Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Eyatulugunya omwana we bamumujjeeko

Omukyala ow’emyaka 22 agambibwa okutulugunya omwana we gweyakeera enkya n’azaala asibiddwa omwaka gumu n’emyezi kkumi Kooti etuula ku city hall y’esalidde Sadriano Kemigisha ekibonerezo Omukyala ono ategeezezza kooti ekubirizibwa mulamuzi Juliet Hatanga nti yasalawo okutulugunya mutabani we kubanga kitaawe w’omwana abadde yamusuulawo Omukyala ono agambye nti kitaawe w’omwana ono omuzungu enzaalwa ye Denmark olwakizuula nti amufunisizza olubuto Omukyala ono…

Read More

Omusawo omulala akwatiddwa ku mukyala eyafa

Nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku mukyala agambibwa okufa ng’ajjamu olubuto mu kalwaliro e Mulago, waliwo musawo omulala akwatiddwa Dr Moses Muhwezi okuva mu kalwaliro aka Memory clinic e Mulago kigambibwa nti yeeyasooka okukola ku mukyala eyafa. Akulira poliisi ye Mulago Hashim Kasinga agamba nti omusawo ono olwalaba g’omulwadde atabuse kwekumusindika mu kalwaliro ka Mulago medical…

Read More

Amateeka ku Bodaboda- abasabaaze bakukwatibwa

Mu kawefube w’okukendeeza obubenje bwa bodaboda mu kibuga, poliisi evuddeyo n’amateeka ga boda zino amakakali. Kati owa boda anakwatibwa nga atisse omuntu asukka mwomu wakusasula engassi ya Mitwalo 20 oba okusibwa emyaaka 2 nga n’abasaabaze abanakwatibwa ku pikipiki eno nabo bakufuna ekibonerezo kyekimu. Abatikka bodaboda akabindo nabo bakubonerezebwa. Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano , Andrew Felix Kaweesi agamba…

Read More

Akabenje ke Lyaato-Emirambo gisindikiddwa e Congo

Oluvanyuma lw’akabenje k’eryato ku Nyanja ya Albertomwafiiridde abanonyi b’obubudamu abacongo abasoba mu 100 abaabadde badda ewabwe, gavumenti  eyongedde amaanyi nobwegendereza mu kuzza abacongo bano okwabobwe. Minister w’ababundabunda n’ebigwa tebiraze Hillary Onek agamba bategese ensisinkana n’abekitongole ky’ekibiin ky’amawanga amagatte ekikola ku babundabunda balabe engeri gyebayinza okuzza abacongo bano ku butaka okwewala abo abatoloka mu nkambi z’ababundabunda. Ono era…

Read More

Aba China batanudde okwekalakaasa

Ab’enganda z’abantu abafiira mu kabenje k’enyonyi ya Malaysia bagumbye ekitebe ky’eggwanga lya Malaysia mu kibuga ekikulu ekya Beijing nebatanula okwekalakaasa. Kino kiddiridde ssabaminisita w'eggwanga lya Malaysia Najib Razak okutegeza nga ebifaananayi bya setilayiti bwebyalaze nga enyonyi eno bweyagudde munda mu ggwanga lya Australia mu liyanja lya Buyindi China eyagala ebalage obukakafu kwesinziira okwogera bino. Ggo abamawanga agabadde bayigga…

Read More

Bubuulo-owa DP akyalajana

Okusunsula kwa  Munakibiina kya Dp okwesimbawo ku kujuza ekifo ky’omubaka w’ebubulo ey’obugwanjuba kuli mu lusuubo. Paul Butiiti akyali mabega wa mitayimbwa oluvanyuma lw’okukwatibwa ku lwomukaaga lwa wiiki eyise bweyetaba mu lukungaana lw’aboludda oluvuganya gavumenti poliisi lweyalinyamu eggere. Kati ssenkagale wa DP  Norbert Mao agamba bakyafuba kulaba nga omuntu waabwe asunsulwa nga taliwwo naawa eky’okulabirako ekya  Dr Kiiza…

Read More

Abeesimbwo ku bwanamunigina baluyiseeko

Ababaka ba palamenti abeesimbawo ku lwaabwe bafunye ku buwereero. Kooti ensukulumu eyawukanya ku etaputa ssemateeka ku ky’okugobwa kwa babaka bano oluvanyuma lwokuyingira palamenti ku tikiti y’ebibiina ebirala. Awatali kwetemamu abalamuzi omusanvu bonna basazeewo nti omutu okususulwa mu kibiina ekirala kimala okulaga nti yava dda mu kibiina kye ekikadde. Abalamuzi bano era bategezeza nga buli mubaka bwali ow’eddembe okusigala…

Read More

Kafumbe mukasa ali kumpi kuggwa

  Okuzimba enguudo o lwa Kafumbe Mukasa ne  Kisenyi kuli ku mitendera egisembayo. Omwogezi wa KCCA  Peter Kaujju agamba basazizaamu kontulakiti  ezenjawulo lwamulimu kukerewa. Agamba kati basigazza kulamba nguudo zino. Omulimu guno oguwemense obuwumbi obusoba 6  gwatandika mu 2011. Kampuni enzimbi eya Sterling eri mu kuzimba luguudo lwabuwumbi 5 nga yo eya dot servis bakukola ku mudumu gwakazambi ogwokuwementa akawumbi…

Read More

Ebigezo bya siniya y’omukaaga bikyaali

N’okutuusa kati ekitongole ky’ebyebigezo tekinamanya ddi lwekigenda kufulumya byaava mu bigezo bya siniya ey’omukaaga. Wiiki ewedde sabawandiisi wekitongole kino  Mathew Bukenya yategeeza nga ebibuuzo bino bwebyaali eby’okufuluma ku nkomerero ya wiiki eno. Wabula kati agamba tebanategeeza minister w’ebyenjigiriza ku nsonga eno nga ate tebanamaliriza nteekateka zonna. Bukenya agamba bakyasengega marks z’abayizi nga tebanafulumya bigezo bino.

Read More

Kooti ekola ku bakenuzi esigalewo

Kooti etaputa ssemateeka agaanye okuyimiriza emirimu gya kooti etaputa ssemateeka oluvanyuma lwa munnamateeka Davis Tusingwire okuwaaba nti yali ekola emirimu gyaayo mungeri ememnya amateeka. Tusingwire yali ayagala kooti eno ereme kugenda maaso nakukola mirimu gyaayo nga okwemulugunya kwe tekunawulirwa. Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu Bart Katureebe bategezezza nga omuwaabi bweyalemeddwa okuleeta obukakafu obumala nti ddala yandikoseddwa byansuso singa kooti eno…

Read More