Amawulire
Etteeka erikaka abantu okwagala eggwanga lijja
Gavumenti egenda kuleeta etteeka nga kikakata ku buli munnayuganda okwagala eggwanga lye Minisita wa kampala Frank Tumwebaze y’ategeezezza bino bw’abadde alabiseeko mu kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga Ategeezezza ababaka nti bannayuganda bonna balina okwagala eggwanga lyaabwe era etteeka lino lijja kussaawo ebibonerezo eri abo […]
Omuyimbi Lutaaya amabanja gamuli mu bulago
Eby’omuyimbi Goeffrey Lutaaya ssi birungi n’akatono. Waliwo omusuubuzi amukubye mu mbuga z’amateeka ng’amulanga kugaana kumusasula obukadde obusoba mu musanvu n’ekitundu Lutaaya akyaali omugole amuwaabye ye Godfrey Kibalizi Kibalizi agamba nti yawola Lutaaya ssente era nebakola endagaano naye akyagaanye okumusasula. Aleese ne ne cheeque ezaamuweebwa Lutaaya […]
Abazigu babayodde
Poliisi ekoze ekikwekweto e Wandegeya n’eyoola abagambibwa okuba abazigu 31 Abakwatiddwa kigambibwa nti babadde bakozesa ebiragalalagala mu bitundu bye Katanga, Kikoni ne Kagugube zone. Abantu bano kigambibwa okuba nti babadde baduumirwa Ronald Kiggundu Aduumira ebikwekweto e Kawempe Celestine Tukahirwe agamba nti abavubuka bano betegeka bulungi […]
Akakiiko tekannafuna bbaluwa ya loodimeeya
Akakiiko k’ebyokulonda keganye eby’okufuna ebbaluwa yonna okuva ewa Loodi Meeya Wa Kampala Erias Lukwago ekalabula ku kujuza ekifo kye eky’obwaloodi meeya. Lukwago olunaku olw’egulo yavuddemu omwasi ku kulonda kuno okutekebwatekebwa akakiiko kano okujuza ekifo kye n’akalabula okukakuba mu mbuga z’amateeka kebatasazamu kulonda kuno. Ono era […]
Omuwala ayakakibwa omukwanoe kirindi asiibuddwa
Omuwala Zainabu Mbabazi eyakakakibwa omukwano ekirindi abasajja enzaalwa ye pakistan asiibuddwa okuva mu mikono gya Actionaid ng’ali mu mbeera nnungi. Ono alabise nga yalina wamuluma ategeezezza nga kati bw’awulira obulungi ng’era mwetegefu okutandika obulamu obulungi. Yeebazizza aba cationa aid ne FIDA uganda olw’okumununula okuva e […]
Ekitongole ky’abakyala mu poliisi-enkyuukakyuuka zikoleddwa
Ssenkaggale wa poliisi Gen kale Kaihura atogonzezza ekiwayi mu poliisi ekinaakola ku nsonga z’abakyala Kino kizze ng’abakyala bakakuza olunaku lwaabwe. Ekiwayi kino kyakola ku nsonga z’aba poliisi abakyala Kaihura agamba nti balonze Chelimo Byata okukulembera ekibiina kino. Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti senkaggal;e […]
Ekiri mu Darfur kibi
Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte balagudde nti wandibaawo akavuyo akaggya mu kitundu kye Darfur nga kino kisangibwa mu Sudan. Abantu abali mu mitwalo ataano beebagambibwa okuba nga tebakyalina webegeka luba era nga n’abakuuma ddembe bigaaniddwa okutuuka mu kitundu kino Okulwanagana okusinga kuli wakati w’ebibinja bya bawarabu abatalima […]
Aba DP bazize okulonda kwa meeya- Seya yesowoddeyo
Ab’ekibiina kya DP nabo begasse ku ba FDC okuzira okulonda okuggya okwa loodimeeya. Akulira ekibiina kino, Nobert Mao ategeezezza ng’okulonda kuno bwekulimu ekiiso ekibi era nga kugendereddwaamu kucankalanya mbeera ya byabufuzi. Mao agamba nti bateekateeka okusisinkana ne bannamateeka ba loodimeeya Erias Lukwago okuteesa ku kiddirira […]
Abataasoma bagaala kuyingira palamenti
Abataasoma wansi w’ekibiina kyaabwe ekibagatta bagaala kufuna bakiise mu palamenti Bano baliko omukuku gw’ebbaluwa gwebakuutidde sipiika Kadaga nga bagamba nti basuuliddwa emabbali okumala ebbanga Abakulira John Bukenya agamba nti bannabyabufuzi babakozesa mu bululu kyokka nga tebakola ku bibaluma. Bagala bafune omukiise mu buli kitundu kubanga […]
Abawakanya etteeka ku bisiyaga bagenze mu kkooti
Olutalo ku tteeka ly’ebisiyaga lugenze mu kkooti Abaddukidde mu kooti bagaala okussa mu nkola etteeka lino kuyimirizibwe kubanga etteeka mu kusooka lyayisibwa ababaka ba lubatu. Bagala era etteeka lino lireme kussibwa mu lubu lw’amateeka agakola Abawaabyegavumenti kuliko Prof. Joe Oloka-Onyango, omubaka Fox Odoi, munnamawulire Andrew […]