Amawulire
Temwanika buziina
Kamalabyonna wa Buganda oweki Charles Peter Mayiga asabye abantu bonna balina enkayaana mu bika byaabwe okukoma okuyomba mu lujjudde Kiddiridde ab’ekika ky’empewo okwemulugunya ku mannya agatuumibwa nti gakozesebwa n’ebika ebirala Bino katikiro abyogedde akwata ettofaali okuva eri ababantu abatali bamu abaleese ensimbi eziwerera ddala obukadde […]
Omukazi asudde omwana mu mugga
Poliisi e Mbarara ekutte omukyala asudde omwana we mu mugga Omwana gw’asudde wa wiiki emu. Akwatiddwa ategerekese nga Justice nalule omutuuze we Mbarara ng’omwana amusude mu mugga gwa Rwizi. Nalule agambye nti omwana w’amusuulidde nga yafudde dda kyokka nga waliwo abamulumiriza nti yabagamba nti […]
Kasibante talabiseeko mu kkooti- omusango gugenze mu maaso
Omubaka wa Rubaga ey’obukiika kkono , Moses Kasibante talabiseeko mu kooti ku musango ogumuvunanibwa ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okwonona emmotoka ya poliisi. Wabula munamateekawe Simon Ssebyuuma awaddeyo okwewozaako kw’omuntu we nasaba kooti emwejereze kubanga tayononangako mmotoka ya poliisi yonna nga bwekigambibwa. Ono era asambazze ebya […]
Lukwago kyaddaaki ayogedde- Okulonda kukyaamu
Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago kyadaaki avuddemu omwaasi ku kujuza ekifo kye eky’obwaloodi meeya mu kampala. Lukwago ategezezza nga bweyawandiikidde dda akakiiko k’ebyokuonda nga abalabula ku kabi akali mu kutegeka okulonda kuno era singa tebakuyimiriza wakugenda mu kooti. Mu bbaluwa gyawaddeko omuwandiisi wa Kooti ne […]
Alipoota ya UMEME eriwa
Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala sipiika wa palamenti afulumya alipoota y’akakiiko ka palamenti akaanonyereza ku mirimu gya kampuni y’amasanyalaze eya UMEME. Bano bagamba nti ekitongole kino kiseera amasanyalaze eri banayuganda nga ate n’empeereza yakyo tematiza. Ssentebe w’ekibiina kya anti- corruption coalition Uganda Cissy Kagaba […]
Poliisi yegaanye okutuntuza aba Mbabazi
Poliisi yeganye ebigambibwa nti etuntuza abawagizi ba sabaminisita w’eggwanga, Amama Mbabazi abaagala yesimbewo ku bukulembeze bw’eggwanga mu 2016. Mu kiwandiiko omwogezi wa poliisi mu ggwanga Judith Nabakooba agamba poliisi tetuntuza Muntu yenna olw’endowooza zabwe ku by’obufuzi nga bwebizze byogerwa mu mawulire. Nabakooba agamba nti yadde […]
Ababaka ba kampala batabuse ku bya loodimeeya
Ababaka ba palamenti abava mu Kampala baweze obutetaba mu kulonda kwa loodi meeya wa kamapala. Bano nga bakulembeddwamu owa Kawempe North Latif Sseabagala bagamba nti enteekateeka yonna emenya mateeka. Agamba akakiiko k’ebyokulonda kandifunye abakugu mu kutaputa amateeka nebakalungumya ku nsonga nga zino. Akakiiko k’ebyokulonda kateekawo […]
Aba NRM batuula leero
Abakungu mu kakiiko akafuzi mu kibiina kya NRM basisinkana leeromu maka ga pulezidenti Entebbe AKakiiko kano ng’omulimu gwaako kulaba nti ekibiina kitambula bulungi bagenda kuteesa ku biseera by’ekibiina eby’omu maaso. Ssabawandiisi wa NRM, Amama Mbabazi agamba nti bagenda kuteesa ku bukulembeze bw’ekibiina mu palamenti Wabula […]
Ebikwekweto ku paaka byakugenda mu maaso
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority yakweyongera mumaaso n’ekikwekweto ku paaka ezekimpatira eziri mukibuga wakati. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti kino kigendereddwamu okukendeeza omujjuzo mukibuga KCCA yakaggala paka eziwerako nga mwemuli Cooper Complex Park, paka y’a siteegi ye Ggaba ne Kasanga, kko ne […]
Okusonda eza masiro kuddmau leero
Kawefube w’okusonda ettafaali ly’amasiro ge Kasubi addamu okutojjera olunaku olwaleero. Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero wakukuba olusisira mu bimuli bwa Bulange okwaaniriza abantu abagaala okuwaayo ettafaali. Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi agambye nti abantu ba Ssabasajja okuva mu masaza omuli Kyadondo, Busiro Kyagwe […]