Amawulire
Mwawule palamenti ne NRM- Besigye
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye ategezezza nga okwongezaayo entula za palamenti okutaggwa bwekulanga endoolito wakati w’olukiiko lwa gavumenti n’essiga eddamuzi. Entuula za palamenti eziwerako zongezeddwayo enfunda eziwera lwantuula z’ababaka ab;ekibiina kya NRM ezenjawulo ezitegekeddwa mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Entebe. Besigye agamba agamba palamenti […]
Eryaato eribbidde- Emirambo egyakanyululwa giri 20
Eryaato eribadde lukubyeeko aba Congo ababadde badda ewaabwe libbidde. Abantu 20 beebakanyulwaayo nga bafu, nga ku bano abaana bataano ,28 babasanze bakyaali balamu. Omuyiggo gukyagenda mu maaso. Omubaka omukyala owe Ntoroko, Jennifer Mujungu akakasizza bino n’ategeeza ng’abantu bano beebamu kw’abo abajja mu Uganda nga babundabunda […]
Ttiyagaasi e Mbale
Omukka ogubalagala gugyiddwaayo okusattulula abali ku ludda oluvuganya ababadde bakubye olukungaana e Mbale Olukungaana luno lubadde lutegekeddwa nga bano bali wamu n’ebibiina by’obwa nakyeewa Ekibinja kino kibadde kisomesa bantu ku nteekateeka z’okulongoosa mu mateeka g’eby’okulonda okusobola okufuna okulonda okwa mazima mu mwaka 2016 Wabula poliisi […]
bannamateeka bubefuse
Ssabawolereza wa government azeemu okukikatiriza nga Lukwago by’atakyali lord mayor ow’ekibuga Kampala. Bwabadde awayo okwewozako kwe mu maaso g’omulamuzi Lydia Mugambe ssabawolereza wa government agambye nti ebbaluwa okuva mu kooti eyimiriza okugoba Lukwago yaletebwa kikerezi. Ngayitta mu Martin Mwambusha, ssabawolereza agambye nti n’ebbawula eno teyaliko […]
Cholera Yandibalukawo mu Ddwaliro ly’e Mulago
Embeera eri mu ddwaliro ekkulu e Mulago eyungula amaziga. Kino kidiridde ekitongole ky’amazzi okusalako amazzi mu ddwaliro lino, oluvanyuma lw’okulemelerwa okusasula amazzi gebakozesa. Kati abakulira eddwaliro lye Mulago bali mu kutya nti eddwadde omuli cholera n’ekiddukano zandibalukawo mu ddwaliro lino. Omwogezi w’eddwaliro Enock […]
RDC Kyeyune alabuddwa
Abakiise mu lukiiko lwa Wakiso Town Council, bulabudde RDC we Wakiso Eng Ian Kyeyune okukwata obulungi ebintu president bye yamusindikamu naddala amateeka agayimirizaawo enkola y’emirimu mu gavumenti. Okutuuka kubino babade balondoola ebyabadewo olunaku olw’egulo abasubuzi b’omu kibuga Wakiso bwebasazeewo okwekalakaasa olwa district okubasaba omusolo […]
Abafumbo Bookezza Muwala Wabwe mu Mbugo-Bamulanga Bwenzi
Poliisi mu district ye Mayuge ekutte abafumbo abookezza muwala wabwe mu mbugo nga bamulumiriza okusussa obwenzi. Peter olwyema 40 ne ukyalawe veronica Adupo 30 bonna nga batuuze ku kyalo Nakalanga . Sam opira nga y’adumira poliisi ye Mayuge agamba abazadde bano bagyewo ekisiki nebakisonseka mu […]
Ababaka ba palamenti neera tebatudde
Palamenti ezzeemu okwongezebwaayo. Ababaka babadde balina okutuula olwaleero kyokk anga tekisobose nga kati bakutuula ku lw’okubiri lwa ssabiiti ejja. Ababaka bano bamaze akaseera nga tebatuula olw’aba NRM bulijjo abataliiwo era nga babadde balina kuddamu leero Omwogezi wa palamenti Hellen Kaweesa agambye ab’akakiiko akakola ku bbago […]
Sijja kusabiriza- Gilbert Bukenya
Eyaliko amyuka omukulembeze weggwanga Gilbert Balibaseka Bukenya agambye nti kikafuuwe okusabiriza gavumenti akasiimo ke. Olunaku lwajjo ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga kemulugunyizza ku ngeri Bukenya gy;’ayisibwaamu nga taweebwa kasiimo ke nga bwekirina okuba Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Bukenya agambye nti […]
Abasawo bawummuziddwa
Abasawo babiri bawumuziddwa oluvanyuma lwokukikakasa nti ddala bano bezibika eddagala . Dr Joseph Isanga omusawo mu ddwaliro ly’e Kabonga awumuziddwa oluvanyuma lw’okukikakasa nti yezibika eddagala eribalirirwamu obukadde bw’ensimbi 30. Akulira akakiiko k’abasawo akakwasisa empisa , Dr Okello Ogwang agamba Dr Isanga nga ono yasingisibwako n’omusango […]