Amawulire
Gavt erabudde akabwata obutambi bwa vidiyo ku bantu abatulugunya abaana abato
Bya Prossy Kisakye, Gavumenti erabudde bannauganda akabwata obutambi bwa vidiyo ku bantu abatulugunya abaana abato ne babuteeka ku mikutu egyomutimbagano mu kifo kyokuvaayo okutaasa. Kino kidiridde omuze ogwabantu okukwata obutambi ku baana abatulugunyizibwa oluusi bazadde babwe benyini okweyongera nga ne kikyasembyeyo ne mukyala owe Kisaasi, […]
Ababaka bagala etteeka ku byóbusika liteekebwe munnimi ennansi
Bya Prossy Kisakye, Abamu ku babaka ba palamenti bagala etteeka erikwata ku byóbusika likyusibwe mu nnimi ennansi bannauganda basobole okulitegeera obulungi. Olunaku lweggulo omukulembeze weggwanga Museveni yatadde omukono ku tteeka erikwata ku byobusika erya Succession Amendment Act eryayisibwa mu palamenti eye 11. Obukulu bwe tteeka […]
Poliisi yézoobye ne Besigye ngémulemesa okutambuza ebigere
Bya Ndaye Moses ne Rita Kemigisa, Poliisi yezoobye neyali akaulembera ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye, nemulemesa okutambula okuyingira mu kibuga. Dr Besigye nga mu kiseera kino yakulembera ekisinde kya People’s Front for Transition, asoose kutuuza bannamwulire mu maka g’eKasangati nanyonyola ebisaanye okukolebwa okumalawo akatubagairo […]
Omusajja yekumyeko omuliro lwa mukazi
Bya Ivan Ssenabulya, Omusajja mu municipaali yé Nansana anyiga biwundu oluvanyuma lwokwekumako omuliro oluvanyuma lwokufuna obutakanya ne yali mukyalawe. bino byabadewo ku poliisi ye Kabulengwa , gyeyabadde ayitibwa ku misango gyókutyoboola eyali mukyalawe. Ali Kakande ow’emyaka 45 yayawukana ne Florence Kidaida, nga berinamu abaana 2 […]
Ssabasajja asiimye okuggalawo olukungana lwa bakyala
Bya Prossy Kisakye, Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II wakuggalawo olukungana lwa bakyala oluvanyuma lwebbanga eddene nga talabikako eri obuganda. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire e Bulange Mengo, katikkiro wóbwakakaba buno Charles Pater Mayiga, agambye nti tabamiruka ono owolunaku olumu wakubeerawo ku lwokutaano lwa […]
Abantu 2 balumiddwa emisota ne bafa
Bya Abubaker Kirunda, Abantu babiri bafudde oluvanyuma lw’emisota okubaluma, mu disitulikiti ye Buyende. Abagenzi bombi babadde batuuze mu tawuni kanso ye Irundu e Buyende nga kuliko Fred Talyaka owemyaka 16 abade ku kyalo Kibugo ne Richard Mugadya owemyaka 25 abadde we Dongi. Kino kikakaisddwa kansala, […]
Omulamuzi Baguma yagenda okuwulira omusango kundagaano yémmwanyi
Bya Ruth Andearah, Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Emmanuel Baguma yawereddwa eddimu okuwuliriza omusango oguwakanya endagaano yemwanyi, eyakolebwa wakati wakati wa gavumenti ne kampuni ya Uganda Vinci Coffee Company Limited. Omulamuzi Baguma ataddewo olunnaku lwanga 24 June 2022 okutandika okuwuliriza omusango guno. Bannamateeka babiri […]
Omusuubuzi afiiridde mu Loogi
Bya Abubaker Kirunda, Omusubuzi mu tawuni kanso ye Buwenge e Jinja asangiddwa nga yafiridde mu loogi. Omugenzi ye Ali Mugaya abadde wamyaka 60, ngabadde mutuuze mu Kadiba Zone w Buwenge. Ssentebbe wekyalo kino Moses Mukisa agambye nti omusajja ono yavudde mu nnyumba ye, nasalawo okutandika okusula […]
Ababaka battiddemu kungeri abantu gyebongedde okutabuka emitwe
Bya Benjamin Jumbe, Ababaka ba palamenti balaze okutya kungeri abantu gyebongedde okulwala ebirwadde byobwongo. Alipoota okuva mu minisitule yebyobulamu yalaze nti banna-Uganda obukadde 14 bebalwadde bemitwe ku mitendera egyenjawulo. Tororo omubaka omukyala owa disitulikiti ye nga ye ssentebbe wekibiina ekigatta ababaka abkyala ekya UWOPA Sarah […]
Bannasayansi bakwongezebwa Omusaala okutandika nomwezi ogwo 7
Bya Benjamin Jumbe, Gavumenti evudeyo netegeeza nga bwegenda okwongeza omusaala gwa bannasayansi okutandika nga 1st July 2022. Bino byogeddwa minisita we byamawulire nokulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala. Ono okuvaayo bwati nga na basomesa basayansi olunaku lweggulo balangiridde akediimo okwetoloola […]