Amawulire
Abasawo batiisatiisiza okuteeka wansi ebikola kulwa banaabwe
Bya Prossy Kisakye, Abasawo mu kibiina ki Uganda Medical Association, batiisizatiisiza okussa wansi ebikola singa gavumenti enagaana okwekuba mu kifuba ku kyasalidwawo, okuyimiriza banaabwe ababade bali mu kujanjaba ekilwadde ekya covid 19. Minisitule eye byobulamu yafulumiza ekiwandiiko ekiyimiriza bano ku mirimu ngegamba nti tewakyaliwo nsiimbi […]
EAC baanirizza DR-Congo mu mukago
Bya Benjamin Jumbe Ssabawandiisi w’omukago gwa East African Community akowodde ba nekolera gyange okukolagana obutereevu nezi gavumenti, okuganyulwa mu katale akagenda okuziwa olwegwanga lya Democratic republic of Congo eyabegaseeko. DR-Congo baagiyingizza mu mukago gwa EAC mu butongole, mu lutuula olwenjawulo olwabakulembeze olw’omulundi ogwe 19 olwatudde […]
Ab’eKisoro balajanidde gavumenti ebayambeko ku babundabunda
Bya Benjamin Jumbe Abanoonyi bobubudamu abali mu 7000 bebakasala ensalo okuva mu Democratic Republic ya Congo okwesogga Uganda okuyita ku nsalo ye Bunagana. Okusinziira ku lukiiko oluvunayizibwa ku mirimu gyebibamba nebigwa tebiraze mu disitulikiti ye Kisoro abantu badduka, betegula okulwanagana okwazeemu wakati wamagye ga gavumenti […]
UPDF esse abajaasi 20 mu nnaku 10
Bya Benjamin Jumbe Amagye gegwanga aga UPDF galiko abalwanyi 20 bebasse mu nnaku 10 eziyise mu kitundu kye Karamoja. Bano bakoleddwako ebikwekweto oluvanyuma lwabalwanyi abegwanga lya Turkana okutta abakungu 3 okuva minisitule yamasanyalaze nabajaasi bya 2 mu disitulikiti ye Moroto. Omwogezi wamagye gegwanga Brig Gen […]
Ababaka b’omu Acholi bagamba nti embalirira y’okuziika Oulanyah yadumuddwa
Bya Ritah Kemigisa Ababaka ba palamenti, mu kabondo kaabwe nga bwebava mu ttundutundu lya Acholi nabo bavuddeyo okwanukula ku sseente zembalirira yokuziika omugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa palamenti ey’omulundi ogwe 11. Akakiiko akategeka okuziika kabaze embalirira ya buwumbi 2 nekitundu, ngakabondo kababaka ba Acholi […]
Embaliria y’okuziika Oulanyaha yabuwubi 2 n’ekitundu
Bya Musasi Waffe Gavumenti egenda kusasanya obuwumbi 2 n’ekitundu mu ntekateeka zokuziika abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah mu bitiibwa. Ono owemyaka 56 yabadde sipiika wa palamenti owomulundi ogwe 11, wabula Mukama yamujulula okuva mu bulamu bwensi mu gwanga lya America gyeyali yatwalibwa okujanajabibwa ku […]
Ssabalamuzi yetondedde Ssabasajja
Bya Musasi Waffe Ssabalamuzi wegwanga, omulamuzi Alfonse Owiny Dollo yetondedde, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi kwebyo byeyaaogera nti Omutanda yatwalibwa mu gwanga lya Germany okujanajabibwa mu nnyonyi yobwa pulezidenti. Bino yabyogerera ku lumbe lwomugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa Palamenti bweyali avumirira abaali bekalakaasa olwokutwala […]
Omusibe ayise mu n’galama natoloka mu kaddukulu
Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu disitulikiti ye Budaka ebakanye nokunonyereza kungeri omusibe gyeyatoloseemu, okuva mu kaddukulu. Immaculate Alaso omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Bukedi North agambye nti bino byabaddewo mu gandaalo erya sabiiti, nga basubira nti omusibe ono yayise mu ngalama, namenya akasolya natoloka. […]
Abawabuzi ba Kkooti basabye
Bya Ivan Ssenabulya, Abawabuzi ba kooti, bayite ba Court Assessors mu musango oguvunanibwa eyali omuyizi agambibwa okutta eyali mugazi we, bwebaali basoma basabye omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono agusingise Mathew Kirabo. Kirabo yali asoma busawo ku ssetendekero e Makerere, kigambibwa nti yatta Desire Mirembe nga […]
Omusomo gwa Dembe FM “Wezuule” gutandika nkya
Bya Ivan Ssenabulya, Abakazi bajjukiddwa okufaayo ennyo ku nviiri zaabwe ate nokumanya enkozesa yebizgo. Omukugu Jackson Mutebi okuva mu MIAD batabuzi bebizigo yakoze okuwabula kuno eri abakyala, nti kisanidde okusobola okwewala obulabe bwebizgo ku nviri, olususu, emitwe awamu nobulamu bwabwe. Ono akunze abakyala okwetaba mu […]