Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Omuliro ku masomero

Amasomero agawerera dala  26 e  Masaka gegakumiddwako omuliro abantu abatanategeerekeka  mu myeezi 5 egiyise. Okusinziira ku alipoota ya police aasomero agasinze okukosebwa mulimu  St Gonzaga Senior Secondary School Kasambya nga lino lyaayokyebwa  emirundi 2 mu wiiki 2 mu mwezi gwokuna  , erya, African Child Primary School in Nyendo and St Mary Senior Secondary School Sanje in…

Read More

Ogwa babaka gwongezeddwaayo

Okuwulira okusaba kwekibiina kya NRM ababaka abana bebagoba mu palamenti baddeko ebbali nga kooti bweyetegereza ekyokubagoba mu palameti kwongezeddwayo paka nga 12 june. Ab'ekibiina kya NRM, bataddeyo okusaba mu kkooti etaputa ssemateeka nga baagala ekole ekiragiro ekigoba mu palamenti ababaka abaagobwa mu kibiina, okutuusa ng'omusango gwe baawaaba mu kkooti gumaze okuwulirwa. Omubaka w'e Kibuku mu palamenti ,…

Read More

Ttiya gaasi ku Arua Park

Police ekubye omukka ogubalagala mu bavuzi babiloole ababade batanudde okwekalakaasa ku Arua Park.   Kino kidiridde abagoba bano okulagirwa okwamuka park eno bagende bakolere mu park ya namayiba bus terinla bbo kyebawakanya. Police ekyarwanagana nabo nga beegatiddwako abasuubuzi abakolera okumpi wekifo kino olwo nerukoya.

Read More

Abalongo Bafudde

  Abalongo banamansasana abaaletebwa mu dwaliro e Mulago bonna bafudde. Omu yeyasoose okufa olunaku lwegulo mu biseera byolwegulo omulala nafa ekiro ku saawa nga biri. Apio and Adong baazalibwa nga  4th of May this year at Ngora hospital oluvanyuma nebaleetebwa mu dwaliro e Mulago okusobola okulongoosebwa baawulwe. Babadde tebasobola kulongosebwa nga tebanaweza kilo kumi nga webafiiridde babadde balina kilo…

Read More

Bannamawulire bibaweddeko

Bannamawulire abasatu abayitiddwa olw’okuwandiika ku bbaluw aeno olwaleero ate bafunye akapya.   Bakitegeddeko nti poliisi emaze okufuna ekiragiro kya kooti ekibalagira okuwaayo ebbaluwa ya Tinyefuza gyeyawandiika ku mpaka   Ebbaluwa eyogerwaako gen Sejus amweyassa ebigambo ebilinga omususa ku kawefube w’okuzza Muhoozi kainerugaba mu bigere bya kitaawe era ng’abakiwakanya baliira ku nsiko   Bannamawulire Don Wanyama, Richard Wanambwa ne Risdel kasaasira bwebazze…

Read More

Okusonda eza mukenenya

Gavumenti yakutandika okusala ensimbi ku masimu agakubwa, omwenge ogugulwa ne sigala .   Ensimbi zino ezinasaslibw azakuddizibwa mu nsawo y’okulwanyisa obulwadde bw amukenenya   Ssentebe w’akakiiko akalwnayis aobulwadde bw amukenenya, Kiwummulo apuuli agamba nti kino kigendereddwaamu kulaba nti ensimbi ezikozesebwa mu kulwnayis amukenenya zeeyongera   Bino byonna bikolebw ang’eggwanga lyetegekera olunaku lw’okujjukirirako abantu abazze bafa obulwadde bw amukenenya olugenda okbaaow olunaku…

Read More

Amazzi makyaafu

Ebbula ly’amazzi lyongedde okutabuka mu district ye Kasese Omubaka omukyala ow’ekitundu kino agamba nti emidumu gyonna gyagenda n’amazzi ate ng’emipya egissiddwaawo nagyo gyabbiddwa bakyala kimpadde. Mu kadde kano abantu banywa mazzi ga mugga amajama era ng’okutya kuli nti abantu bandifuna endwadde eziva ku bujama nga Cholera. Kiiza Bino abyogedde bw’abadde akwasibwa obuyambi okuva eri abawagizi b’ekibiina kya FDC…

Read More

Omusumba Sempa ali mu Kattu

Omusumba Matrin Ssempa ali mu katttu Waliwo amuwalabanyizza okutuuka mu mbuga z’amateeka ng’amulanga butasasula za bupangisa Mukyala Tobeous Kabuye agamba nti Ssempa ono yamupangisa enju ye mu mwak agwa 2010 nga yali alina okusasula emitwaalo 50 nay enga yakoma ku myezi egyasooka n’abivaako okutuuka kati.   Enju eyogerwaako esangibwa Nakawuka mu district ye Wakiso.   Omukyala ono agamba nti era kyamujja…

Read More

Abalongo Balwadde

Abalongo ba nabansasana abatwalibwa e Mulago balina obulwadde bwa Pneumonia. Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago,Enock Kusaasira agamba nti abalongo bano balina obuzibu mu kussa kyokka nga babakolako okulaba ga batereera. Abaana bano baazalibwa nga beegattira ku lubuto kyokka nga baawula emitima, enkizi, n’amawuggwe Abaana bano maama waabwe yafa abazaala era nga kitaabwe kati y’abalabirira. Abalongo bano bagyibwa mu district ye…

Read More