Amawulire

Palamenti esiimye tiimu ya Rugby ku buwanguzi bwebatuuseeko

Palamenti esiimye tiimu ya Rugby ku buwanguzi bwebatuuseeko

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya, Palamenti esimye tiimu ye ggwanga eya Rugby okuwangula empaka za Africa eza Rugby. Ku wiikeendi tiimu ya Uganda yakuba ey’eggwanga lya Mozambique ku bugoba 28-00 ku kisaawe e kyadondo Bwetyo neyesoga empaka ezidako ezensi yonna eza World Cup Rugby […]

Abakozi basabiddwa okuvaayo ku bukuumi bwabwe

Abakozi basabiddwa okuvaayo ku bukuumi bwabwe

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga, Abakozi basabiddwa okufaayo ku butebenkevu bwabwe, nga bali ku mirimu. Okusaba kuno kukoleddwa Aggrey Kibenge, omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yabakozi nekikula kyabantu bwabadde ayogera ne bannamawulire ku lunnaku lwobutebenkevu eri abakozi ku mirimu oba World Day for Safety and Health at work. […]

Laddu esse abantu 2 e Luuka

Laddu esse abantu 2 e Luuka

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda, Abantu babiri bakubiddwa laddu ne bakalirawo mu disitulikiti ye Luuka district. Abagenzi bonna batuuze bé Itakaiboru mugombolola yé Waibuga. Okusinzira ku ssentebe wekyalo kino Charles Baino, bano laddu yabasanze bebase mu kiro ne kuba kunju yabwe. Abagenzi kuliko omukyala owe myaka 80 […]

Katemba mu Kkooti e Makindye

Katemba mu Kkooti e Makindye

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah, Katemba alabiddwako mu kkooti ya maggye e Makindye omu ku basibe bwavudde mu kaguli nayagala okwambalira omu ku basirikale. Muhydin Kakooza yoomu ku bannakibiina kya NUP 32 abalabiseeko mu kkooti eno enkya ya leero okuwulira emisango gyabwe. Wabula oluvanyuma lw’omusango gwabwe okwongezebwayo […]

Embalirira ya Buganda eyómwaka ogujja ya buwumbi 150

Embalirira ya Buganda eyómwaka ogujja ya buwumbi 150

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2022

No comments

Bya Samuel Ssebuliba, Obwakabaka bwa Buganda butegeezeza nga bwe busuubira okuyisa embalirira ya buwumbi 150 mu mwaka gwe by’ensimbi 2022-2023 okuva ku buwumbi 121 obwaysibwa mu mwaka guno 2021-2022 oguggwako Bino byogeddwa Omuwanika wa Buganda Owek Waggwa Nsibirwa bwabadde asisinkanye akakiiko ka Buganda ak’ebyensimbi, nga […]

Omusirikale wa poliisi afiiridde munjuye

Omusirikale wa poliisi afiiridde munjuye

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi mu disitulikiti yé Manafwa etandise okunonyereza kunfa yómusirikale wabwe abadde akulira Kaato Police Station. Omulambo gwa peter Walicho gwasangibwa nkya ya leero nga gugangalamye mu makage oluvanyuma lwa balirwanabe okumenya olugi Omwogezi wa poliisi mu bitundu ebyólusozi Elgon Rogers Taitika, agambye […]

Okubala abantu kudamu omwaka ogujja

Okubala abantu kudamu omwaka ogujja

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ekivunanyizibwa kukubala mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kitandise kuntekateeka ezokudamu okubala bannauganda. Okubala abantu wano mu ggwanga kubaawo buli luvanyuma lwa myaka 10. Okusinzira kusenkulu wekitongole kino, Chris Mukiza,okubala abantu kwakubeerawo mu ssabiiti esemba mu mwezi ogwomunana omwaka […]

Omulamuzi Zeija emotokaze tezakubiddwa Masasi

Omulamuzi Zeija emotokaze tezakubiddwa Masasi

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga, Okunonyereza okwakafuluma ku bulumbaganyi obwatuuse ku motoka zákulira abalamuzi mu kkooti enkulu, Dr. Flavian Zeija ku lunaku olwomukaaga kulaze nti yabadde boomu enkolerere eyabwatuuse. Okubwatuka kuno kwali kukyalo Kalendezi e Buwama mu disitulikiti yé Mpigi omulamuzi bweyali ajja e Kampala Olunaku lweggulo […]

Gavt eyongedde amaanyi mu kulwanyisa omusujja gwénsiri

Gavt eyongedde amaanyi mu kulwanyisa omusujja gwénsiri

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye, Gavt ezzemu neyeyama nga bweri emmalirivu okwongera amaanyi mu kawefube owokulwanyisa omusujja gwensiri. Okusinzira ku minisita owe Dr. Jane Aceng, bagenda kutunulira nyo ekitundu West Nile, Lango, Karamoja, Busoga ne Acholi. Mu bubakabwe mu kukuza olunaku olwokulwanyisa omusujja gwensiri munsi yonna olwa […]

Ebyenfuna byéggwanga bya kwongera okukula ne bitundu 6%

Ebyenfuna byéggwanga bya kwongera okukula ne bitundu 6%

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2022

No comments

Bya Tom Angulin, Minisitule ye byensimbi egamba nti ebyenfuna byéggwanga byakwongera okukula mu mwaka gwensimbi ogujja  2022/23 okutuuka ku bitundu 6% okuva ku 3.8% mu mwaka gwebyensimbi 2021-22. Okusinzira ku Matia Kasaija, kino kri kityo oluvanyuma lwa gavt okwongera amaanyi mu bannekolera gyange nokweyongera kwobwetaavu […]