Amawulire
KCCA esuubiziza okulongoosa omutindo gwémpewo
Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole ekitwala ekibuga, Kampala Capital City Authority bategezezza nga bwebagenda okwongera amaanyi mu kulongoosa omutnindo gw’empewo. Amaanyi gagenda kutekebwa mu bwagagavu bwekibuga Kampala, oluvanyuma lwokulaga nti kyekimu ku bibuga ebirimu omukka omubi. Akulira polojekiti Air Quality Management mu KCCA Dr Alex Ndyabakira […]
abantu 103 bebafiiridde mu bubenje bwókunguudo
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi etegezezza ngabantu 103 bwebafiridde mu bubenje bwoku nguudo, mu wiiki eyanga 1 okutukira ddala nga 7 May. Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi yebidduka e Faridah NampiIma agambye nti obubenje 398 bwebwaguddewo ngabantu 295 […]
Buganda esabye Gavt yeetegereze endagaano yémmwanyi
Bya Prossy Kisakye, Obwakabaka bwa Buganda busabye gavumenti okwetegereza endagaano yé mmwanyi gyeyakola nemusiga nsimbi kuba terina weyambira mulimi owawansi. Bwabadde ayogerera mu Lukiiko lwa Buganda olwa 29th olutuula olwokusatu e Bulange Mengo, katikkiro Charles Peter Mayiga, yewunya okulaba nti abantu abali mu byemmwanyi bonna […]
FDC esabye abakulu bamasomero obutagoba bayizi abatalina Fiizi
Bya Prossy Kisakye, Ngámasomero gagudewo olusoma olwa taamu eyókubiri, ekibiina kye byobufuzi Forum for Democratic Change (FDC) asabye abakulu bamasomero obutagoba bayizi abakomyewo nga tebalina bisale byamasomero ne byetaago ebirala wabula babaguminkirize. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe e Najjanankumbi, omwogezi wa FDC, Ibrahim Ssemujju […]
Ebikwekweto kubatunda ebikozesebwa mu byóbulimi ebitali ku mutindo bigenda mu maaso
Bya Prossy Kisakye, Minisitule evunanyizibwa ku byóbulimi nóbulunzi enyikiza ebikwekweto ku batunda ebikozesebwa mu kulima nóbulunzi ebitali ku mutindo. Ebikwekweto bitunulidde nyo essigo, ebigimusa néddagala nga kino kigenderedwamu okulaba nti abalimi bataasibwa okuva eri abafere abeefubiridde okutunda ebintu ebitali ku mutindo. Okusinzira ku Fred Muzira, eyetegereza […]
Ababbi balumbye esundiro lya mafuta ne batematema bebasanzewo ne babba nénsimbi
Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi e Mukono eri ku muyigo gwa bantu abatanategereekeka nga balina ebinjambiya balumbye essundiro lya mafuta erimanyidwa nga stabex erisangibwa ku kyalo Namayuba ku luguudo lwe Katosi mu ggombolola ye Nakisunga ne batematema ba asikaali babbiri saako n’abakozi ababadde batunda amafuta mu kiro babbiri […]
Tiimu 8 zikakasiddwa okwetaba mu mpaka za CECAFA Women’s Championship
Bya Prossy Kisakye, Tiimu 8 zikakasiddwa okuba nti zezigenda okwetaba mu mapaka za CECAFA Women’s Championship ezomwaka guno. Uganda yegenda okukyaza empaka zino ku kisaawe kya FUFA Technical Centre, e Njeru. Empaka za kugibwako akawuuwo wakati wa May 22nd ne June 5th 2022. Bino bikakasiddwa […]
Sirina buzibu kukya Muhoozi kwesimbawo-Besigye
Bya Prossy Kisakye, Ssentebe wékisinde kya people’s Front for Transition Rtd col Kizza Besigye agamba talina buzibu kukya mutabani wa Museveni, Lt Gen Muhoozi Kainerugaba, okwesimbawo kuntebbe eyómuk weggwanga singa bannauganda banamwaniriza. Kino kidiridde engambo eziyitingana nti pulezidenti alina etegeka eyókulekera Muhoozi akulemberere eggwanga mu […]
Mayiga atendereza eyaliko Katikiro Martin Luther Nsimbirwa
Bya Ivan Ssenabulya, Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, atangaziza obukulu bwe byenjigiriza mu kukyusa embeera za bantu ne byenkulakulana. Bino abyogeredde mu musomo ogutegekeddwa okujjukira eyaliko katikiro wa Buganda Martin Luther Nsibirwa e Makerere. Mayiga agambye nti omugenzi wakujjuirwa nyo olwomukululo gweyaleka mu […]
Kkooti eragidde Omusango gwa Meeya wé Ntebbe okudamu okuwulirwa
Bya Ruth Anderah, Kkooti ejjulirwamu eragidde omusango gwe byokulonda ku kifo kya meeya we Entebbe guddemu okuwulirwa. Kkooti enkulu yali yakakasa Rulinda Fabric Brad nga meeya omulonde owekibuga kye Entebbe. Abalamuzi 3 abakkooti ejjulirwamu okuli Frederick Egonda Ntende, Christopher Madrama ne Eva Luswata bakizudde nti […]