Robinah Nabbanja asabye bannauganda okuwagira gavumenti mu pulogulamu yaayo eya Parish Development Model. Bino abyogedde atongoza alipoota ku bitukidwako mu kutukkiriza ebirubirirwa bya gavt ebyenkulakulana. Ono agambye nti pulogulamu eno ekwatagana bulungi ne birubirirwa bya gavt kuba egenderedde okuyamba abantu okwongera […]
UPDF egudde ku nkambi ya bayekera aba ADF
Bya Ivan Ssenabulya Ekikwekweto kigenda mu maaso ku kyalo Kikuba-Jinja Piida mu Kasana Luweero, eggye lye ggwanga erya UPDF ligezako okwetegereza enkambi egambibwa okuba eya bayekera ba ADF gyebagudeko. Omwogezi we ggye lye ggwanga erya UPDF Brig Gen Felix Kulaigye olunaku lweggulo yakakasiza nga bwebagudde […]
Abanonyi bóbubudamo okuva e Congo bongedde okukwatibwa Covid
Bya Robert Muhereza Abóbuyinza mu disitulikiti eyé Kisoro beelalikirivu olwomuwendo gwa banonyi bobubudamo okuva mu DRC abakwatibwa akawuka ka covid-19 mu kambi eye Nyakabande. Bino okubaawo ngokulwanagana wakati wa bayekera ba M23 námaggye ga gavt kugenda mu maaso mu kibuga kye Bunagana. Omubaka wa gavt […]
Abakugu banyonyodde ku kulinnya kwébbeeyi yé bintu
Bya Moses Ndaye, Abakugu mu byenfuna banyonyodde nti amateeka ku byenfuna agaliwo, tegayinza kugonjoola ekizbu kyokulinnya kwebbeyi yebintu. Asad Lukwango, nga mukugu okuva ku kitongole kya KPMG-Uganda agambye nti ebizibu ebyaletebwa olutalo lwa Russia mu Ukraine nebirala ebyekuusa ku muggalo gwa ssneyiga omukambwe mu China […]
Abalwanirizi béddembe lyábakyala bavumiridde abategesi ba Elgon Cultural Gala
Bya Prossy Kisakye, Abalwanirizi béddembe lya bakyala balabudde bannauganda okukomya okwerimbika mu byóbuwangwa okumenya amateeka Kino kidiridde akatambi ka vidiyo akalaze abaana abobuwala nga kumpi bali bukunya bwebadde mu mweleso gwe byóbuwangwa ogwa Elgon cultural gala e Mbale nga amabeere gali bweru bagasizeko langi ne […]
Abavubuka batiisatiisiza okugana ensimbi za Parish Model
Bya Ndaye Moses, Abavubuka wansi wekibiina ekibagatta ki National Youth Council batiisatiisiza okugaana omutemwa gwensimbi ze balina okufuna mu pulogulamu ya gavt eya Parish Development singa gavt tebawa ebitundu 30% nga bbo ku mutendera ogwawansi. Ssentebe wékibiina kino Jacob Eyeru, anyonyodde nti gavt yali yabasuubiza […]
Museveni asabye bannabyabufuzi okuwagira entekateeka za Gavt
Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze weggwanga Museveni asabye bannabyabufuzi okuwagira gavt muntekateeka yaayo eyókulaba nti abayizi bonna mu ggwanga ku mutendera ogwa pulayimale ne sekendule basomera bwerere. Bino abyogedde ayogerako eri abakungu abakunganidde ku kisaawe e Kololo mu kusoma embalirira ye ggwanga oluvanyuma lwokukitegeera nti yadde […]
Gavt eyogedde byegenda okutekako omulaka mu Mbalirira ya 2022/23
Bya Benjamin Jumbe, Mu mbalirira yómwaka gwensimbi ogujja, Gavt essira elitadde kukya nfuga eri wansi wa mateeka, okulwanyisa enguzi nókunyweza ebyokwerinda. Bino byogeddwa minisita owebyensimbi Matia Kasaija mu kusoma embalirira ye ggwanga eyomwaka gwensimbi 2022/23 ku kisaawe e kololo. Omukolo gwetabidwako nómuk weggwanga YK M7, […]