Bannalukalala mu ggwanga lya Somalia balumbye wooteeri mu masekkati gekibuga ekikulu Mogadishu
BBomu gyebateze ebalukidde wabweru wa wooteri eno eyali esulwaamu amakuuma ddembe ne bakomando mu maggye
Okuwnayisiganya amasasi kumaze essaawa nga 5 era abantu 14 okuva ku njuuyi zombie beebattiddwa
Abakabinja ka Alshaabab beewanye dda okukola obulumbaganyi buno era nga bbo balumiriza nti basse ba komando 30
Baasi ezibadde zisimbiddwa mu garage zikutte omuliro
Baais bbiri zeezakasaanawo ng’omuliro guno gukyayaka
Abeerabiddeko n'agaabwe bagamba nti omuliro guno guvudde ku makanika wa baasi abadde azikanika omuliro negutandika.
Abaziinya nooto tebannatuuka mu kitundu kino
Poliisi e mulago ekutte omusawo eyalongosezza omulwadde mu ngeri emenya amateeka naafa.
Dr Henry Kagoda okuva mu kalwaliro ka Mulago medical center kigambibwa nti yabadde ajjamu omukyala nabaana oluvanyuma lw'okufuna obuzibu mu kuzaala.
Ab’enganda z’omugenzi baddusizza omugenzi mu ddwaliro ly’emulago nga ali bubi wabulo nebagaana okumulongoosa wabula yye omusawo ono ku mpaka n'amulongoosa okukkakkana ng'afudde.
Atwala poliisi y’emulago…
Nabagereka wa Buganda Maama Sylvia Nagginda asabye abakyala okwongera okwegatta mu kulwanyisa ebikolwa ebityoboola eddembe lyaabwe.
Maama okusaba kuno akukoze atongoza Ttabamiruka w'abakyala mu Buganda ku pope Paul hotel mu Kampala.
Nabagereka agambye nti abakyala balina okwerwanako naddala ku bikolwa eby'obutabanguko mu maka, okusobya ku baana wamu n'obwavu.
Nabagereka era asabye wabeewo obwenkanya mu kugabana eby'obugagga mu maka naddala ensimbi…
Poliisi ezzeemu okulabula bannayuganda ku bulumbaganyi bw’ekitujju.
Kino kiddiridde ebifulumya nga abakambwe ba Al-Shabab bwebagala okulumba amaundiro g’amafuta, n’ebimotoka abigatambuza.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango agamba poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe ebirala kati batunulidde ebifo ebimotoka by’amafuta bino webitera okusimba Naluwerere, Mbiko, Lugazi, Nakawa n’ebifo ebirala nga era basindiseyo dda basajja baabwe okubikuuma.
Agamba abasirikale ba…
Ekiteeso ekyongezaayo okulonda okutuuka mu mwaka gwa 2021 kifuuse namulanda.
Ekiteeso kino kyaleetebwa omubaka we Nakifuma Sekitoleko Kafeero agamba nti tewaliwo ssente za kulonda ng’akakiiko akalondesa kakola ku bya ndaga Muntu na kubala bantu
Ono agamba nti akakiiko okukongerako omulimu gw’okutegeka okulonda kaba kakuzitowererwa are nga n’ensimbi ziba zigenda
Ono agamba nti kyandibadde kirungi, bannabyabufuzi nebongerwa obudde nga…
Amyuka wa Ssentebe wa district ye Mukono Musa Kigundu awonedde watono okugajambulwa abatuuze b'okukyalo Kyetume mu gombolola ye Nakisunga lwakizindaalo ki mukalakaasa.
Abakungu bano okugwa ku kyokya, babadde mu lukiiko lwe kyalo oluyitidwa okugonjoola enkayaana ezibaddewo ku kizindaalo kino wakati wa nanyinikyo , n' eyaliko kansala we kitundu kino Babra Nalubwama.
Olukiiko lutandise bulungi era abatuuze abasinga…
Omuyizi wa siniya y’okuna abadde asala ekkubo ekoneddwa emmotoka emuttiddewo wali e Kawempe ku ttaano.
Peter Otheno akooneddwa taxi ebadde ewenyuka obuweewo.
Muganda we agamba nti omugenzi abadde agenze kugula bikozesebwa ku ssomero nga yetegekera okugenda mu siniya ey’okutaano.
Poliisi e Katwe ekutte bannansi ba Nigeria babiri nga balina enjaga
Kuno kuliko Peter Eze n’omulala ategerekeseeko erya Collin
Abalala basobodde okudduka.
Akulira poliisi ye Katwe, Ibrahim Saiga agamba nti enjaga bano babadde bagitembeeyeza mu bisawo mu bitundu by’ekibuga ebitali bimu.
Ng’enkuba egenda mu maaso n’okutonnya, abe Kamwokya bakaaba kabuyonjo
Wetwogerera nga bano bakyaama mu buveera bwebanyugunya mu myaala ngenkuba etonnye
Buno gyebigweera nga buzibikidde emyaala ate amataba negabaddira
Abatuuze aboogerwaako beebabeera mu Zooni ya Kamwokya B ng’akulira ekitundu kino Ali Mutyaba agamba nti kabuyonjo eziriwo zakusasula ate nga bangi tebalina nsimbi