Nabagereka wa Buganda maama Sylvia Nagginda,aweereddwa obuyima bw’ekibiina ekibudabuda n’okujanjaba abantu abalina obulwadde obutawona ekya Hospice Africa Uganda..
Nabagereka azze mu kifo ky’omugenzi Prof. James Mulwana eyafa omwaka oguwedde
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ekibiina kino, okulonda Nabagereka besigamye ku mirimu amakula gyakolera obwakaba naddala mu by’obulamu ne Uganda okutwaliza awamu.
.Abakulira ekibiina bagamba ye nga Nnabagereka ,wakuyamba mu kusembereza…
Mu district ye Lwengo omusajja atanziddwa emitwalo 75 lwakubba enkota ye tooke okuva mu lusuku lwamuliranwa.
Wasswa Sentongo nga mutuuze ku kyaalo kyanukuzi yakwatiddwa oluvanyuma lw’okuyunja etooke lya Jimmy Makumbi mu matumbi budde.
Ono olukedde atukidde ku poliisi nemuwa embwa enkonzi y’olusu era okukakana nga batuuse ku mulyango gwa Sentongo.
Makumbi alemeddeko nti okujako nga aliyiriddwa emitwalo 75…
Police mu District ye Namayingo ekutte omusajja ow’emyaka 43 lwakuyambako mukyaala kugyamu lubuto.
Twayiri Bataamye yakwatiddwa oluvanyuma lw’okuyamba sarah Taabu okukwakulamu olubuto .
Aduumira poliisi ye Namayingo Benson kiconco ategezezza nga ono bwali ow’okutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunanibwe ogw’okuyambako omuntu okujjamu olubuto n’okutta omwana ow’emyeezi 7.
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alangiridde nti ababaka abana abagobwa mu palamenti baddembe okuddamu okwetaba mu nkiiko za palamenti
Ng’ayogerako eri palamenti olw’eggulo lwa leero, Kadaga agambye nti ababaka bano era bakusasulwa omusaala n’ensako zaabwe
Kiddiridde kooti y’okuntikko mu ggwanga okulagira ababaka badde mu palamenti okutuusa ng’emaze okuwulira okujulira kwaabwe
Ababaka aboogerwaako kuliko Mohammed Nsereko, Theodore Ssekikubo,…
Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akokonye ku luggi lwa ssabaminista amama Mbabazi.
Besigye asabye Mbabazi obutasuula kigendererwa kya kya kwesimbawo kubanga oyo ye demokulasiya
Bino bizze ng’ababaka mu kabondo ka NRM alemeddeko nti teri Muntu kwesimba ku pulezidenti museveni .
Besigye agamba nti ekirooto kye kisobola okutuuirira ssinga yegatta ku bakkiririza mu demokulasiya nga yye
Omuyizi mu ssomero lya Trinity College Nabbingo yetuze
Mwana ono ategerekese nga Mariam Kamwaka nga yetugidde mu kisulo ky’abayizi.
Bakwano be bagamba nti yali yasigala mu siniya y’okusatu kyokka n’alemerako ng’ayagala ku siniya ya kuna era okuwandiika abanaakola ebigezo bwekwatuuse, omwana ono nebamugaana okwewandiisa
Wano weyavudde n’agenda mu kisulo era neyeyimbamu omuguwa neyetuga
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano…
Kooti enkulu mu ggwanga etaddewo olwa nga 20 March okuwulirako omusango ogwawaabwa loodimeeya Erias Lukwago ku by’okumugoba mu ofiisi.
Lukwago ayagala alipoota eyakolebwa akakiiko eyamulumiriza obutakola mirimu esazibweemu kubanga yalimu kyekuubira
Lukwago era agamba nti ekya minista Frank Tumwebaze okwongezaayo obudde bw’akakiiko kano nakyo kyaali kikyaamu era ng’atankana ebyaliwo okuva olwo.
Ayagala er asasulwe olw’okutulugunyizibwa kw’ayiseemu ebbanga lino…
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alagidde nti wabeewo ekkomo ku bikolwa by’okwambula abakyala.
Bw’abadde ayogerako eri nasiisi w’omuntu ku katale ke wa kiseka, kamalabyonna agambye nti ekikolwa kino kiweebula abakyala era nga kirina okukoma mbagirawo.
Agambye nti abasajja abakola kino bagweenyufu nnyo n’okusingako abambala enkunamyo
Agambye nti mu nnono ya Buganda kikyaamu okwambula omukyala era nga abakikola…
Ababaka basatu bakwatiddwa oluvanyuma lwa poliisi okukuba omukka ogubalagala mu katale ke wa kisekka.
Emirimu gisoose kusanyalala mu katale kano oluvanyuma lwa Poliisi okukuba omukka ogubalagala mu basuubuzi kano ababadde bakungaanye okukulisa ababaka muhammade Nsereko ne Theodre ssekikubo.
Omubaka we Butambala Muwanga Kivumbi yabadde abavuga era naye akwatiddwa.
Abalala abakwatiddwa kuliko Theodre Ssekikubo, ne Mohammed Nsereko
Ababaka bano babadde…
Amasomero agasinga gasizza obubonero abayizi ba siniya eyokutaano kwebagenda okuyingirira .Mengo senior Secondary School abalenzi ebatwalidde ku bubonero 21 ate abawala 18 .
Ndejje Senior secondary school 20 eri abalenzi, 22 ku bawala.
Gombe senior secondary ekomye ku 21 abalenzi ate 24 abawala.
Masaka Secondary school abalenzi etutte bafunye 38 nga abawala ekomye ku 42 .
Twogeddeko n’akulira essomero…