Amawulire
Enyonyi ebaddeko abantu 239 ebuze
Amawanga aga Asia gakwataganye okuyigga enyonyi ebaddeko abant 239 ebulidde mu bwengula. Enyonyi eno ebadde eba Malaysia ng’eyolekera Vietnam Enyonyi eno ebuze yakava mu kibuga Kuala Lumpur Minista wa Malaysia akola ku byentambula agamba nti tebannafuna mawulire gonna gakwatagana na kipapangulo kya nyonyi eno kusangibwa […]
Avuganya Kagame alumbiddwa
Eggwanga lya South Africa ligobye ababaka aba Rwanda basatu nga kiteberezebwa nti bano baliko kyebamanyi ku kuluma okwakoleddwa kw’omu ku bavuganya gavumenti ya Paul Kagame Ne Rwanda nno nayo eyasimudde egoba abakungu ba South Africa 6 ababadde mu ggwanga lino. Kino kiddiridde abasajja ababadde bakwaataganye […]
Tulina loodimeeya-Ken Lukyamuzi
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti balumbye akakiiko akalondesa olw’okutegeka okulonda kwa loodimeeya ate nga bakimanyi nti wakyaliwo emisango mu kooti Kiddiridde akakiiko kano okussaawo olunaku lwa nga 17 omwezi ogujja okulonderako loodimeeya omuggya Omubaka akiikirira abantu be Rubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi agamba […]
Lunaku lwa bakyala
Emikolo gy’olunaku lw’abakyala mu nsi yonna gigenda mu maaso e kumi ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri kaguta Museveni amaze okutuuka Emikolo gino gyetabiddwaako abantu abatali bamu okuli ababaka mu palamenti, ba minister n’abakulembeze ku mitendera gyonna Yyo gavumenti etenderezeddwa olw’omulimu gwekoze mu kulwaniriraa eddembe lyabakyala Omubaka omukyala […]
asse muganzi we
Poliisi Mu kampala eri ku muyiggo gwa muSajja atemudde muganzi we Juliet Nabona abadde akola ng’omuwandiisi ku ssomero lya Bukoto high school. Omukyala ono yattiddwa muganzi we ategerekese ga David Mulindwa oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya. Akulira poliiisi y’oku luguudo lwe Kira, Denis Waayama agamba nti omusajja […]
Abaazimba mu ntobazi bubakeredde
Obudde bw’abantu abazimba mu ntobazi buweddeko. Minisitule ekola ku nsonga z’amazzi n’obutonde bw’ensi egenda kutandika okussa mu nkola ekiragiro kya ssabawolereza wa gavumenti okusazaamu ebyapa by’ettaka lyonna eriri mu ntobazi Minisita omubeezi akola ku by’obutonde bw’ensi , Flavia Munaaba agamba nti omulimu guno gutandise Ono […]
Ogwa Kananura gwongezeddwaayo
Omusango oguvunaanibwa munnabyabusuubuzi Andrew Kananura amanyiddwa nga Desh tegugenze mu maaso olwaleero era bwegutyo negweongezebwaayo okutuuka nga 16 omwezi ogujja Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu Joyce Tumushabe lutegeezezza kkooti nti okunonyereza kukyagenda mu maaso Desh ne muganda we Raymond Kananura bavunaanbwa kukuba nebatta omukozi mu baala […]
Abakuba obutayimbwa bavunaanibwe
Ssabawaabi wa gavumenti alagidde nti abasajja abana abagambibwa okukuba abantu obutayimbwa bavunaanibwe mu kooti enkulu Abana bano nga bakulembeddwaamu Gofrey Lukwago balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Juliet Hatanga nekikakasibwa nti okunonyereza kuwedde Oludda oluwaabi lugamba nti mu kiro ky’ennaku z’omwezi 16 omwezi gw’okutaano ,abasajja bano nga […]
NRM ngumu nnyo
Ekibiina kya NRM kigumu era nga tekirina gyekiraga. Ababaka mu kibiina kya NRM bavuddeyo nebagumya bannakibiina nti enkayana eziri mu kibiina tezitegeeza nti kigenda kugwa Kiddiridde eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye okutegeeza ng’enkayaana ezigenda mu maaso bw’eri entandikwa y’olutalo mu kibiina olunakisuula […]
Eyali omuyekeera gumusse mu vvi
Kooti y’ensi yonna esingisizza eyali omukwata muntu mu ggwanga lya Congo emisango gy’okutanula entalo kyokka egy’okukaka abakyala omukwano n’agibuuka Germain Katanga emisnago gino yagizzamu mwak agwa 2003 mu kitundu kye Ituri nga kino kikubyeeko zaabu Y w’okubiri okusingisibwa emisango mu kooti eno bukyanga essibwaawo mu […]