Amawulire
Kasibante ayanukudde Museveni-Sijja kusirika
Omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante ayanukudde omukulembeze w’eggwanga eyatisatisiza okumukwata. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalabudde omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante, okwewala okweyingira mu nsonga z’okuzimba omwala gwa Lubigi. Moses Kasibante agambye nti wakungenda mu maaso n’okulwanirira abatuuze abasangibwa mu Kawala zone, abakoseddwa […]
Gavument yakujulira ku bya Lukwago
Minisita wa Kampala Frank Tumwebaze avuddemu omwasi ku nsalawo ya kooti eyimiriza okulonda kwa loodimeeya. Omulamuzi Lydia Mugambe olunaku lw’eggulo yayimirizza akakiiko k’ebyokulonda okutegeka akalulu kano kubanga ekibuga kikyalina loodimeeya. Kooti era yalagidde minister wa Kampala Frank Tumwebaze, ne polisi obutaddamu kugaana Lukwago okugenda mu […]
Poliisi ezinzeeko leediyo- Nobert Mao akwatiddwa
Poliisi ezinzeeko leediyo ya Kasese Guide radio okukkakkana ng’esazeeko pulogulaamu ebaddeko. Radio eno bagiranga kukyaaza Gen Mugisa muntu enkya yeleeo ng’ono abadde abangula bantu ku bwetaavu bw’enongesereza mu mateeka g’eby’okulonda Mu ngeri yeemu era poliisi ekutte akulira ekibiina kya DP Nobert Mao bw’abadde yakatuuka ku […]
Emotoka ya Chameleone ewambiddwa
Ab’ekitongole ekiwooza bawambye emmotoka y’omuyimbi Jose Chameleone ey’ekika kya Escalade. Bano okumukwaasa bamugoberedde okutuuka e Lugogo ku cricket Ovala gy’ategese ekivvulu kye Okusinziira kw’akulira ababanja emisolo, Abdul Salaam Waiswa ,Omuyimbi omo bamubaja emisolo gya bukadde musanvu n’edala obukadde 30 Waiswa ategeezezza nti baludde nga […]
Maj.Gen Mugisha Muntu akwatiddwa
Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu akwatiddwa Ono aggaliddwa ku poliisi e ntungamo n’abalala b’akwatiddwa nabo. Poliisi ekozesezza omukka ogubagala n’okukuba amasasi mu bbanga okugugumbulula abawagizi be ababadde bakungaanidde e Kabaale Bano babadde bategeka kukuba lukungaana e Kabale poliisi n’erulinnyamu eggere. Eyali […]
Teri kulonda, Lukwaago ye Loodimeeya- Kkooti
Kkooti eyimirizza okulonda loodimeeya omuggya Omulamuzi Lydia Mugambe asazeewo nti olukiiko olwayitibwa okugoba Lukwago lwayitibwa mu bumenyi bw’amateeka Omulamuzi era agambye nti kooti yayisa ekiragiro ekiyimiriza olukiiko luno era nga ne minister eyayita olukiiko luno yali ategeezeddwa mu budde Omulamuzi agambye nti ebikolwa bya ssabawolereza […]
UMEME egende-palamenti
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bakkiriziganyizza nti endagaano eyakolebwa gavumenti ne UMEME esazibweemu Akakiiko akabadde kanonyereza ku ndagaano eno keekakola alipoota ewagira nti Umeme ebintu bigiremye ate nga ne kontulakita yenyini yagifuna mu mankweetu Mu kukubaganya ebirowoozo okubadde okw’ebbugumu, mubaka ku mubaka bonna bategeezezza nti […]
Temuzzaamu bayizi bibiina
Minisitule ekola ku by’enjigiriza mu ggwanga eragidde abakulembeze b’amasomero okukoma okukaka abayizi okudda mu bibiina Minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti kino kyekisinze okukyayisa abaana ebitabo nga n’abasinga batuuka n’okudduka ewaka Alupo agamba nti abayizi beetaga nebaba nga bayita buyisi olwo lwebafuna amaanyi agasigala nga […]
Ebya S.6 bifulumye- abayizi bakoze bulungi- ebigezo 34 bikwatiddwa
Ebigezo bya siniya y’omukaaga bifulumiziddwa Abayizi ku luno baakoze bulungi okusinga luli.Abayizi ebitundu 97 ku kikumi baayise ebigezo Amasomo ga History ,Economics, Entreprenuership, ne CRE geegasinze okukolebwa obulungi. Abagezo by’abayizi 34 bikwatiddwa Abayizi 289,012 beebatuula ebigezo bino okwawawukanako n’abayizi emitwaalo 262,987 mu mwaka gwa 2012. […]
Omubaka Brenda Nabukenya agobeddwa mu palamenti
Omubaka omukyala owe Luwero Brenda Nabukenya agobeddwa mu palamenti Kiddiridde kooti ejulirwaamu okukkiriziganya ne kkooti enkulu nti okulonda okwamutuusa mu palamenti tekwaali kwa mazima na bwenkanya. Abalamuzi abasatu abakooti ejulirwaamu nga bakulembeddwamu Stephen Kavuma beebasomye ensalawo ya kooti Bano bagmbye nti enjawulo y’obululu 30 Nabukenya […]