Amawulire
Omubaka Zaake bamujeemu obwesige kubwa kamisona
Bya Benjamin Jumbe Omubaka wa munisipaali ye Mityana Francis Zaake yajiddwamu obwesige ku kifo kya kamsona wa palamenti, olwokweyisa mungeri etagwanidde era ewebula ekitiibwa kya palamenti. Bino bibaddewo mu lutuula olutudde akawungeezi akayise, ngekiteeso kino kireteddwa oluvanyuma lwokwanjula alipoota yakakiiko akakwasisa empisa era akabadde kanonyereza […]
Omuyizi wa S1 afiridde mu muliro e Jinja
Bya Abubaker Kirunda Omuyizi owa S1 ku ssomero lya St Joseph Senior Secondary School, Nakanyonyi mu kibuga kye Jinja afiridde mu muliro ogukutte ekisulo kyabayizi mu kiro ekikesezza olwaleero. Omugenzi ye Emmanuel Muwumba, ngabadde y’akadda ku ssomero okuva awaka gyebadde yaddeyo okujanjabibwa. Omwogezi wa poliisi […]
Kadaga atenderezza abakyala
Bya Ivan Ssenabulya Omumyuka wa Ssabaminista wegwanga, avunanyizbwa ku nsonga zomukago gwa East African Community, Rebecca Kadaga atenderezza abakyala mu Uganda, agamba nti batambudde olugendo okuva emabega okutuuka ku mwenkano nakalembekereza akaliwo. Bino yabitadde mu bubaka bwe eri abakyala, ensi bweyabadde ejaguza olunnaku lwabakyala munsi […]
Abamu babusabuusa ebyokuwummula kwa Gen Muhoozi
Bya Ritah Kemigisa Abagoberera nokwtegereza ensonga zebyobufuzi, babusabuusa obanga ddala emboozi yokuwummula kwa Lt Gen Muhoozi Kainerugaba okuva mu magye kyekimu ku byebaali balubirirdde edda mu Muhoozi project eyayogerwako. Emyaka 10 emabega kino kyayogerwako, bangi nebakikolokota nti pulezidenti Museveni ayagala kusikiza mutabani we ku bukulembeze. […]
Poliisi erambuludde okulungamya kw’entambula y’ebidduka
Bya Benjamin Jumbe Poliisi y’okunguudo ekoze okulungamya kwebidduka, okutekeddwa okugobererwa olwaleero ngegwanga likuza olunnaku lwabkyala. Emikolo gyegwanga emitngole gigend kukwatibwa ku kisaawe kyegwanga e Kololo nga gigenda kwetabwako omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni. Omwogezi wa poliisi yebidduka Faridah Nampiima agambye nti wagenda kuberawo okutataganyizibwa eri […]
Olwaleero lunnaku lwabakyala
Bya Ritah Kemigisa ne Prosy Kisakye Uganda yegasse kunsi yonna olwaleero okukuza olunnaku lwabakyala, International Women’s Day. Olunnaku luno lwabangibwawo okusiima emirimu ejikolebwa abakyala nokwongera okulaga obukulu bwabwe eri ensi nebitundu gyebawangaliira. Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, mu bubaka bwe ayozayozezza abakyala oktuuka ku […]
Okugaba Ssente za NSSF kutandika nga 17 March
Bya Ndhaye Moses Ssenkulu wekitavvu kyabakozi ekya National Social Security Fund (NSSF), Dr Richard Byarugaba alangiridde nti okutandika nga 17 March abakozi bageda kutandika okubawa ku ssente zaabwe, zebabadde baterekera obukadde. Ategezezza bannamwulire nti abakozi akakadde 1 n’emitwalo 90 bwebagenda okuweebwa ku ssente zaabwe. Kino […]
Buganda eyongedde okuvumirirra ebikolwa byokutulugunya abantu
Bya Prosy Kisakye Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, avumiridde ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu, ebigenda byeyongera mu gwanga buli olukedde. Owembuga asabye abobuyinza nti bakomye ebikolwa bino, kubanga kiri mu buyinza bwabwe. Ebikolwa ebyokutulugunya abantu bigenze bibuna mu bitundu byegwanga ebyenjawulo, nga kigambibwa nti bikolebwa […]
Abalaalo 2 babasse nebababbako ente 100
Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu disitulikiti ye Lamwo etandise okunonyereza kungeri abalaalo 2 gyebatiddwamu. Abagenzi kuliko Joseph Okello ngabadde wamyaka 48 ne Denis Oroma owemyaka 38 nga bombi babadde batuuze ku kyalo Oryang mu tawuni kanso ye Madiopei. Bano babadde bagenze kulunda nte, ngoluvanyuma lwokubatta […]
Omuyizi atiddwa mu bukambwe mu Arua
Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu disitulikiti ye Arua enonyereza ku nfa y’omwana owemyaka 21 Aziz Adnani. Omugenzi abadde muyizi mu S 4 ku ssomero lya St Joseph’s college Ombaci nga kigambibwa nti yatemuddwa abatamanya ngamba. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya West Nile, Josephine Angucia […]