Amawulire

Aba Kasokoso batabukidde gavumenti- teri kutusengula

Ali Mivule

March 18th, 2014

No comments

Abatuuze be Kasokoso bongedde okutabukira gavumenti Bano bagamba nti tebagenda kukkiriza kuteesa na gavumenti okutuusa ng’eraze ekyaapa ky’ettaka kwebabagoba Abatuuze aboogerwaako beebali ku byaalo okuli Kasokoso, Kireka D ne Banda B1. Bano balumiriza nti ettaka lyaabwe Bano babadde mu kakiiko akakola ku by’obuzimbi akanonyereza ku […]

Aba Alshabaab basse 14

Ali Mivule

March 18th, 2014

No comments

Bannalukalala mu ggwanga lya Somalia balumbye wooteeri mu masekkati gekibuga ekikulu Mogadishu BBomu gyebateze ebalukidde wabweru wa wooteri eno eyali esulwaamu amakuuma ddembe ne bakomando mu maggye Okuwnayisiganya amasasi kumaze essaawa nga 5 era abantu 14 okuva ku njuuyi zombie beebattiddwa Abakabinja ka Alshaabab beewanye […]

Baasi za Kaliita zikutte omuliro

Ali Mivule

March 18th, 2014

No comments

Baasi ezibadde zisimbiddwa mu garage zikutte omuliro Baais bbiri zeezakasaanawo ng’omuliro guno gukyayaka Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omuliro guno guvudde ku makanika wa baasi abadde azikanika omuliro negutandika. Abaziinya nooto tebannatuuka mu kitundu kino

Omusawo omulala akwatiddwa

Ali Mivule

March 18th, 2014

No comments

Poliisi e mulago ekutte omusawo eyalongosezza omulwadde mu ngeri emenya amateeka naafa. Dr Henry Kagoda okuva mu kalwaliro ka Mulago medical center  kigambibwa nti yabadde ajjamu omukyala nabaana  oluvanyuma lw’okufuna obuzibu mu kuzaala. Ab’enganda z’omugenzi baddusizza omugenzi mu ddwaliro ly’emulago nga ali bubi wabulo nebagaana […]

Mulwanyise obukubagano mu maka-Nabagereka

Ali Mivule

March 18th, 2014

No comments

Nabagereka wa Buganda Maama Sylvia Nagginda asabye abakyala okwongera okwegatta mu kulwanyisa ebikolwa ebityoboola eddembe lyaabwe. Maama okusaba kuno akukoze atongoza Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda ku pope Paul hotel mu Kampala. Nabagereka agambye nti abakyala balina okwerwanako naddala ku bikolwa eby’obutabanguko mu maka, okusobya ku baana wamu […]

Abatujju bagaala kulumba Uganda

Ali Mivule

March 18th, 2014

No comments

Poliisi ezzeemu okulabula bannayuganda ku bulumbaganyi bw’ekitujju. Kino kiddiridde ebifulumya nga abakambwe ba Al-Shabab bwebagala okulumba amaundiro g’amafuta, n’ebimotoka abigatambuza. Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Patrick Onyango agamba poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe ebirala kati batunulidde ebifo ebimotoka by’amafuta bino webitera okusimba  Naluwerere, Mbiko, Lugazi, […]

Eby’okwongezaayo okulonda bikyayogeza abantu

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Ekiteeso ekyongezaayo okulonda okutuuka mu mwaka gwa 2021 kifuuse namulanda. Ekiteeso kino kyaleetebwa omubaka we Nakifuma Sekitoleko Kafeero agamba nti tewaliwo ssente za kulonda ng’akakiiko akalondesa kakola ku bya ndaga Muntu na kubala bantu Ono agamba nti akakiiko okukongerako omulimu gw’okutegeka okulonda kaba kakuzitowererwa are […]

Ssentebe awonye okugajambulwa lwa kizindaalo

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Amyuka wa Ssentebe wa district ye Mukono Musa Kigundu awonedde watono okugajambulwa abatuuze b’okukyalo Kyetume mu gombolola ye Nakisunga  lwakizindaalo ki mukalakaasa. Abakungu bano okugwa ku kyokya,  babadde mu lukiiko lwe kyalo oluyitidwa okugonjoola enkayaana ezibaddewo ku kizindaalo kino wakati wa nanyinikyo  , n’ eyaliko […]

Omuyizi ekoneddwa motoka

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Omuyizi wa siniya y’okuna abadde asala ekkubo ekoneddwa emmotoka emuttiddewo wali e Kawempe ku ttaano. Peter Otheno akooneddwa taxi ebadde ewenyuka obuweewo. Muganda we agamba nti omugenzi abadde agenze kugula bikozesebwa ku ssomero nga yetegekera okugenda mu siniya ey’okutaano.

Aba Nigeria bakwatiddwa n’enjaga

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Poliisi e Katwe ekutte bannansi ba Nigeria babiri nga balina enjaga Kuno kuliko Peter Eze n’omulala ategerekeseeko erya Collin Abalala basobodde okudduka. Akulira poliisi ye Katwe, Ibrahim Saiga agamba nti enjaga bano babadde bagitembeeyeza mu bisawo mu bitundu by’ekibuga ebitali bimu.