Ekizimbe ekibadde kimenyebwa e Nakasero okumpi n’omuzikiti kigwiiridde omusajja n’amenyeka mu kifuba
Abu Lubega y’addusiddwa mu dwaliro ekkulu e mulago nga afa obulumi.
Agamba nti abadde ne banne nga bamenya kwekulaba nga amabulooka gayiika era mu kugezaako okwetegula , amataffaali negamukuba mu kifuba
Poliisi ekutte omukyala asosonsese omwana wa muggya we omukono mu bukyala ng’amutebereza okwagala abasajja
Rose Dembe akwatiddwa lweggulo lwaleero bw’abadde agezaako okudduka okuva mu maka ge e Kyamwokya
Akulira poliisi ekola ku nsonga z’abaana John Mugerwa agambye nti omukyala ono bamuggalidde era nga n’oluvanyuma wakukola statementi
Omukyala ayogerwaako yakkidde omwana wa kibiina kya Musanvu n’amusosonseka omukono mu bukyala…
Gavumenti ekyatubidde n’emirambo gy’aba Congo ababbidde bwebabadde badda ewaabwe
Minisita akola ku bigwabitalaze, Eng Hillary Onek y’ategeezezza bino bw’abadde asoma ekiwandiiko kya gavumenti mu palamenti.
Minisita agambye nti yadde basobodde okunyulula emirambo gya bantu 107, emirambo egimu gikyalemedde ku nsalo ya Uganda ne Congo nga gavumenti yaayo yagaanye okugitwaala
Onek agamba nti gavumenti ekyanoonya engeri bano gyebagenda okuziikibwaaki
Aba…
E Rakai abantu 4 abagambibwa okuba abali b'abantu abalamu abakakanye ku mukazi n’omwana we nebabalya bonna bakwatiddwa.
Bano bazindukiriza Gabriel Bandigi , mukyala we o’wolubuto ,n’omwana waabwe omuto kyokka nga yye omusajja basobodde okudduka n'ebisago by'ejjambiya
Adumira poliisi ye Rakai Nelson Sooma agamba poliisi ekyanonyereza ku nsonga eno nga tebayinza kukakasa kati nti ddala bano basezi .
Poliisi y'oku luguudo lwa Kiira eri ku muyiggo gw’omukazi eyakubye omwana wa mujja we omukono mu bitundu by'ekyama alabe oba abadde yeebaka n’abalenzi katono amusikeyo nabaana..
Omuyizi ono ow'ekibiina ky'omusanvu y'addusiddwa mu ddwaliro nga ng'atonya musaayi.
Okusinziira ku atwala poliisi ya Kiira Road John Mugerwa omusango guno gwaddiziddwa wali e Kamwokya mu church zone.
Yye ekulira essomero omwana…
Ab'ekitongole kya Kampala capital city authority batabukidde bannaggaga abeyongera okwesenza ku ttaka ly’entobazi.
Bano baweze okusengula abo bonna abesenza mu ntobazi e Kinnawataka, Banda Kisaasi n’ebitundu ebiriraanyeewo .
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bano era tebabasuubira kukakasa pulaani zaabwe kubanga ekiragiro kyayita dda ng'ekiddako ku bagoba
Kkooti etaddewo olunaku lwa bbalaza ssabiiti ejja okusalawo oba eyimiriza okuwulira omusango gwa loodimeeya Erias Lukwago mw’ayita okutaasa entebe ye
Ssabawolereza wa gavumenti yaddukira mu kkooti ejulirwaamu ng’asaba kiragiro ekiyimiriza okuwulira emisango gya Lukwago okutuusa ng’okwemulugunya kwe kukoleddwaako
Mu kwemulugunya kuno, Peter Nyombi nga ye ssabawolereza ayagala omulamuz akola ku musango gwa Lukwago Yasin Nyanzi agujjemu enta…
Ab’obuyinza mu kibuga Washington ekya America bazudde emirambo emirala mukaasa egy’abantu abafudde ettaka bweryabumbulukuse mu nkuba eyamaanyi
Kati abakafa bali 14
Abantu abali mu 176 bbo tebamanyiddwaako mayitire nga babikiddwa ekisenge ekiwanvu
Baddukirize bakola misana na kiro nga bakozesa n’enyonyi okunoonya abamaye naye ng’essuubi ly’okufuna baalamu ttono ddala
Ab’ekibiina kya NRM bakyalemereddwa okusasula ez’obupangisa
Bano nanyini kizimbe okuli ofiisi zaabwe abakubye mu mbuga z’amateeka ng’abanja obukadde 360
Aba kkampuni ya Nile Travel agencies beebavunanyizibwa ku kizimbe kino nga bagamba nti NRM emaze emyezi 30 nga tesasula
Ekizimbe kino bakisasulira doola enkumi nnya buli mwezi kyokka nga zino zizze zeetuuma nga tebenyeenya
Bano bagaala kiragiro kya kooti ekikaka…
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bambalidde ekitongole kya KCCA olw’ekirowoozo ky’okujja bodaboda mu kibuga
Ababaka bano bebuuzizza ekigendererwa kya KCCA oluvanyuma lw’amyuka akulira abakozi Judith TUkahirwa okutegeeza nti ekigendererwa kyaabwe ekyakujja mugotteko mu kibuga
Ababaka okubadde Yonah Musinguzi, Kabakumba Matsiko ne Brenda Nabukenya bagamba nti obuzibu bwa jaamu bunene nyo nga nebwebanagoba boda sibwakuggwaawo