Amawulire
Obumenyi bwa mateeka buva ku mateeka amanafu
Bya Gertrude Mutyaba Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti ye Lyantonde Scovia Birungi yennyamidde ku mateeka amanafu mu gwanga, nga kino kyekisinze okuvirako obumenyi bw’amateeka okweyongera. Birungi agambye nti abantu bakola ebikolobero naye olwamateeka amanafu, kooti emaliriza ebawadde ebibonerezo ebinafu nabamu nebayimulwa. Asabye palamenti ebayambako okukyusa […]
Akakiiko kébyéttaka mu ggwanga kakunyiziddwa ku mivuyo ku ttaka lya Nakawa-Naguru
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko akenjawulo akatekebwawo, okunonyereza ku ttaka lye Naguru –Nakawa kaazudde ngakakiiko kettaka mu gwanga aka Uganda Land commission kaliko polojekiti yebyobulamu gyebagotaanya eyokuzimba eddwaliro erirongooa nokukyusa ensigo nekibumba. Bweyabade yeyanjudde eri akakiiko kano, akakubirizibwaomubakawe Kazo, Dan Atwijukire Kimoso, abaddukananya eddwaliro lya MED […]
Poliisi ekyali ku ntiko mukutulugunya bannamawulire
Bya Rita Kemigisa, Alipoota efulumiziddwa ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire mu ggwanga ki Human Rights Network for Journalists, eyomwaka guno eraze nti poliisi ekyali kuntiko mu kutulugunya bannamawulire. Alipoota ennokodeyo okusomooza bannamawulire kwebaayitamu nga bakola egyabwe mu biseera ebyómuggalo ne mukulonda kwa 2021 Nga bannamawulire […]
Omusango gwa Ssegirinya teguwuliddwa
Bya Ruth Anderah, Okuwuliriza omusango gwomubaka wa Kawempe North mu palamenti Muhammad Ssegirinya, ogwokukuma omuliro mu bantu, tekugenze mu maaso nga bwekubadde kusubirwa okuddamu olwaleero. Ssegirinya ali ku alimanda mu komera lye Kigo, wabula okugowngezaayo kivudde ku kuba nti abawaabi ba gavumenti tebabadeewo. Wano omulamuzi […]
Omuwala yetuze naleka ebujje lya wiiki emu
Bya Abubaker Kirunda, Entiisa ebutikidde abatuuze mu disitulikiti ye Kaliro, omukazi bwasuddewo omwana we omuwere owa wiiki 1 nagenda neyetuga. Omugenzi ye Rehema Nangobi ngabadde mutuuze ku kyalo Muuli ekisangibwa mu gombolola ye Nansololo e Kaliro. Ssentebbe wekyalo kino Wilson Ngobi akakasizza okufa kwomutuuze we ono, […]
Gavt etandise okwetegereza ebisale ebisambibwa mu Masomero ga bonna basome
Bya Prossy Kisakye, Gavumenti okuyita mu minisitule yebyenjigiriza nemizannyo batandise okunonyereza ku bisale ebisabibwa mu masomero aga gavumenti agabonna basome ku mutendera gwa pulayimale ne sekendule. Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku Media Center mu Kampala, omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Dennis Mugimba, agambye nti […]
Yafeesi ya Kaliisoliiso enunudde obuwumbi bwensimbi 4 okuva mu nguzi
Bya Benjamin Jumbe, Kalisoliiso wa gavumenti, basobodde okununula ssente obuwumbi bwa silingi 4, ezibadde zibulankanira mu bikolwa byobulyake mu mirimu gya gavumenti egyenjawulo. Kino kibikuddwa amyuka kalisoliiso wa gavumenti Anne Muhairwe mu nsisinkano gyabaddemu neba ssentebbe bwazi disitulikiti mu Kampala, ngagambye nti ssente ezo basobodde […]
Minisita Kasaija nábabaka beeyogeredde ebisongovu ku lw’endagano yémmwanyi
Bya Prossy Kisakye ne Benjamin Jumbe, Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ak’eby’obusubuzi bewunyiza bwebakitegedde nti gavumenti yakola endagano ye mwanyi nemusiga nsimbi nga tesoose kwetegereza oba yali akozeeko ekatala eryamuweebwa. Kino kidiridde Charles Byarugaba,omukungu okuva mu minisitule ye byensimbi okutegeeza ababaka nti teyasooka kugezesa […]
Munnamateeka awawabidde Gavt ku mbeera zábasirikale ba poliisi
Bya Ruth Anderah, Omulwanirizi weddembe munnamateeka Steven Kalali awabidde ssabawolereza wa gavumenti kumbeera embi abasirikale ba polisi mwebawangalira. Mu kiwandiiko kye, Kalali agambye nti ekyokugatta famile bbiri okusula munju emu kimalako abantu eddembe lyabwe okukola bye bagala. Ono era agamba nti bweyakyalirako Police Barracks eyé […]
Ekelezia yetaaga obukadde 300 mu kutegeka okulamaga
Bya Rita Kemigisa, Enteekateeka kezokujaguza nókujukira abajjulizi ba Uganda emikolo egiberawo buli nga 3rd June e Namugongo ku ludda lwa bakatoliki zongedwamu amaanyi. Ebikujuko byómulundi guno byakutegekebwa essaza lye Fortiportal nga bakoma okutegeka emikolo gino emyaka 25 egiyise. Okusinzira ku bategesi beetaaga ensimbi endala 300M […]