Amawulire
Ow’emyaka 23 baamukubide mu kivvulu naafa
Bya Barbra Nalweyiso Poliisi mu disitulikiti ye Mubende etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku Robert Munaneza owemyaka 23. Omugenzi abadde mutuuze ku kyalo Kisolo-Kayana mu gombolola ye Madudu e Mubende. Ono yafiridde mu ddwaliro ekkulu e Mubende gyebabadde bamudusizza okufuna obujanajabi oluvanyuma lwebisago ebyamutusiddwako. Okusinziira […]
Sikyampisa okuvuganya ku kifo kyafudde nga tanaziikibwa-Muliira
Bya Ivan Ssenabulya, Kikyamu era ssi kyampisa na buntu bulamu, okuvuganya ku kifo kyomuntu eyafudde nga tanaba na kuzikibwa. Ekifo kyamyuka sipiika wa palamenti kyasigala nga kikalu, oluvanyuma lwokufa kwa Jacob Oulanyah, Mukama gweyajulula ku Sunday mu gwanga lya America. Bwabadde ayogerako naffe, munnamateeka Peter […]
DP eyagala Gavt eveeyo etangaze kunfa yo Oulanya
Bya Prossy Kisakye, Abekibiina kya DP beegasse ku bantu ababanja alipoota ejudde obulungi ku kufa kwa Jacob Oulanyah. Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe kyekibiina mu Kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti alipoota eno yenamalawo oluvuvumo ne byonna ebibadde byogerwa ku kufakwe. Bino […]
Ebbugumu lyey’ongedde mu kuvuganya kubwa sipiika
Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kitgum Lillian Aber alaze obwagazi okuvuganya ku kifo kyamyuka sipiika wa palamenti. Lillian Aber, yatubuliidde nti akabondo kababaka ba palamenti abava mu kitundu kya Acholi baamuwanzeeko eddusu. Wabula kino tekibadde kituufu, kubanga akabondo kasembye […]
Kabaka akubiriza abasajjabe okukola enyo kulwóbwakabaka
Bya Prossy Kisakye, Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 akubiriza abakulembeze mu bwakabakabwe ku mitendera egyenjawulo okufuba okulaba nga buli omu atukiriza obuvunanyizibwa bwabwe Buganda edde kuntiko. Bino bibadde mu bubakabwe bwattise kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayinga mu kuggulawo olukungana lwa […]
Omulambo Gw’Oulanyah gusubirwa wiikendi
Bya Musasi Waffe Omubiri gwabadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah, gusuirwa okukomezebwawo mu gwanga, mu gandaalo erya sabiiti. Kino kibikuddwa minisia omubeezi owensonga zebweru wegwanga, avunanyizibwa ku nkolagana namawanga amalala Henry Okello Oryem. Oryem agambye nti omubaka wa Uganda mu kibuga Washington mu America, yabitaddemu […]
Ebbugumu ly’eyongedde mu kuvuganya kubwa sipiika
Bya Basasi Baffe Amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among, kitegezeddwa nti agenda kuvuganya ku kifo kya sipiiika wa palamenti. Ono asubirwa okujjayo empapaula ku gwandiszo lyekibiina kya NRM olwaleero, okulaga obwagazi okuvuganya. Abakulu mu kibiina kya NRM baayise ba memba baabwe mu palamenti okujjayo empapaula […]
Museveni alagidde egwanga likungubagire Oulanyah
Bya Ritah Kemigisa Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni alagidde bendera, zonna mu gwanga zewubire mu masekati gamirongooti ngegwanga likungubagira abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah. Oulanyah yafiridde mu Seattle mu gwanga lya America gyabadde ajanjabirwa, ngomukulembeze wegwanga yeyakaksizza okufa kwe, olunnaku lweggulo. Mu kiwandiiko kyafulumizza, […]
Taata w’Oulanya agamba mutabani we bamuwadde butwa
Bya Basasi Baffe Taata w’omugenzi Jacob Oulanyah, nga ye Nathan Okori agambye nti mutabani we, teyafudde nfa eyabulijj. Agamba nti yandiba nga bamuwa butwa, obwamuviriddeko okufa. Okori bino yabitegezezza abaziisi, ababadde bakunganidde ku butaka mu disitulikiti ye Omoro, nga yagambye nti amauwlire ssi malungi. Yagambye […]
Dr Byanyima bamulagidde atereeze okulondebwa kwe
Bya Musasi Waffe Ababaka ba palamenti batadde ku nninga akolanga akulira eddwaliro ekkulu ery’e Mulago Dr. Rosemary Byanyima okutekamu obwangu ekifo ekyo kironderwemu omukulembeze owenkalakkalira. Bagamba nti bwekitakolebwe tekigenda kukosa byabuwereza byonna naye, kigenda kubeera kizibu, okuzuula ddala avunayizibwa ku mirimu egikolebwa. Dr Byanyima yabadde […]