Amawulire
KCCA yetaaga obuwumbi bwensimbi 60 okuyoola kasasiro ne kazambi mu Kampala
Bya Prossy Kisakye, Kampala Capital City Authority (KCCA) yetaaga obuwumbi bwensimbi 60 okusalira amagezi ekizibu kyakazambi, kasaasiro ne plastika mu kibuga. okusinzira ku muwandiisi wébyensimbi nénzirukanya yémirimu mu KCCA, John Mary Ssebuufu, ngékitongole kikyagenda mu maaso nókukunganya kasasiro, kazambi, ebiccupa ne birala ebisuulibwa mu kibuga, […]
Ssabalabirizi Kaziimba ali ku bugenyi e Mbale
Bya Benjamin Jumbe, Ssabalabirizi wé kanisa ya Uganda, Dr Stephen Kaziimba muttaka ssaza lya North Mbale Diocese ku bugenyi obwennaku 2 ku mirimu gye egyekitume. Ono ayanirizibwa omulabirizi we Sironko Rt Rev Samuel Gidudu na bakristaayo abalala. Ssabalabirizi Kaziimba wakweyambisa olugendo luno okusisinkana abakulira amasomero […]
Omukuumi avunanibwa gwa bulagajavu
Bya Ruth Anderah, Waliwo omukuumi mu kampuni ya G4s Uganda avunanibwa olwokulagajala ngali ku mulimu ekyavirako ababbi okuyingira ne bba weyali akuuma. Siraje Lubulwa owe myaka 25 bwalabiseeko mu maaso gomulamuzi owe ddaala erisooka ku kkooti eya City hall Valerian Tuhimbise yegaanye emisango egimusomedwa nasindikibwa […]
Leero abayisiramu munsi yonna lwebatandise ekisiibo
Bya Prossy Kisakye, Abaddu ba Allah abayisiramu munsi yonna leero lwe batandise okusiiba omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan okujjuza empagi eyókuuuna okuzimbidwa obusiramu. Okusiiba omwezi gwa Ramadhan kukakata ku basiraamu bokka, wabula abasiramu abalina obuzibu okugeza nga abalwadde, abakyala abali munsonga n’embeera endala tebakirizibwa kusiiba. Omwezi […]
Omulambo gwo Oulanyah gutuuse mu ggwanga
Bya Juliet Nalwooga, Omumyuka womuk weggwanga, Jessica Alupo asabye bannauganda okusigala nga bakakamu ate nga bali bumu ngeggwanga likungubagira omugenzi Jacob Oulanyah. Bino abyogedde ayogerako ne bannamawulire amangu ddala nga yakakwasibwa omubiri gwomugenzi ku kisaawe e ntebbe. Omulambo gwomugenzi eyali sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe […]
Katikkiro atongoza abakulembeze ba Nkobazambogo mu Masomero
Bya Prossy Kisakye, Kattikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akalaatidde abazadde okutwala omutawana okumayisa abaana baabwe nga bakyali bato nti mulimu gwabwe okukuuma n’okutaasa Namulundo ate nókubakulizamu omutima gwa Buganda ogutafa. Katikkiro bino abyogeredde wano Bulange e Mengo ku mukolo gwókutongoza abakulembeze abagya abékibiina kya […]
Ssabalamuzi akiise e’mbuga
Bya Prosy Kisakye Ssabalamuzi wegwanga Alfonso Owinye Dollo yetadde mu ddene olwaleero, nagenda ku mbuga y’obwakabaka bwa Buganda e Bulenge Mengo, okwetondera Ssabasajja Kabaka olwébigambo byeyayogera gyebuvuddeko. Ssabalamuzi e Bulange yatuuse ku ssaawa 4 nékitundu ngawerekeddwako eyaliko pulezidenti wa UPC Olala Otunu, Ralph Ochan, Peter […]
IGG waakunonyereza ku mbalirira y’okuziika Oulanyah
Bya Ritah Kemigisa ne Christine Nakyeyune Kalisoliiso wa gavumenti asubizza okwekennenya nokunonyereza ku mbaliririra y’okuziika, abadde sipiika wa palamenti Jcob Oulanyaha, gyayise “obscene cash bonanza” mu lunyanyimbe. Kalisoliiso Betty Kamya mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti agenda kukismbako amannyo, ngeemu kungeri yokujjukira omugenzi Oulanyah kubanga abaddenga […]
Kadaga akungubagidde omugenzi Oulanyah
Bya Prossy Kisakye, Eyaliko omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga atendereza emirimu gyabadde speaker Jacob Oulanya, namwogerako nga abadde omukutu mugatta bantu, bwegutuuka ku babaka baabadde akulembera. Kadaga olwaleero alabiseko ku palamenti, nga gwe gubadde omulundi ogusoose, bukya ajjibwa mu kifo ekyobwa spkeaer. Kadaga ono, era […]
Bya Tom Agulini Abakola ogwokulabirira ensasula yemisolo egyebyamaguzi, bagala ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo mu ggwanga, ekya national bureau of standards kiseewo abakozi abamala mu bifo byonna ebyensalo, kisobole okwanguyanga emirimu. Bano nga begattira mu kibiina kyaabwe ekya Uganda Freight Forwarders customs Union Agents Association, babade […]