Amawulire
Mwetegeke Enkuba Ejja
Gavumenti ewadde amagezi abalimi mu ggwanga okwetegeka okusiga kubanga enkuba essaawa yonna etandika okutonya. Minister omubeezi ow’obutonde bw’ensi Flavia Munaaba agamba okusiziira ku kitongole ky’entebereza y’obudde, enkuba yandyeyongera okuba eyamanyi ku nkomerero y’omwezi guno. Wabula alabudde ababeera mu bitundu ebitera okutataganyizibwa amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka […]
Nabagereka Asiimiddwa
Nabagereka wa Buganda maama Sylvia Nagginda,aweereddwa obuyima bw’ekibiina ekibudabuda n’okujanjaba abantu abalina obulwadde obutawona ekya Hospice Africa Uganda.. Nabagereka azze mu kifo ky’omugenzi Prof. James Mulwana eyafa omwaka oguwedde Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ekibiina kino, okulonda Nabagereka besigamye ku mirimu amakula gyakolera obwakaba naddala mu […]
Abbye Etooke Atanziddwa
Mu district ye Lwengo omusajja atanziddwa emitwalo 75 lwakubba enkota ye tooke okuva mu lusuku lwamuliranwa. Wasswa Sentongo nga mutuuze ku kyaalo kyanukuzi yakwatiddwa oluvanyuma lw’okuyunja etooke lya Jimmy Makumbi mu matumbi budde. Ono olukedde atukidde ku poliisi nemuwa embwa enkonzi y’olusu era okukakana […]
Ayambye Okugyamu Olubuto Akwatiddwa
Police mu District ye Namayingo ekutte omusajja ow’emyaka 43 lwakuyambako mukyaala kugyamu lubuto. Twayiri Bataamye yakwatiddwa oluvanyuma lw’okuyamba sarah Taabu okukwakulamu olubuto . Aduumira poliisi ye Namayingo Benson kiconco ategezezza nga ono bwali ow’okutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunanibwe ogw’okuyambako omuntu okujjamu olubuto n’okutta omwana […]
Ababaka baddembe okukiika- Kadaga
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alangiridde nti ababaka abana abagobwa mu palamenti baddembe okuddamu okwetaba mu nkiiko za palamenti Ng’ayogerako eri palamenti olw’eggulo lwa leero, Kadaga agambye nti ababaka bano era bakusasulwa omusaala n’ensako zaabwe Kiddiridde kooti y’okuntikko mu ggwanga okulagira ababaka badde mu […]
Twegatteko- Besigye eri Mbabazi
Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akokonye ku luggi lwa ssabaminista amama Mbabazi. Besigye asabye Mbabazi obutasuula kigendererwa kya kya kwesimbawo kubanga oyo ye demokulasiya Bino bizze ng’ababaka mu kabondo ka NRM alemeddeko nti teri Muntu kwesimba ku pulezidenti museveni . Besigye agamba […]
Omuyizi yetuze
Omuyizi mu ssomero lya Trinity College Nabbingo yetuze Mwana ono ategerekese nga Mariam Kamwaka nga yetugidde mu kisulo ky’abayizi. Bakwano be bagamba nti yali yasigala mu siniya y’okusatu kyokka n’alemerako ng’ayagala ku siniya ya kuna era okuwandiika abanaakola ebigezo bwekwatuuse, omwana ono nebamugaana okwewandiisa Wano […]
Ogwa Lukwago gwa mwezi guno
Kooti enkulu mu ggwanga etaddewo olwa nga 20 March okuwulirako omusango ogwawaabwa loodimeeya Erias Lukwago ku by’okumugoba mu ofiisi. Lukwago ayagala alipoota eyakolebwa akakiiko eyamulumiriza obutakola mirimu esazibweemu kubanga yalimu kyekuubira Lukwago era agamba nti ekya minista Frank Tumwebaze okwongezaayo obudde bw’akakiiko kano nakyo kyaali […]
Mulekere awo okwambula abakyala- Katikkiro
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alagidde nti wabeewo ekkomo ku bikolwa by’okwambula abakyala. Bw’abadde ayogerako eri nasiisi w’omuntu ku katale ke wa kiseka, kamalabyonna agambye nti ekikolwa kino kiweebula abakyala era nga kirina okukoma mbagirawo. Agambye nti abasajja abakola kino bagweenyufu nnyo n’okusingako abambala […]
Ababaka Nsereko, Kivumbi,ne SSekikubo bakwatiddwa
Ababaka basatu bakwatiddwa oluvanyuma lwa poliisi okukuba omukka ogubalagala mu katale ke wa kisekka. Emirimu gisoose kusanyalala mu katale kano oluvanyuma lwa Poliisi okukuba omukka ogubalagala mu basuubuzi kano ababadde bakungaanye okukulisa ababaka muhammade Nsereko ne Theodre ssekikubo. Omubaka we Butambala Muwanga Kivumbi yabadde abavuga […]