Amawulire
Obukiiko obwakoleddwa minista wa kampala bukyaamu
Abamu ku babaka b’oludda oluvuganya gavumenti bakyawakanya ekya minisita wa Kampala Frank Tumwebaze okuteekawo obukiiko bwa bakansala okuddukanya emirimu mu KCCA awatali loodi meeya. Minista wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisikirize Betty Nambooze agamba nti minista akkirizibwa okuyita olukiiko lwa bakansala ssi kubateeka mu bibinja […]
Okulwana e South Sudan- amasasi gavuga mu nkambi y’amaggye
Amasasi ganyoose ku kitebe ky’amaggte e South Sudan mu kibuga ekikulu Juba Amasasi ganmo gatandise ku makya okulirana yunivasite y’eggwanga Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti abantu batandise okusibamu ebyanguwa nga badduka ekibambulira Gavumenti tannaba kuvaamu mwasi yokka nga tekinnategerekeka oba okulwanagana kuvudde ku ki. Abayeekera abakulira […]
Emisinde gy’amazaalibwa g’omutanda
Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga atongozezza emisinde gy’amazaalibwa g’omutanda. Emisinde gino gigenda kubeerawo nga 4th omwezi ogujja ng’abaddusi bakusimbula Mengo Ku Lubiri basale okuyita ku Kayanja ka kabaka okutuuka e Kasubi. Kamalabyonna agambye nti ekigendererwa kya luno kwolesa byabuwangwa bya bwakabaka. Emikolo gino […]
Okusiiga evvu- ekisiibo kitandise
Olunaku olwaleero abagoberezi ba Kristu lwebasiigibwa evvu nga akabonero akalaga okutandika ekisiibo. Ekisiibo kino kikulungula ennaku 40 era nga kifundikirwa na bikujjuko bwa mazuukira Ebikumi n’ebikumi by’abagoberezi bano bakweyiwa mu makereziya basiigibwe evvu lino mu byenyi byaabwe. Evvu lino lijjibwa mu bisansa, akabonero ka mataba […]
Mbabazi agyiddwaako obwa ssabawandiisi- Wakubonerezebwa
Amama Mbabazi ajjiddwaako emirimu gy’obwa ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM. Kati minisita Richard Tadwong y’agenda okukola emirimu gino. Ababaka ba NRM ababadde mu kafubo beebasazeewo bino era nga bagaala na kuleeta kiteeso nti ssabawandiisi alondebwe ssntebe w’ekibiina. Omu ku babaka ababadde mu kafubo kano, Sam Ssimbwa […]
Singapore y’esingamu ebibuga by’ebbeeyi
Kikakasiddwa nti eggwanga lya Singapore lyerisingamu ebibuga eby’ebbeeyi mu nsi yonna Abazudde kino besigamye ku nsimbi z’eggwanga lino enzito kw’ossa n’ensimbi empitirivu omuntu zeyetaaga okubeera n’emmotoka kko n’okukola ku bintu ebirala ng’amasanyalaze n’amazzi Eggwanga lino era lyelisingamu engoye ez’ebbeeyi Singapore ezze mu kifo kya Japan […]
Ba kansala beyawudde- Bivudde ku bukiiko
Bakansala b’oludda oluvuganya gavumenti beekandazze nebafuluma olukungaana olubadde luyitiddwa minista wa Kampala Frank Tumwebaze okukubaganya ku biseera bya kampala eby’omu maaso. Minisita abadde yayise ba kansala bano berondemu obukiiko obunatambuza emirimu awatali loodi meeya mu KCCA. Bano nga bakulembeddwamu kansala wa Makindye ey’obugwanjuba Zahara Luyirika […]
Kanyeihamba agobeddwa mu musango gw’ababaka
Ababaka abana abagobwa mu palamenti ne mu kibiina kya NRM basazeewo okusuula ebbali abadde munamateeka wabwe George Kanyeihamba nebamusikiza Caleb Alaka ne Peter Walubiri. . Ono akitegedde ku makya galeero bw’abadde azze mu kooti okuwolereza abana bano mu kooti ensukulumu era alagiddwa okwamuka awatuula abawolereza […]
Poliisi yeyakasinga okutulugunya bannamawulire- Alipoota
Alipoota efulumiziddwa ab’ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ekya Human Rights Network for Journalists eraga nti poliisi yeeyakasinga okulinnyirira eddembe lya bannamawulire. Alipoota eraga nga bano bwebeyongera okusambirira eddembe ly’abannamawulire ebitundu 81% bwogeregeranya n’ebitundu 61% mu mwaka gwa 2012. Bbo abantu ssekinoomu batereddwa ku bitundu 10%, […]
Ababaka ba NRM besozze akafubo
Ababaka mu kibiina kya NRM basisinkanye mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Entebbe kwetegereza ebiteeso ebyakolebwa e Kyankwanzi Kino kikakasiddwa amyuka akulira akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti David Bahati Bahati agamba nti bagenda kuteesa ku ngeri y’okussa mu nkola byebasalawo e Kyankwanzi Ebimu ku biteeso kyekya […]