Amawulire
Abasikawuti basindikiddwa e Tororo okulawuna mu masomero ku kwekalakasa kwábasomesa
Bya Joseph Omollo, Abóbuyinza mu disitulikiti eyé Tororo basindise abasikawutu mu masomero ga gavt gonna okulondoola okulaba abatali mu bibiina Bino birangiriddwa akulira abakozi mu disitulikiti eno, Dunstan Balaba, agamba nti kino bakikoze okutukiriza ekiragiro ekyava mu minisitule evunanyizibwa ku bakozi ba gavt ekyalagira abasomesa […]
Abaana 3 bafudde oluvanyumwa lwókulya Obutwa
Bya Abubaker Kirunda, Abaana 3 bafudde oluvanyuma lwokuliira obutwa mu mmere. Ekikangabwa kino kigudde ku kyalo Nalende mugombolola ye Bulange e Namutumba district. Okusinzira ku kansala Augustine Mulondo atutegezeza nti omu ku baana afudde kyajje atuusibwe mu ddwaliro. Agambye nti abaana bano babadde babeera ne jjaajaabwe […]
Minisita Janet asomoozeddwa kunsonga zábasomesa
Bya Rita Kemigisa, Minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza ne byemizannyo Janet Museveni atereddwa kunninga aveeyo anyonyole ku kwekalakaasa kwa basomesa okugenda mu maaso mu ggwanga. Mu kwogerako ne Dembe FM, minisita mu gavt eyekisikirize owe byenjigiriza, era nga ye mubaka omukyala owa Luwero Brendah Nabukenya, alaze […]
Joyce Bagala alangiridwa ngómubaka omukyala omutuufu owa Mityana
Bya Ruth Anderah, Kooti ejulirwamu enywezezza obuwanguzi bwamunna NUP Joyce Bagala ku kifo kyomubaka omukyala owa disitulikiti ye Mityana. Abalamuzi 3 nga bakulembeddwamu Geoffrey Kiryabwire bamenyewo ennamula eyaweebwa kooti enkulu e Mubende, eyali esazizaamu okulondebwa kwa Bagala olwamateeka gebyokulonda agamenyebwa. Minisita webyettaka Judith Nabakooba bwebavuganya […]
Abavubuka bogedde ku kulondebwa kwa Nabuuma ku Lukiiko lwábavubuka mu Common wealth
Bya Prossy Kisakye, Olukiiko lwabavubuka mu gwanga olwa National Youth Council baanirizza okulondebwa kwa Shamim Nabuuma ngomukiise wa Africa ku lukiiko lwa Common Wealth Youth Council Executive. Nabuuma owemyaka 26 munna-Uganda era muvumbuzi ate musbuzi nga yeyatandika ekitongole kya Chil Artificial Intelligence Lab, ekitongole ekikola […]
Omusango gwa Fred Nyanzi gwakudamu okuwulirwa
Bya Ruth Anderah, kooti ejjulirwamu eragidde omusango gwa Fred Nyanzi Ssentamu guddemu okuwulirwa, ngono awakanya okulondebwa kwa Muhammad Nsereko ng’omubaka wamasekati ga Kampala. Fred Nyanzi yakakasizza kooti ejjulirwamu nti gweyawawabira Nsereko yatekawo embeera nga kizbu okutusaako empaaba oba okumusavinga. Nyanzi bamulagidde addemu okutwalayo empaba ye […]
Aba COSASE bakunyiza abakungu okuva mu kakiiko kébye’ttaka
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE bambalidde abakungu ku kakiiko kebyettaka aka Uganda Land Commission olwokwekobaana ne bannamateeka, mu buguzi obwekifere mu ttaka. Akakiiko kano kanonyereza ku buwumbi 10 kigambbwa ezasasulwa abantu abanejawulo, nga kwaliko obuwumbi 2 […]
Olukungana lwa CHOGM lugudewo mu butongole mu kibuga Kigali
Bya Rita Kemigisa, Olukungaana lwabakulmbeze mu mukago, gwamawanga agaliko amatwale ga Bungereza, olwa Commonwealth Heads of Government Meeting (CHOGM) lugguddwawo mu butongole olwaleero mu kibuga Kigali mu gwanga lya Rwanda. Emyaka gibadde giweze 3 ng’olukungaana luno terutuula, olwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe. Olukungaana lwaba minisita bamawanga […]
Bannamakolero basomozeddwa okukuuma omutindo
Bya Juliet Nalwooga Bannamakolero basabiddwa okukola emirimu gyabwe n’obukugu, ebyamaguzi byabwe bwebinaaba byakuvuganya ku katale kensi yonna. Bwabadde ayogerera mu musomo gwabannamakolero mu Kampala ssenkulu w’ekibiina omwegatira bannamakolero mu gwanga ekya Uganda Manufacturers Association (UMA), nga ye Daniel Birungi asomoozza bannamakolero okwolesa obukugu nómutindo mu […]
Tumwebaze akubiriza abalimi
Bya Benjamin Jumbe, Minisita owe byobulumi Frank Tumwebaze atendereza bannadiini okuwagira omuk weggwanga mu kutumbula ebyobulimi. Ono okwogera bino abadde awaayo ebyuma ebyomulembe mu byobulimi ebiweereddwa abakulisitu ba Wera Catholic Parish okuyambako abalimi mu disitulikiti Amuria. Minisita agambye nti yadde nga pulogulamu ya parish development […]