Amawulire
Aba Taxi bakaaba misolo
Abagoba ba taxi mu paaka ya Namayiba basabye KCCA ebaayambe ku basajja baayo ababatulugunya Abagoba bano bagamba nti nnnayini paaka eno Bosco Muwonge abajjako enkumi bbiri buli lunaku okusimba mu paaka eno ate ngaa basasula n’omusolo gwa KCCA. Bano era bagamba nti kuno kw’ossa n’ekya […]
Zuma mubbi- balwanyisa enguzi
Omukulembeze w’eggwanga lya South Africa alumbiddwa lwakuzimba maka agakirako olubiri nga bangi bagamba nti akozesezza nsimbi za muwi wa musolo Omu ku bakyala abamanyiddwa ennyo olwokulwanyisa enguzi mu ggwanga lino Thuli Madonsel agambye nti amaka ga Zuma agobwannanyini okuli ekidiba ekiwugirwaamu ne faamu byamazeewo obukadde […]
Lukwago akwatiddwa
Loodimeeya w’ekibuga Erias Lukwago akwatiddwa Ono akwatiddwa nga yakafuluma mu maka ge okwolekera e Katwe gy’abadde agenda okwetaba mu lukungaana lweyayise okutegeeza bannakampala ku kabi akali mu kulonda loodimeeya omuggya. Lukwago yabadde yaweze dda nti k’abe lubaale oba katonda abadde wakwetaba ku lukiiko luno. Poliisi […]
Poliisi eyaza buli ayingira ewa Besigye- Yezoobye ne mukyala we
N’okutuusa kati poliisi ekyagumbye mu maka ga loodi meeya Erias Lukwago e Wakaliga nag’eyali ssenkagale wa FDC Dr,Kiiza Besigye e Kasangati. E Kasangati poliisi eyaza abo bonna abayingira n’okufuluma amaka ga Besigye. Wabula wabaddewo akavuvungano abasirikale ba poliisi bwebagezezaako okugaana Muka Besigye Winnie Byanyima okufuluma […]
Poliisi egumbye ku maka ga Besigye ne Lukwago
Poliisi ezinzeeko amaka g’eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye ne loodimeeya Erias Lukwago. Besigye ali Kasangati nga ate ye Lukwago ali Wakaliga. Kino kiddiridde ab’oludda oluvuganya gavumenti okuwera okukuba olukungaana e Katwe olunaku olwaleero nga beebuuza ku balonzi ku kulonda kwa loodi meeya […]
Fagil Mande agobwe- kaliisoliiso
Endoolito mu kitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ssi za kuggwa kati. Kati Kaliisoliiso wa gavumenti afulumizza alipoota nga esaba omukulembeze w’eggwanga asazeemu endagaano ya Ssentebe w’ekitongole kino Fagil Mandy. Mukyala Irene Mulyagonja alipoota agisindikiddeko ministry y’ebyenjigiriza ng’alumiriza Mandy okweyisa mu ngeri etasaana, obutakola bulungi mirimu gye, […]
Omu alumiziddwa mu kabenje
Omuntu omu alumiziddwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jjinja Akabenje kano keetabiddwaamu biloolle bisatu okuli ekya TATA ekibadde kikubyeeko cementngaa kiva e Tororo nga kino kikonaaganye nekirala ekya Kenya ekibadde kidda e Mombasa Owa Tata bamutemyeeyo butemi okuva mu kiloole […]
Mukole nnyo
Abakyala mu Buganda basabiddwa okukoma okwefebya naddala mu nsonga z’enkulakulana. Minister w’amawulire mu bwakabaka bwa Buganda Denis Walusimbi agambye nti Buganda etaddewo entekateka nyingi ezokwekulakulanya naye ngabakyala tebazetanira. Walusimbi agambye nti abakyala Katonda yabawa obuyinzi obweyolekera obulungi mu byobuwangwa bya Buganda. Ono okwogera bino abadde […]
Eby’okusasula abakyala bikyaamu
Okuwulira okujulira okwakolebwa ku ky’abasajja okusasula abakyala tekugenze mu maaso Kiddiridde omu ku bawaaba, Kenneth Kakuru kati omulamuzi obutabaawo Aabalamuzi omusanvu aba kooti ey’okuntikko nga bakulembeddwaamu Bart Katureebe bategeezezza nga Kakuru bw’abadde tamanyi ku musango guno Ab’ekibiina kyobwa nnakyeewa ekirwanirira eddembe ly’abakyala ekya MIFUMI beebawakanya […]
Poliisi eweze olukiiko lwa 4GC
Poliisi erayidde okulinnya eggere mu Lukiiko olutegekeddwa abavuganya gavumenti wansi w’ekisinde kya For God and My Country. Akulira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba nti abavuganya tebagoberedde amateeka agalagira nti omuntu alina okusaba olukusa ennaku ssatu ng’olukiiko terunnatuuka Kaweesi agamba nti n’aba 4GC […]