Bya Benjamin Jumbe
Ssabawandiisi w’omukago gwa East African Community akowodde ba nekolera gyange okukolagana obutereevu nezi gavumenti, okuganyulwa mu katale akagenda okuziwa olwegwanga lya Democratic republic of Congo eyabegaseeko.
DR-Congo baagiyingizza mu mukago gwa EAC mu butongole, mu lutuula olwenjawulo olwabakulembeze olw’omulundi ogwe 19 olwatudde olunnaku lweggulo.
Ssabawandiisi wa EAC Dr. Peter Mathuki, agambye nti akatale gaagaziye okutuuka…
Bya Benjamin Jumbe
Abanoonyi bobubudamu abali mu 7000 bebakasala ensalo okuva mu Democratic Republic ya Congo okwesogga Uganda okuyita ku nsalo ye Bunagana.
Okusinziira ku lukiiko oluvunayizibwa ku mirimu gyebibamba nebigwa tebiraze mu disitulikiti ye Kisoro abantu badduka, betegula okulwanagana okwazeemu wakati wamagye ga gavumenti nabayekera aba M23.
Okulwanagana kuno kwatandise mu kiro ekyakeesa olunnaku lwa Bbalaza.
Kati abasinga,…
Bya Benjamin Jumbe
Amagye gegwanga aga UPDF galiko abalwanyi 20 bebasse mu nnaku 10 eziyise mu kitundu kye Karamoja.
Bano bakoleddwako ebikwekweto oluvanyuma lwabalwanyi abegwanga lya Turkana okutta abakungu 3 okuva minisitule yamasanyalaze nabajaasi bya 2 mu disitulikiti ye Moroto.
Omwogezi wamagye gegwanga Brig Gen Felix Kulayigye mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti abalwanyi 39 mungeri yeemu bakwatiddwa.
Agambye nti…
Bya Ritah Kemigisa
Ababaka ba palamenti, mu kabondo kaabwe nga bwebava mu ttundutundu lya Acholi nabo bavuddeyo okwanukula ku sseente zembalirira yokuziika omugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa palamenti ey’omulundi ogwe 11.
Akakiiko akategeka okuziika kabaze embalirira ya buwumbi 2 nekitundu, ngakabondo kababaka ba Acholi babagerekeddeko obukadde 312 nemitwalo 90 ezatanudde okwogeza abantu ebigambo.
Ssabawandiisi wakabondo kano, John…
Bya Musasi Waffe
Gavumenti egenda kusasanya obuwumbi 2 n’ekitundu mu ntekateeka zokuziika abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah mu bitiibwa.
Ono owemyaka 56 yabadde sipiika wa palamenti owomulundi ogwe 11, wabula Mukama yamujulula okuva mu bulamu bwensi mu gwanga lya America gyeyali yatwalibwa okujanajabibwa ku akawumbi 1 nobukadde 700.
Obuwumbi 2 nekitundu yembalirira eyabagiddwa akakiiko akategeka okuziika, akakubirizibwa…
Bya Musasi Waffe
Ssabalamuzi wegwanga, omulamuzi Alfonse Owiny Dollo yetondedde, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi kwebyo byeyaaogera nti Omutanda yatwalibwa mu gwanga lya Germany okujanajabibwa mu nnyonyi yobwa pulezidenti.
Bino yabyogerera ku lumbe lwomugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa Palamenti bweyali avumirira abaali bekalakaasa olwokutwala Oulanyaha mu America.
Dollo yagamba nti Ab-Baganda abamu balina emitima emibi kubanga Kabaka…
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi mu disitulikiti ye Budaka ebakanye nokunonyereza kungeri omusibe gyeyatoloseemu, okuva mu kaddukulu.
Immaculate Alaso omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Bukedi North agambye nti bino byabaddewo mu gandaalo erya sabiiti, nga basubira nti omusibe ono yayise mu ngalama, namenya akasolya natoloka.
Ono tamenye mannya ge, wabulanga kigambibwa nti yayise mu kasolya akekiyigo, nga yalabirizza…
Bya Ivan Ssenabulya,
Abawabuzi ba kooti, bayite ba Court Assessors mu musango oguvunanibwa eyali omuyizi agambibwa okutta eyali mugazi we, bwebaali basoma basabye omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono agusingise Mathew Kirabo.
Kirabo yali asoma busawo ku ssetendekero e Makerere, kigambibwa nti yatta Desire Mirembe nga 11 mu July wa 2015, omulambo gwe nagusuula mu bikajjo e Lugazi…
Bya Ivan Ssenabulya,
Abakazi bajjukiddwa okufaayo ennyo ku nviiri zaabwe ate nokumanya enkozesa yebizgo.
Omukugu Jackson Mutebi okuva mu MIAD batabuzi bebizigo yakoze okuwabula kuno eri abakyala, nti kisanidde okusobola okwewala obulabe bwebizgo ku nviri, olususu, emitwe awamu nobulamu bwabwe.
Ono akunze abakyala okwetaba mu musomo gwa Wezuule ogukutegekeddwa Dembe Fm, ogugenda okubeera ku Obligato olunnaku lwenkya.
Omusomo guno…
Bya Prossy Kisakye,
Ab’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) basabye eyakalondebwa ku kifo kyobwa sipiika wa palamenti essira aliteeke ku bintu ebiruma abantu ba bulijjo.
Among yalondebwa kubwa sipiika mu ssabiiti ewedde okudda mu kifo kya Jacob Oulanya eyali mukamaawe wabula katonda namujjulula okuva mu bulamu.
Mu kulonda okwali ku kisaawe e Kololo, Thomas Tayebwa naye yalondebwa…