Amawulire
Oryemu yesambye ebigambo bya Gen Muhoozi
Bya URN Gavumenti yesambye ebigambo ebyayogeddwa omudumizi wamagye gegwanga agaokuttaka Gen Muhoozi Keinerugaba, bweyawagidde ekyakolebwa Russia okulumba lya Ukraine. Bino yabiteeka ku twitter, bweyali ayongereza ku byali biwandikiddwa munnamauwlire Andrew Mwenda. Bino byavumiriddwa nnyo, nga n’omukago gwa Bulaaya olunnaku lweggulo baafulumizza ekiwandiiko nga balabula abakulembeze […]
Abantu 4 bebafiridde mu kabenje e Mubende
Bya Barbra Nalweyiso Poliisi mu disitulikiti ye Mubende etandise okunonyereza kabenje, akiriddemu abantu 4, mmotoka kika kya FUSO nnamba UAY 196/F gyekozeemu akabenje. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala Rachel Kawala agambye nti mmotoka eno ebadde yetisse basubuzi nabatembeeyi, ngakabenje kabaddewo mu […]
Bingi ebisaanye okukolebwa okutumbula abakyala
Bya Juliet Nalwooga Banakyewa abalwanirira eddembe lyabakazi mu mukago ogwa Forum for Women in Democracy (FOWODE), bagamba nti wakyaliwo ekinene ekitekedwa okukolebwa, ku nsonga yokukendeeza ku miwendo gyabakazi abakabasanyizibwa. Ssentebbe owa booda, olukiiko olwa waggulu oluddukanya ekitongole kino, Joyce Tamale, ategezezza nti ku buli bakazi […]
Uganda teraze ludda weegwa kubya Ukraine ne Russia
Bya Ritah Kemigisa Uganda teraze ludda kwegwa bwegaanye okulonda, ku kiteeso ekyayisiddwa ekibiina kyamawanga amagatte mu lutuula olwenjawulo olubaddewo, nebavumirira ekyakolebwa Russia okulumba egwanga lya Ukraine. Mu lutuula olwenjawulo ekiteeso kino kiyise era nebabanja nti Russia, ejjeyo mbagirawo amagye gaayo mu Ukraine. Amawanga 141 gegawagidde […]
Olwaleero lunnaku lwabutonde bwamunsiko
Bya Benjamin Jumbe Uganda olwaleero yegasse kunsi yonna, okukuza olunnaku lwobutonde bwomu ttale, olwa World Wildlife Day. Olunnaku luno lukwatibwa buli nga 3 March, nekigendererwa okujaguza obutonde obwomunsiko, okuli ebibira nebisolo era nokumanyisa abantu ku bukulu bwabyo. Kati emikolo gyegwanga egyolunnaku luno, gigenda kubeera ku […]
Ababaka ssi bakuweebwa nsako yakutambula
Bya Ndhaye Moses Amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among alangiridde nti okutandika nomwaka gwebyensimbi ogujja 2022/23 ababaka tbagenda kusasulwanga nsako oba allowance ezokutambula munda mu gwanga ne wabweru. Bweyabadde akubiriza olutuula lwa palamenti akawungeezi akayise Among yategezezza, nga kino bwekyavudde mu minisitule yebyensimbi, nga bamuwadde […]
Olwaleero lunnaku lwakusiiga vvu
Bya Ritah Kemigisa Olwaleero abakulistaayo batandise ekisiibo, ekitrandika n’olunnaku olwaleero olwokusiiga evvu oba Ash Wednesday. Kati omulangira wa kkereziya Paapa Francis asabye abakulembeze munsi wonna, okuddamu okwekuba mu mitima, bafumintirize ku Katonda. Bino abitadde mu bubaka bwe obwa Ash Wednesday, ngasabye abantu okusaba nokusiib ensi […]
Ab’eKiboga bazudde omulambo ku kkubo
Bya Barbra Nalweyiso Poliis mu disitulikiti y’eKiboga ebakanye n’okunonyereza ku muntu atanamanyika bimukwatako, agambibwa okuba nga yatemuddwa. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Rachel Kawala, omulambo gweomusajja ono gwasangidwa ku mabali g’ekubbo ku kyalo Lunya mu tawuni kanso ye Lwamata e Kiboga. […]
Abatuuze b’e Kassanda bakanyizza n’omubikira kubyettaka
Bya Barbra Nalweyiso Abatuuze abasoba mu 600 ku kyalo Yala-Kasambya mu gombolola ye Kiganda mu disitulikiti ye Kassanda, bafunye ku buwerero oluvanyuma lwokutuuka ku nzikiriziganya ne nanyini ttaka gwebalude nga bagugulana naye mu kooti. Abatuuze babadde bawakanya ekyokubagobaganya ku ttaka lino kwebagamba nti baludeko ebbanga. […]
Zamba aleese polojekiti y’empya ‘Rainfall’
Bya Ivan Ssenabulya Omuyimbi owerinya omutontomi, munnaYuganda, era munnansi wa America era omuzannyi wa filimu Ernest Nsimbi aka GNL Zamba afulumizza polojkiti ye empya gyeyatuumye ‘Rainfall’ mwalagira obukulu bwamazzi n’enkuba, nga kitundu ku polojekiti ennene eya EP Infinity. Muno era alaga obukulu bwobutonde bwensi, ngenrei amazzi bwegatambula […]