Amawulire
Abantu 7 bafiridde mu kabenje e Bukomansimbi
Bya Gertrude Mutyaba, Abantu 7 bebakakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje ke mmotoka, ekika kya FUSO nnamba UAX 226U bweganye okusiba negwa mu kiwonko ku luguudo oluva e Masaka okudda e Ssembabule. Akabenje kano kaguddewo nga zolekera okuwera esaawa munaana, nga kagudde ku kyalo Kanoni mu […]
Poliisi e ekutte basatu ku byókukabasanya omwana
Bya Abubaker Kirunda, Poliisi mu disitulikiti yé Luuka eriko abantu basatu bekutte ku bigambibwa nti bakakanye ku mwana owe’myaka 3 ne bamugajambula obumuli. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Busoga north Michael Kasadha, atubuulidde nti abakwate omwana bamusangiriza ku kkubo ne bamusobyako. Ono agamba nti […]
Gavt esabiddwa okuteekawo enkola ezinayamba mu kulwanyisa mukenenya
Bya Ndaye Moses, Nga Uganda yetegeka okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lw’okujukira abantu abaafa akawuka ka mukenenya, olumanyiddwa nga international Aids candlelight day, abali mu mulimu ogwokulwanyisa obulwadde bwa mukenenya basabye gavumenti okuteekawo eneyambako okulamawo akawuka kano wetunatukira 2030. Shakirah Namwanje,okuva mu kitongole kya Uganda […]
Bannakyewa basabye abatyoboola eddembe lya baana bagibweko layisinsi
Bya Prossy Kisakye, Bannakyewa bagala gavumenti esazeewo layisinsi ezabantu abenyigira mu bikolwa ebyokulinyirira eddembe ly’abaana mu ggwanga. Okusinzira kwakulira ekibiina kya Compassion International mu Uganda, Lenny Mugisha, ekiyambako mu kuyamba abaana abatalina mwasirizi, kizibi nyo abantu abalina obuvunanyizibwa obw’okukuuma abaana bano ate okubalumya. Ono agamba […]
Abantu ba Kabaka bangodde Ssabaminisita Nabbanja
Bya Prossy Kisakye, Abantu abakunganidde mu lukungana lwabakyala ba Buganda bangoodde ssabaminisita Robinah Nabbanja bwabadde ayogera kundagaano yémmwanyi gavumenti ya Uganda gyeyakola ne ne kampuni ya Vinci Coffee Company. Endagaano eyateekebwako omukono nga 10Th February wakati wa minisita owe byensimbi, Matia Kasaija ne musiga nsimbi […]
Nnabagereka akubiriza abakyala okwekuuma nga balamu bulungi
Bya Prossy Kisakye, Maama wa Buganda Nnabagereka Sylvia Nnaginda akubiriza abakyala okwekuuma nga balamu bungi eggwanga lisobole okutuuka kunkulakulana. Bino abyogedde aggulawo tabamiruka wa bakyala mu lubiri lwa ssabasajja e Mengo. Olukungana lutambulidde wansi wómulamwa ogugamba nti omukyala omulamu gwemusingi gwe byenkulakulana. Nnabagereka asabye abakyala […]
Baasi za kampuni ya Link zikkiriziddwa okudda ku Kkubo
Bya Benjamin Jumbe, Minisitule yenguudo, emirimu n’ebyentambula ekkiriza baasi za kampuni ya Link okuddamu okukola. Minisitule yali yayimiriza kampuni eno nga 4 May 2022 oluvanyuma lwakabenje akagwa e Sebotilo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Fort-Portal, nga kaafirmu abantu abali mu 20. Bwabadde ayogera […]
Mwettanire Mobile Money Muby’ensimbi
Mwettanire Mobile Money Muby’ensimbi Bya Moses Ndhaye Emikutu gyeby’empuliziganya gigamba nti waliwo obwetaavu abantu okwongera okumanya obukulu bw’okutabuza ssente mu nkola eza Mobile Money, era bazettanire. Kino bagamba nti kigenda kwongera obuwereza bwa ssente okubuna mu bantu ate kiyitimuse n’ebyenfuna. Okusinziira ku Territory Manager ku […]
Museveni akunze bamusiga nsimbi okuva e Butuluki okwetanira Uganda
Bya Benjamin Jumbe, Omuk weggwanga akubiriza bamusiga nsimbi okuva mu ggwanga lya Butuluki okweyambisa emiwatwa egiriwo bongere okusiga ensimbi mu Uganda ne mu East Africa. Bwabadde agulawo olukungana olwebyobusuubuzi wakati wa Uganda ne ggwanga lya butuluki e Munyonyo, Museveni agambye nti waliwo ebintu bingi ebyetaaga […]
Gavt mugiweeyo akaseera ku bye Bbeeyi yébintu
Bya Rita Kemigisa, Minisita wé byensimbi Matia Kasaija asabye bannauganda okuwa gavumenti akaseera okukola okunonyereza erabe kyeyinza okukolera ebbeeyi ye bintu eyekannamye Bino abyogedde ayogerako eri ababaka ba palamenti mu lutuula lwa leero oluvanyuma lwomubaka wa Buzaaya county Martin Muzaale okwemulugunya ku miwendo gye bintu. […]