Poliisi e Mbarara ekutte omukyala asudde omwana we mu mugga
Omwana gw’asudde wa wiiki emu.
Akwatiddwa ategerekese nga Justice nalule omutuuze we Mbarara ng’omwana amusude mu mugga gwa Rwizi.
Nalule agambye nti omwana w’amusuulidde nga yafudde dda kyokka nga waliwo abamulumiriza nti yabagamba nti abadde tamanyi taata wa mwana.
Omwogezi wa poliisi e Mbarara Polly Namaye agambye nti bakyagenda…
Omubaka wa Rubaga ey’obukiika kkono , Moses Kasibante talabiseeko mu kooti ku musango ogumuvunanibwa ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okwonona emmotoka ya poliisi.
Wabula munamateekawe Simon Ssebyuuma awaddeyo okwewozaako kw’omuntu we nasaba kooti emwejereze kubanga tayononangako mmotoka ya poliisi yonna nga bwekigambibwa.
Ono era asambazze ebya Kasibante okukuba olukungaana olumenya amateeka wali e Nankulabye nagamba nti abantu bebagoberera…
Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago kyadaaki avuddemu omwaasi ku kujuza ekifo kye eky’obwaloodi meeya mu kampala.
Lukwago ategezezza nga bweyawandiikidde dda akakiiko k’ebyokuonda nga abalabula ku kabi akali mu kutegeka okulonda kuno era singa tebakuyimiriza wakugenda mu kooti.
Mu bbaluwa gyawaddeko omuwandiisi wa Kooti ne minister wa Kampala , Lukwago ategezezza nga okulonda kuno bwekuli wabweru w’amateeka…
Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala sipiika wa palamenti afulumya alipoota y’akakiiko ka palamenti akaanonyereza ku mirimu gya kampuni y’amasanyalaze eya UMEME.
Bano bagamba nti ekitongole kino kiseera amasanyalaze eri banayuganda nga ate n’empeereza yakyo tematiza.
Ssentebe w’ekibiina kya anti- corruption coalition Uganda Cissy Kagaba agamba UMEME eseera banayuganda amasanyalaze nga ate egatunda mu mawanga agaliranyewo ku…
Poliisi yeganye ebigambibwa nti etuntuza abawagizi ba sabaminisita w’eggwanga, Amama Mbabazi abaagala yesimbewo ku bukulembeze bw’eggwanga mu 2016.
Mu kiwandiiko omwogezi wa poliisi mu ggwanga Judith Nabakooba agamba poliisi tetuntuza Muntu yenna olw’endowooza zabwe ku by’obufuzi nga bwebizze byogerwa mu mawulire.
Nabakooba agamba nti yadde nga okunonyereza ku buzzi bw’emisango obwekuusa ku bukuubagano mu kibiina kino kukyagenda…
Ababaka ba palamenti abava mu Kampala baweze obutetaba mu kulonda kwa loodi meeya wa kamapala.
Bano nga bakulembeddwamu owa Kawempe North Latif Sseabagala bagamba nti enteekateeka yonna emenya mateeka.
Agamba akakiiko k’ebyokulonda kandifunye abakugu mu kutaputa amateeka nebakalungumya ku nsonga nga zino.
Akakiiko k’ebyokulonda kateekawo olunaku lwa nga 17 omwezi ogujja okulonderako loodi meeya omujja oluvanyuma lwa bakansala…
Abakungu mu kakiiko akafuzi mu kibiina kya NRM basisinkana leeromu maka ga pulezidenti Entebbe
AKakiiko kano ng'omulimu gwaako kulaba nti ekibiina kitambula bulungi bagenda kuteesa ku biseera by'ekibiina eby'omu maaso.
Ssabawandiisi wa NRM, Amama Mbabazi agamba nti bagenda kuteesa ku bukulembeze bw'ekibiina mu palamenti
Wabula ate ensonag ennekusifu zitutegeezezza nga bano bwebagenda okwogera ku njawukana mu kibiina nga…
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority yakweyongera mumaaso n’ekikwekweto ku paaka ezekimpatira eziri mukibuga wakati.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti kino kigendereddwamu okukendeeza omujjuzo mukibuga
KCCA yakaggala paka eziwerako nga mwemuli Cooper Complex Park, paka y’a siteegi ye Ggaba ne Kasanga, kko ne ya Namuwongo ebadde Konrad Plaza awo kuluguudo lwe Entebbe.
Kawefube w’okusonda ettafaali ly’amasiro ge Kasubi addamu okutojjera olunaku olwaleero.
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero wakukuba olusisira mu bimuli bwa Bulange okwaaniriza abantu abagaala okuwaayo ettafaali.
Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi agambye nti abantu ba Ssabasajja okuva mu masaza omuli Kyadondo, Busiro Kyagwe n’amalala beebasubirwa okwetaba mu kusonda kuno.
Walusimbi era agambye nti entekateka za Katikiro…
Kooti yakutandika okuwulira okujulira okwakolebwa Godfrey Kato Kajubi nga 31 omwezi guno
Kajubi yasingisibwa emisango gy;okusaddaka omwana ow’emyaka 12 Joseph Kasirye
Ono yasibwa mayisa omulamuzi Mikael Kibita eyaguli mu mitambo.
Kajubi nomusawo w’ekinnansi Umar Kateregga kko ne mukyala we Mariam Nabukeera basaddaako omwana ono mu mwaka gwa 2008
Omulambo gwa Kasirye gwasangibwa mu gusuuliddwa mu kitoogo nga teguliiko mutwe…