Amawulire
Omusango gwéKanisa ya ST. Peters gwakudamu okuwulirwa
Bya Ruth Anderah, Akulira abalamuzi ba kkooti enkulu Dr. Flavian Zeija alagidde omusango gw’ekkanisa ya St.Peters mu Ndeeba okuddamu okuwulirwa. Kino kidiridde omulamuzi Zeija okukkiriza okusaba kw’abakulisitaayo n’abakulira ekkanisa ya St. Peters mu Ndeeba kwebatekayo nga basaba kkooti eddemu okuwulira buto omusango gw’obwananyini bw’ettaka ekkanisa […]
Ebikujuko byámazaalibwa ga Kabaka byongezedwayo
Bya Prossy Kisakye, Obwakabaka bwa Buganda bwongezaayo ebikujuko ebyokujaguza amazaalibwa gomutanda ogomwaka guno olwensonga ezitebereka. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yategezeza obuganda amawulire gano mu lukungana lwa banamawulire olutudde olwaleero e Bulange e Mengo, mwategereza okukuza amazalibwa gano kuyimirizidwa olw’ensonga nti Nnyinimu akyaali mitala […]
Abagamba nti Oulanya yafa butwa poliisi ebeetaaga
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi egenda kuyita Muzei Nathan Okori taata w’omugenzi Jacob Oulnyah, akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi, omubaka Gilbert Oulanya, minisita wamawulire Dr Chris Baryomunsi namyuka ssentebbe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda, okujiyambako mu kunonyereza ku nfaya Oulanyah. Kino kidiridde amawulire agagenze […]
Gavt esabiddwa okufulumyanga alipoota ku bafudde nga bukyali-Mayiga
Bya Prossy Kisakye, Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye gavumenti eyanguyirizengako okufulumya alipoota ku bakungu baayo ababa bafudde okwewala abantu okutebereza. Ono okwogera bino kidiridde abakungu ba gavt abawerako okufa gavt nelwawo okufuluya alipoota kunfa yaabwe ekivirako bannauganda buli omu okwogera kyalowooza nti […]
Museveni asisinkanye Kagame
Bya Ritah Kemigisa Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni, mutaka mu kibuga Nairobi mu gwanga lya Kenya, ngeno asisinkanye munne owa Rwanda Paul Kagame nabakulembeze abalala ku nsonga z’okutebenkeza egwanga DR-Congo. Omukulembeze wegwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta, ba ssentebbe bomukago gwa East African Community yayise abakulembeze […]
Taata w’omugenzi Oulanyah azeemu okulumiriza, ”mutabani wange bamuwa butwa”
Bya Ritah Kemigisa Muzeeyi, Nathan Okori, taata w’omugenzi Jacob Oulanyah azeemu nalumiriza nti mutabani we bamuwa butwa. Ono ayogeddeko eri abazisi, abakuganidd ku ssomero lya Ajuri P/S mu gombolola ye Lalogi mu disitulikiti ye Omoro, ngagambye nti mutabani we yamutegezaako ku nsonga eno. Kino asabye […]
Oulanyah agenda kuzikibwa olwaleero
Bya Ritah Kemigisa Abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah agenda kugalamizibwa mu nnyumba ye, eyoluberera olunnaku lwaleero ku kyalo Ajuri mu gombolola ye Lalogi mu disitulikiti ye Omoro. Oulanyah, Mukama yamujulula okuva mu bulamu bwensi nga 20 March, nga yafiira mu gwanga lya America, gyeyali […]
Uganda nate teraze ludda mu UN
Bya Ivan Ssenabulya Uganda, nate yalonze netaraga ludda mu lutuula lwekibiina kyamawanga amagatte olwenjawulo, bwebabadde bagoba Russia okuva mu kakiiko akekibiina kyamawanga amagatte akeddembe lyobuntu aka UN-Human Rights Council. Omubaka wa Uganda owenkalakkalira mu kibiina kyamawanga amagatte, Amb. Adonia Ayebare ayise ku tweeter nakakasa nti […]
Ateberezebwa okubeera omubbi bamusse
Bya Ivan Ssenabulya Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Namubiru e Mukono, abantu abatanategerekeka bwebakakanye ku muntu gwebeteberezza okubeera omubbi wa pikipiki nebamukuba emiggo, okutuusa lwasizza ogwenkomerere. Okusinziira ku batuuze, omugenzi bazze bamuwondera ng’olumukutte nebamukuba okutuusa lwafudde. Akulira abagoba ba boda boda mu kibuga Mukono Sulaiman Kiwanuka ne […]
Bobi Wine akayukidde abazungu
Bya Ivan Ssenabulya Akulembera ekibiina kya National Unity Platform, era eyavuganya kubwa pulezidenti mu kalulu akawedde Robert Kyagulanyi asabye amawanga gabazungu okukola nga bwebogera, okulwanyisa enfuga embi mu mawanga amalala. Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, abadde ayogerera mu lukungaana lwa Geneva Summit for Human Rights […]