Eryaato eribadde lukubyeeko aba Congo ababadde badda ewaabwe libbidde.
Abantu 20 beebakanyulwaayo nga bafu, nga ku bano abaana bataano ,28 babasanze bakyaali balamu. Omuyiggo gukyagenda mu maaso.
Omubaka omukyala owe Ntoroko, Jennifer Mujungu akakasizza bino n'ategeeza ng'abantu bano beebamu kw'abo abajja mu Uganda nga babundabunda nga kati babadde badda waabwe.
Mujungu agamba nti eryaato libadde litisse akabindo
Eryaato lino…
Omukka ogubalagala gugyiddwaayo okusattulula abali ku ludda oluvuganya ababadde bakubye olukungaana e Mbale
Olukungaana luno lubadde lutegekeddwa nga bano bali wamu n'ebibiina by'obwa nakyeewa
Ekibinja kino kibadde kisomesa bantu ku nteekateeka z'okulongoosa mu mateeka g'eby'okulonda okusobola okufuna okulonda okwa mazima mu mwaka 2016
Wabula poliisi esitukiddemu n'ebafumuula nomukka ogubalagala ng'ebalanga kutegeka lukungaaana lumenya mateeka
Twogedeko n’omubaka eyategese olukiiko luno…
Ssabawolereza wa government azeemu okukikatiriza nga Lukwago by’atakyali lord mayor ow’ekibuga Kampala.
Bwabadde awayo okwewozako kwe mu maaso g’omulamuzi Lydia Mugambe ssabawolereza wa government agambye nti ebbaluwa okuva mu kooti eyimiriza okugoba Lukwago yaletebwa kikerezi.
Ngayitta mu Martin Mwambusha, ssabawolereza agambye nti n’ebbawula eno teyaliko Mukono gw’omuwandiisi wa kooti ate nga terina na seal.
Mu kusooka abanamateeka ba…
Embeera eri mu ddwaliro ekkulu e Mulago eyungula amaziga.
Kino kidiridde ekitongole ky’amazzi okusalako amazzi mu ddwaliro lino, oluvanyuma lw’okulemelerwa okusasula amazzi gebakozesa.
Kati abakulira eddwaliro lye Mulago bali mu kutya nti eddwadde omuli cholera n’ekiddukano zandibalukawo mu ddwaliro lino.
Omwogezi w’eddwaliro Enock Kusasira agambye nti ward, ebiyigo wamu nezikabuyonjo tebirina mazzi gakukozesa.
Ekitongole kya National Water and Sewerage…
Abakiise mu lukiiko lwa Wakiso Town Council, bulabudde RDC we Wakiso Eng Ian Kyeyune okukwata obulungi ebintu president bye yamusindikamu naddala amateeka agayimirizaawo enkola y’emirimu mu gavumenti.
Okutuuka kubino babade balondoola ebyabadewo olunaku olw’egulo abasubuzi b’omu kibuga Wakiso bwebasazeewo okwekalakaasa olwa district okubasaba omusolo gw’amayumba.
Kyoka RDC Ian Kyeyune bweyatuuse mu kibuga nalagira abasuubuzi okusumulula zi siilu…
Poliisi mu district ye Mayuge ekutte abafumbo abookezza muwala wabwe mu mbugo nga bamulumiriza okusussa obwenzi.
Peter olwyema 40 ne ukyalawe veronica Adupo 30 bonna nga batuuze ku kyalo Nakalanga .
Sam opira nga y’adumira poliisi ye Mayuge agamba abazadde bano bagyewo ekisiki nebakisonseka mu mbugo za muwala waabwe bamugeme obwenzi.
Abazadde bano bagamba baludde nga balabula muwala…
Palamenti ezzeemu okwongezebwaayo.
Ababaka babadde balina okutuula olwaleero kyokk anga tekisobose nga kati bakutuula ku lw’okubiri lwa ssabiiti ejja.
Ababaka bano bamaze akaseera nga tebatuula olw’aba NRM bulijjo abataliiwo era nga babadde balina kuddamu leero
Omwogezi wa palamenti Hellen Kaweesa agambye ab’akakiiko akakola ku bbago ly’etteeka ku byenfuna beebasabye obudde bamalirize nabo kwekukkiriza
Ono wabula akakasizza nti awatali kubuusabuusa…
Eyaliko amyuka omukulembeze weggwanga Gilbert Balibaseka Bukenya agambye nti kikafuuwe okusabiriza gavumenti akasiimo ke.
Olunaku lwajjo ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga kemulugunyizza ku ngeri Bukenya gy;’ayisibwaamu nga taweebwa kasiimo ke nga bwekirina okuba
Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Bukenya agambye nti amanyi ebirina okumuweebwa kyokka tajja kufukamirira muntu yenna.
Bukenya agamba nti musanyufu neky’alinawo…
Abasawo babiri bawumuziddwa oluvanyuma lwokukikakasa nti ddala bano bezibika eddagala .
Dr Joseph Isanga omusawo mu ddwaliro ly’e Kabonga awumuziddwa oluvanyuma lw’okukikakasa nti yezibika eddagala eribalirirwamu obukadde bw’ensimbi 30.
Akulira akakiiko k’abasawo akakwasisa empisa , Dr Okello Ogwang agamba Dr Isanga nga ono yasingisibwako n’omusango mu kooti ewozesa abakenuzi agobeddwa mbagirawo.
Alagiddwa okuzaayo layisinyi y’obusawo mu nnaku 7…
Oluvanyuma lwabavuzi ba taxi okumala akabanga nga bemulugunya ku basirikale ba poliisi n’ebizibu ebirala, Minister wa Kampala Frank Tumwbaze ayise olukiiko bateese ku nsonga ez'enjawulo bazinogere eddagala.
Omubaka wa Makindye eyobuvanjuba gyebuvuddeko yakwanga minister ekiwandiiko ku kwemulugunya kwaba taxi bano nga bawakanya empooza eyitiridde eri KCCA saako n’ebigambibwa nti batulugunyizibwa.
Sentebe w’ekibiina ekigatta badereeva nebakondakita ekya DAK…