Amawulire
Kanso eyawamu egenda kutuula okukungubagira Oulanyah
Bya Benjamin Jumbe Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni asabye banna-Uganda okubeera ku mwanjo mu mirimy eginakulakulanya egwanga. Museveni bino yabyogeredde mu kusabira omugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11 okwabadde e Kololo akawungeezi keggulo. Agambye nti kinabeera kikulu nnyo abantu okutwala Oulanyah […]
Museveni akubiriza bannauganda okwekuuma okuba abalamu
Bya Benjamin Jumbe, Omuk weggwanga YK Museveni akubiriza bannauganda okwekuuma nga balamu bulungi. Bino abyogedde ayogerako eri abakungubazi ku mukolo ogwokusabira omwoyo gwomugenzi Jacob Oulanya e Kololo M7 agambye nti obulamu bwe bugagga ate kye kyokulwanyisa mu lutalo lwensi eno. Ono ategezeza nti omuntu bwafa […]
Abaana abazaalibwa n’ebigere ebyewese abasinga tebafuna bujanjabi
Bya Ndaye Moses, Minisitule eye byobulamu egamba nti abaana abazaalibwa ngebigere byabwe byefunyiza okudda munda oba ebweru abafuna obujanjabi tebawera na bitundu 50% Okusinzira ku Dr. Charles Oralo, akulira ebyobujanjabi mu minisitule eno, mu Uganda, abaana 2,000 bebazaalibwa buli mwaka nga ebigere byabwe tebiteredde nga […]
Abaana abasoba mu 20 e Karamoja babuziddwawo
Bya Simon Peter Emwamu Abaana abasoba mu 20 mu disitulikiti ye Kapelebyong tebakubikako kimunye oluvanyuma lwobulumbaganyi obwakoleddwa abagambibwa okuba abalwanyi aba Karamajong olunaku lweggulo. Mu bulumbaganyi buno bannansi balabiddwako nga basibamu ebyanguwa babulira ebitundu byabwe nga batya okuttibwa. Norah Amachar, owemyaka 65 nga mutuuze […]
UPC esabye Gavt ku butabanguko obuli e Karamoja
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kya Uganda People’s Congress (UPC) kisabye gavumenti okukola okunonyereza bakyuse ekitundu kye Karamoja obutatambulira ku bulunzi byokka ngekyetunzi. Kino kigidde mu kaseera nga embeera eyobunkenke yeyongedde mu bitundu bye Karamoja nga abaayo balumiriza nti abakaramoja abalwanyi babalumba ne babakolako efujjo omuli […]
Omusomesa bamulumirizza okuyambako omuyizi okujjamu olubuto
Bya Barbra Nalweyiso Abakulembeze b’eggombolora y’e Kiyuni mu district y’e Mubende baddukidde eri omubaka waabwe omukyala, Hope Grania Nakazibwe, abayambe ku kizibu ky’abasomesa abatandise omuze gwokuyambako abaana b’amasomero okujjamu embuto. Ssentebe w’eggombolora Aloysius Byamunugo ategeezezza ngabasomesa bwebatandise ebutereevu okwetaba mu bikolwa bino. Ayogedde ku mwana […]
Masaka: Okusika omuguwa ku kuzimba ekitebbe
Bya Gertrude Mutyaba Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu eriko ba kamisona besindise e Masaka okunoonyereza, okuzuula ekifo ekituufu awasanidde okuzimbibwa ekitebbe kya disitulikiti eno. Abatumiddwa kuliko Jackie Kemigisha, Okello Okot ne Swizin Mugyema nga baasisinkana abakulembeze ba disitulikiti, oluvanyuma bayolekedde e Nkuke ne Kyambazi ewali ettaka […]
Amasomero g’obwananyini gaggaddewo mangu
Bya Musasi Waffe Ekibiina ekigatta amasomero gobwanannyini wansi wa Federation of Non–State Educational Institutions in Uganda, banyonyodde ku kyamasomeo okuggalawo amangu. Amasomero agamu gatandise okuggalawo olusoma wiiki eno, abalala bajja kuggalawo wiika ejja waddenga wakyabulayo nga wiiki 2 Zauja Ndifuna amyuka ssentebbe wekibiina kino, agambye […]
Egwanga ligenda kusabira Oulanyah olwaleero
Bya Ritah Kemigisa Omubiri gwomugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11 gugenda kujibwa ku palamenti amakya ga leero okugutwala ku kisaawe Kololo mu kusaba kwegwanga, okwategekeddwa. Okusaba kuno kugenda kukulemberwamu Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda Dr Samuel Steven Kaziimba Mugalu, nga kugenda kwetabwako […]
Oulanya yafudde kirwadde kya Kokkolo ekyanafuna ebitundu ebyómunda
Bya Rita Kemigisa Ababaka mu lukiiko lwe gwanga olukulu bakyagenda mu maaso nókukungubaga nokujjukira emirimu gyomugezi eyaliko sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11 Jacob Oulanya. Eyaliko omukubiriza wolukiiko lweggwanga olukulu era nga ye minisita avunanyizibwa kunsonga za amawanga agali mu mukago gwa East African Community, […]