Amawulire
Omukazi ayokerezza omwanawe mu nyumba
Omukazi ayombye nebba nava mu mbeera nayokya enyumba yaabwe omufiiridde omwana wabwe ow’emyeezi 3 ,sso nga basatu basigadde ku ssaala olw’ebisago ebyamaanyi byebafunye. Bino bibadde e Kosovo Lungujja ku nkingizi z’ekibuga Kampala ku ssaawa nga munaana nga busaasana . Aduumira poliisi ya Old Kampala Joram Mwesigye […]
Owa poliisi asobeza ku musibe
E Soroti omusirikale wa poliisi akwatiddwa lwa kusobya ku musibe omukyala abadde agaliddwa mu kaduukulu ka poliisi lwa bwenzi . Omusirikale ono ategerekeseko erya Olinga avunanibwa kukakana ku Susan Alungat 20, omutuuze ku kyalo Olwelai namukaka omukwano. Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’obuvanjuba bw’ekitunu kya […]
Tenda etabudde Abasubuzi b’omukatale k’e Kireka
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi bomu katale ke kireka oluvanyuma lw’ebiwayi bibiri okufuna obutakanya ku ani alina okufuna tenda y’okuddukanya akatale kano. Ekiwayi kya Dan Mubiru kilumbye aba Muzzanganda wasswa olwo nezidda okunywa ekiwalirizza poliisi okubakubamu omukka ogubalagala okusobola okukakanya embeera. Dan Mubiru nga […]
Natti zissiddwa ku Uganda lwa tteeka lya bisiyaga
Palamenti y’amawanga ga bulaaya esembye eky’okuteeka natti enkakali ku Uganda ne Nigeria lwakuyisa mateeka agawera ebisiyaga mu mawanga gano. Ababaka abasinga obunji basazeewo okusibira amawanga gano ekikookolo nga bagamba nti baatyobola eddembe ly’obuntu ekitakirizibwa mu mateeka g’ensi yonna. Bano baagala bonna abetaba mu kuyisa etteeka […]
Buganda yakukuza olunaku lw’abakyala
Buganda egenda kutandiika okukuza olunaku lw’abakyala buli mwaka. Omwaka guno Buganda yakutandika okukuza olunaku lw’abakyala nga 16 omwezi guno n’omupiira gw’abakyala mu masaza agenjawulo. Nga 18 abakyala bakubeera ne ttabamuluka agendereddwamu okukubanganya ebiroowozo kungeri eyokutumbula embeera z’abakyala. Minister w’abakyala mu Bwakabaka Christine Mugerwa Kasule agambye […]
Mwetegekere amataba
Ng’ebiseera by’enkuba bitandika butandisi, poliisi enziinya mooto alabudde abali mu bifo ebirumbibwa amataba okubeera obulindaala Ebifo ebikosebwa amataba naddala mu kampala kuliko Namasuba, bwaise, kawempe ne kalerwe ate bbo ababeera ku nsozi ng’abe Buduuda nabo batera okulumbibwa bibamba Akulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti […]
Omukyala atemuddwa n’omwana we ku mugongo
Ku kyaalo Kalongo e Kibalinga Mubende, entiisa ebuutikidde abaayo oluvanyuma lw’abazigu abatanategerekeka okulumba omukyala abadde u kulima nebamuwamba n’oluvanyuma nemamutemako omutwe. Bakalittima bano omukyala ono bamusazeko omutwe ng’ali n’omwana we ku mugongo, tebakomye awo n’omwana nebamusalako omutwe kyokka nga tabamusumuluddeeyo mu mugongo. Omukyala attiddwa […]
Loodimeeya Lukwago azzeeyo mu kooti- okulonda kuyimirire
Loodi Meeya Lukwago akyalwana nga musajja okusigaza ekifo kye eky’obwaloodi meeya wa Kampala. Kati mu kawefube w’okulemesa akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda anamuddira mu bigere, okwemulugunya kwe akututte mu kooti nga awakanya okulonda kuno kwagamba nti kumenya mateeka nga ensonga ze ku by’okugobwa ku bwa loodi […]
Ebipya ku nyonyi eyabula
Ebipya bizuuliddwa ku nyonyi ya Malaysia eyabuze. Obubaka obwasemba okuwerezebwa abaali ku nyonyi eno bulaga nga buli kimu kyaali bulungi Omuyiggo gwenyonyi eno gukyagenda mu maaso ng’abayigga beebulunguludde agayanja g’omu South Asia. Enyonyi eno eyali eyolekera eggwanga lya China yabula ng’eriko abantu 239. Ku bantu […]
Olunaku lw’ebyobuwangwa
Ng’eggwanga lyetegeka okukuza olunaku lw’obuwangwa, emisono emikopperere kikyaali kizibu Muno mwemuli n’enyambala nga bangi beeyunidde ya bazungu Ng’ayogerako eri bannamawulire, minisita akola ku nsonga z’abakadde Sulaiman Madada asabye bannayuganda okwagala ennono zaabwe n’obuwangwa Olunaku lw’ebyobuwangwa lukwatibwa buli nga 21 omwezi gw’okusatu era ng’emikolo gya luno […]