Amawulire
E Misiri, abajaasi 6 battiddwa
Abajaasi ba Misiri mukaaga battiddwa abakwata mmundu ku kifo awakeberebwa abantu mu bukiikakkono bw’ekibuga ekikulu Cairo. Ab’ebyokwerinda bagamba nti bbomu bbiri nazo zibadde zitegeddwa mu kitundu kino kyokka nga baziteguludde Bino bizze ng’era waliwo omujaasi omulala attiddwa mu baasi Obulumbaganyi mu ggwanga lino bweyongedde okuva […]
Okwongezaayo okulonda kakodyo- Besigye
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye avuddemu omwaasi ku by’okwongezaayo okulonda Ababaka ba palamenti nga bakulemberwa owe Nakifuma Kafeero Ssekitoleko bagaala ekisanja kya bannabyabufuzi kyongezebweeyo okutuuka ku myezi musanvu nga n’akakiiko akalondesa bweketeekateeka. Ono agamba nti akakiiko kakyakola ku by’okubala abantu n’okubakolera endaga […]
abe Kireka bakaaba
Abasuubuzi mu katale ke Kireka basabye ssenkaggale wa poliisi gen Kale Kaihura okuyingira mu lutalo oluli mu katale kaabwe Abasuubuzi bano beekalakaasizza ng’olutalo luva ku tenda ekayaanirwa aba Alex Wasswa ne Dan Mubiru. Abasuubuzi beetowgeddeko nabo bagamba nti tebakkiririza mu bukulembeze bwa Wasswa era nga […]
Drake Lubega yeddiza awasimba baasi za baganda
Abasuubuzi abaddukanyiza egyaabwe mu paaka ya baasi eya Qualicel bus terminal basabiddwa okusigala nga bakkakkamu nga byonna bwebiterezebwa Kiddiridde omugagga Drake Lubega okuddamu okuddukanya paaka eno okuva ku Charles Muhangi Ssabawolereza wa gavumenti yeeyawandiikidde poliisi ng’agisaba ewe Lubega obukuumi okuddukanya paaka eno era nayo teyebase […]
Musisi ayongeddwa emyaka esatu
Okwongezaayo kontulakita y’akulira abakozi mu kampala Jennifer Musisi buli omu akulinako ndowooza yiye Musisi wakusigala mu kifo kye okutuuka mu mwaka gwa 2017 . Ono bukyanga ajja mu kibuga wabaddewo okulwanagana ne bannabyabufuzi abagamba nti ayagala kutwaala mirimu gyaabwe era nti by’akola bikosa omuntu wa […]
Ensimbi zaawudde mu babaka
Ensimbi zawudde mu babaka ba palamenti abakyala. Abava ku ludda oluvuganya gavumenti bagamba nti balina obukakafu nti bannaabwe okuva mu NRM baweereddwa emitwaalo ataano okwetaba ku mikolo gy’abakyala egyakaggwa e Kumi. Ababaka bano era kigambibwa okuba nti bagenda kufuna obukadde obulala butaano okuyisaamu okukuuta akadingidi […]
Abasomesa tebannasasulwa
N’okutuusa kati abasomesa abamu tebanafuna musaala gwaabwe. Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomea bano mu ggwanga James Tweheyo agamba nti abasomesa abasoba mu mitwalo 25,000 tebanasasulwa emisaala gya December January ne February. Tweheyo agamba nti embeera eno eremeseza abasomesa okukola emirimu gyabwe era bakuyita olukiiko lw’abasomesa olw’okuntikko […]
Bigwabitalaze e Kyankwanzi
Abakulembeze mu disitulikiti ye Kyankwanzi batandise okukungaanya amannya g’abantu abakoseddwa enkuba mu kitundu kino Olukakaka luno lugenda kusindikibwa eri minisitule y’ebigw abitalaze Kiddiridde enkuba eyamaanyi okuleka amayumba mangi nga gali ku ttaka, ennimiro nga zisanyeewo n’ebisolo okufa era nga bangi tebalina webegeka luba Omubaka omukyala […]
Akamyufu ka NRM- Sematimba yeewandiisizza
Webuwungeredde ng’abantu babiri beebawandikiddwa okwesogga akamyuufu ka NRM ku bwa loodimeeya. Peter Ssematimba yeeyasoose okuwandiisibwa mu nteekateeka efundikirwa olunaku lw’enkya. SSematimba agambye nti mwetegefu okuwereeza bannakampala awatali kubaboola Ono addiddwaako Meddie Kasule agambye nti ekimuleese kulongoosa byabufuzi mu kampala. Omulala ategerekese nga Pradeep Karia talabiseeko […]
Emotoka esse omwana
Omwana w’essomero abadde asala ekkubo ku luguudo oluva e Mityana okudda e Kampala atomeddwa motoka n’afiirawo. Akabenje kagudde mu kabuga ke Naama mu gombolola ye Busimbi mu district ye Mityana. Omwana ye Annet Bisirikirwa ng’abadde asomera mu Naama church of Uganda primary school. Emotoka ebadde […]