Amawulire
Lukwago asabye abasiramu okusabira abasibe abaggalirwa kunsonga zébyóbufuzi
Bya Prossy Kisakye, Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago asabye abayisiramu okwetoloola eggwanga okweyambisa ennaku zino ezisigadde ku mwezi omutukuvu ogwa Ramadan okusabira abasibe abali mu makomera kunsonga ze byobufuzi. Bino yabyogedde kawungezi akayise ku mukolo ogwokusibulula abasiramu ogwatekegeddwa ekitongole ekidukanya ekibuga kampala ki KCCA […]
Abakulembeze mu EAC bakkiriza okuyamba Congo ku bayekera
Bya Rita Kemigisa, Abamu ku bamemba mu mukago gwa East African Community bakkiriziganyiza okuteekawo eggye eryawamu okulwanagana nabayekera abali e DRCongo. Bino byatukidwako mu lukungana lwa bakulembeze bannamukago olwatudde mu kibuga Nairobi. Ensisinkano eno yetabiddwamu omuk weggwanga Museveni, owa DR Congo Felix Tshisekedi, owa Kenya […]
Enguzi eremedde mu ggwanga lwa bakulembeze-Beti Kamya
Bya Moses Ndaye, Kaliisoliiso wa Gavt Beti Kamya ategezeza nga bwekikyali ekizibu okulwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga kuba abalina okugilwanyisa ate bebasinga okugirya. Ono agamba nti yadde nga gavt etademu amaanyi okulwanyisa obulyake okuyita mu kutondawo ebitongole ebye njawulo okuli Poliisi, yafeesi ya kaliisoliiso wa […]
Sipiika agaanye ebyókukyusa ensimbi za bakyala
Bya Benjamin Jumbe, Sipiika wa palamenti Anita Among agaanye ekiteeso kya gavt okukyusa ensimbi ezibadde zirina okugenda mu nsawo ya bakyala okudda mu pulogulamu Parish development Model. Kino kidiridde minisita avunanyizibwa kunsonga zekikula kyabantu Betty Amongi okutegeeza ababaka nti olukiiko lwa baminisita lwalagidde obuwumbi bwensimbi […]
Enyonyi ya Rwanda eremereddwa okukka e Entebbe neegwa
Bya Rita Kemigisha, Ebyentambula ye nyoni ku kisaawe entebe bisanyaladdemu oluvanyuma lwennyonyi ya Rwand okulemererwa okukka obulungi ku kisaawe. Omwogezi we kitongole ekivunanyizibwa ku byenyonyi mu ggwanga ekya Uganda Civil Aviation Authority, Vianney Luggya atubuulidde nti enyonyi ya Rwanda CRJ9 esumbuyiddwa embeera yobudde mu kukka […]
KCCA eyodde abaana bókunguudo 180 mu kikwekweto
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ekidukanya ekibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) leero kikoze ekikwekweto mwebayooledde abaana bókunguudo abawera 180. Okusinzira ku Peter Mayanja lwanga avunanyizibwa ku baana mu KCCA, abaana abakwatibwa mu kikwekweto batwalibwa mu district ye Napak okufuna obulabirizi obulungi. Ono era […]
Abasawo balagiddwa okudda ku mirimu
Bya Moses Ndaye, Ekibiina omwegatira abasawo abazaalisa mu ggwanga ki Uganda Nurses and Midwives Union kiragidde abasawo abavunanyizibwa kukutereka ebiwandiiko bayite ba records officers, okudda ku mirimu bave mu kwekalakaasa. Abawandiisi bano okuyita mu kibiina ekibagatta ki Bonded Uganda Health Information Officers ne Medical Coders […]
Abasuubuzi bénnuni bemulugunyiza ku mbeera mwebakolera emirimu gyabwe
Bya Prossy Kisakye, Abasubuuzi b’enuuni abegatiira mu kibiina ekibagatta ekya Uganda Fish Maw Traders Association UFTA basabye gov’t obuvunanyizibwa bw’okubawa license okubujja mu minisitule y’obulimi,obulimi n’obuvubi budizibwe mu minisitule yebyobusubuuzi. Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, bano nga bakulembeddwamu Musisi Jackson, batotodde embeera embi gyebayitamu […]
Abébyóbulamu mu Amuru basatira lwa bigenge
Bya Marko Taibot ne Tobbias Owiny Abebyobulamu mu disitulikiti eye Amuru batandise okunonyereza ku bantu 8 abafunye endwadde ye bigenge. Akwasaganya endwadde ya kafuba ne bigenge mu disitulikiti eno, Louis Obalo, agambye nti bafunye sampo ku bantu 8 abateberezebwa okuba ne bigenge era ziri mu […]
Aba DP sibasanyufu kundagaano yémmwanyi Gavt gyeyakoze ne Musiga nsimbi
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party sikisanyufu kundagaano ye mmwanyi gavt gyeyakoze ne musiga nsimbi okuva mu ggwanga lya Italy. Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, nampala wa DPmu palamenti Richard Lumu, agambye nti endagaano eno teyakoledwa mu […]