Bya Ivan Ssenabulya,
Kikyamu era ssi kyampisa na buntu bulamu, okuvuganya ku kifo kyomuntu eyafudde nga tanaba na kuzikibwa.
Ekifo kyamyuka sipiika wa palamenti kyasigala nga kikalu, oluvanyuma lwokufa kwa Jacob Oulanyah, Mukama gweyajulula ku Sunday mu gwanga lya America.
Bwabadde ayogerako naffe, munnamateeka Peter Muliira, agambye nti kinenyezebwa ku teeka kubanga lyasirika ku mbeera enzibu ngeriwo olwaleero.
Agambye…
Bya Prossy Kisakye,
Abekibiina kya DP beegasse ku bantu ababanja alipoota ejudde obulungi ku kufa kwa Jacob Oulanyah.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe kyekibiina mu Kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti alipoota eno yenamalawo oluvuvumo ne byonna ebibadde byogerwa ku kufakwe.
Bino webijidde ngabamu ku bakulembeze, okwabadde ne taata w'omugenzi balumiriza nti teyafudde nfa eyabulijjo,…
Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya
Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kitgum Lillian Aber alaze obwagazi okuvuganya ku kifo kyamyuka sipiika wa palamenti.
Lillian Aber, yatubuliidde nti akabondo kababaka ba palamenti abava mu kitundu kya Acholi baamuwanzeeko eddusu.
Wabula kino tekibadde kituufu, kubanga akabondo kasembye minisita owebibamba nebigwa tebiraze Eng Hillary Onek kubwa Sipiika, omubaka we Bargede-Layibi Ojara…
Bya Prossy Kisakye,
Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 akubiriza abakulembeze mu bwakabakabwe ku mitendera egyenjawulo okufuba okulaba nga buli omu atukiriza obuvunanyizibwa bwabwe Buganda edde kuntiko.
Bino bibadde mu bubakabwe bwattise kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayinga mu kuggulawo olukungana lwa bakulembeze olw’omwaka guno, oluyindira ku Nile Hotel e Njeru.
Ssabasajja ateegezeza nti okubalukawo…
Bya Musasi Waffe
Omubiri gwabadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah, gusuirwa okukomezebwawo mu gwanga, mu gandaalo erya sabiiti.
Kino kibikuddwa minisia omubeezi owensonga zebweru wegwanga, avunanyizibwa ku nkolagana namawanga amalala Henry Okello Oryem.
Oryem agambye nti omubaka wa Uganda mu kibuga Washington mu America, yabitaddemu engatto nayolekera Seattle oktandika ku ntekateeka zokuzza omulambo gwa Oulanyah mu Uganda.
Okusinziira ku…
Bya Basasi Baffe
Amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among, kitegezeddwa nti agenda kuvuganya ku kifo kya sipiiika wa palamenti.
Ono asubirwa okujjayo empapaula ku gwandiszo lyekibiina kya NRM olwaleero, okulaga obwagazi okuvuganya.
Abakulu mu kibiina kya NRM baayise ba memba baabwe mu palamenti okujjayo empapaula olwaleero, okuvuganya ku kifo kya sipiika okwakuddwawo.
Akakiiko kebyokulonda mu kibiina kekavunayizbwa ku ntekateeka…
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni alagidde bendera, zonna mu gwanga zewubire mu masekati gamirongooti ngegwanga likungubagira abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah.
Oulanyah yafiridde mu Seattle mu gwanga lya America gyabadde ajanjabirwa, ngomukulembeze wegwanga yeyakaksizza okufa kwe, olunnaku lweggulo.
Mu kiwandiiko kyafulumizza, pulezidenti alagidde akakiiko akatekateeka okuziika, akakubirizibwa minisita wensonga zobwa pulezidenti Milly Babalanda, katandike…
Bya Basasi Baffe
Taata w’omugenzi Jacob Oulanyah, nga ye Nathan Okori agambye nti mutabani we, teyafudde nfa eyabulijj.
Agamba nti yandiba nga bamuwa butwa, obwamuviriddeko okufa.
Okori bino yabitegezezza abaziisi, ababadde bakunganidde ku butaka mu disitulikiti ye Omoro, nga yagambye nti amauwlire ssi malungi.
Yagambye nti Oulanyah bamuwa butwa era byonna ebinayogerwaoluvanyuma, binaababigenda kubuzabuza.
Yagambye nti olumbe olwamusse lwatandika okweyoleka,…
Bya Musasi Waffe
Ababaka ba palamenti batadde ku nninga akolanga akulira eddwaliro ekkulu ery’e Mulago Dr. Rosemary Byanyima okutekamu obwangu ekifo ekyo kironderwemu omukulembeze owenkalakkalira.
Bagamba nti bwekitakolebwe tekigenda kukosa byabuwereza byonna naye, kigenda kubeera kizibu, okuzuula ddala avunayizibwa ku mirimu egikolebwa.
Dr Byanyima yabadde ayitiddwa okweyanjula mu kakiiko ka palamenti aka Public Accounts Committee okwanukula ku kwemulugunya…
Bya Musasai Waffe
Akakiiko ka palamenti akebyobusbuzi nebyobulambuzi kalagidde ekitongle kyomutindo ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) okujja obubonero bwabwe ku byounywa ebimu oba energy drinks zebazudde nti teziri ku mutindo.
Ssentebbe wakakiiko kano omubaka Mwine Mpaka yabawadde ennaku 7, okkola kino oluvanyuma bakomewo banyonyole akakiiko webatuuse.
Kino kyadiridde ssenkulu wekitongole kyeddagala ekya National Drug Authority (NDA)…