Amawulire
Kansala Ssegawa bamuwadde obwa RDC
Bya Ivan Ssenabulya Enkyukakyuka ezakoleddwa muba RDC neba RCC, omukulembeze wegwanga zolekedde okuleka ekifo ekimu nga kikalu mu munisipaali ye Mukono. Kansala wa Ngandu-Kigombya ku lukiiko lwa munisipaali ye Mukono, Mike Ssegawa yoomu ku balondeddwa okumyuka ba RDC. Ssegawa ngabadde kansala, yatumiddwa RDC mu Jinja […]
Ababaka ba palamenti bawabuddwa kubya Sipiika
Bya Prosy Kisakye ne Sam Ssebuliba Abavuganya gavumenti mu kibiina kya People’s Progressive Party basabye aboludda oluvuganya gavumenti mu palamneti, ku mulundi guno obutawagira ba NRM mu kulonda kwa sipiika wa palamenti nomumyuka we. Palamenti egenda kutuula ku Lwokutaano lwa wiiki eno okujjuza ekifo kya […]
CEC ewabudde Ssemateeka akolebwe enongosereza
Bya Ivan Ssenabulya Olukiiko lwekibiina kya NRM olwa waggulu, olwa Central Executive Committee (CEC) lwawabudde nti ssemateeka wegwanga akolebwemu enongosereza ku nsonga zobukulembeze bwa palamenti. Emiwaatwa gyazuddwa mu ssemateeka, oluvanyuma lwokufa kwa Jacob Oulanyah, nga ennyingo eya 82 mu ssemateeka wewagnga nobuwayiro obwagoberera yawa sipiika […]
Kooti enenyezza akakiiko kebyokulonda
Bya Ruth Anderah Kooti ya ssemateeka enenyezza akakiiko kebyokulonda, olwokutondawo ebifo byobukulembeze ebibbya nga tebatunuliidde bugazi bwabitundu nomuwendo gwabalonzi. Kooti etegezezza nti newankubadde ssemaeeka wegwanga owa 1995 yalagira okutondangawo ebifo bino, batekeddwa okwesigama ku muwendo gwabantu okusinziira ku kubala abantu okwa 2002 ne 2014. Bagambye […]
Aceng avudde mu lw’okaano lw’obwa sipiika
Bya Benjamin Jumbe Minisita webyobulamu Jane Ruth Aceng avudde mu lwokaano, lwokuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti. Ono yoomu ku banatu 13 ababadde balaze obwagazi munda mu kibiina kya NRM, okudda mu bigere by’omugenzi Jacob Oulanyah. Okuvaamu kwa Aceng, kukakasiddwa ssentebbe wa NRM Dr […]
Kakwenza bamuyisizaako ekibaluwa ki bakuntumye
Bya Ruth Anderah Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road ayisizza ekiwandiiko ekikwata, omuwandiisi Kakwenza Rukirabashaija oluvanyuma lwokulemrerewa okweyanjula mu kooti olwaleero. Omulamuzi Dr. Douglas Singiza era ayise nabamweyimirira okulabikako eri kooti nga 11 April 2022 okunyonyola amayitire ge. Bano kinajjukirwa nti beyama okusasaula ssente ezitaali […]
Abakozi abasoba mu 4000 bebakaweebwa ku ssente z’obukadde
Bya Ndhaye Moses Ekitavvu kyabakozi, National Social Security Fund bategezezza nga bwebakasasula ssente obuwumbi 78 nobukadde 800 eri ba memba 4,417 wansi wentekateeka ya Midterm Access. Kino kyajjira mu tteeka lyekitavvu kyabakozi eryajjiramu enongosereza, ngomukozi aweebwa ekitundu ku ssente zaterekera obukadde. Akulira NSSF Dr Richard […]
CEC ya NRM nabavuganya bagenda kutuula
Bya Basasi Baffe Olukiiko lw’ekibiina kya NRM olwa waggulu, Central Executive Committee lugenda kutuula olwaleero okusunsula ba memba bekibiina abavuddeyo nebalaga obwagazi okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti. Olunnaku lweggulo, akakiiko kebyokulonda munda mu kibiina kaasunsudde abantu 13 abegwanyiza okudda mu bigere by’omugenzi Jacob […]
Oulanyaha yalongoosa enkolagana ya palamenti ne gavumenti
Bya Ritah Kemigisa Abadde aomukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah bamutenderezza olw’enkola yemirimu gye, nga bamwogeddeko nti abadde agezezaako okulongoosa enkolagana wakati wa gavumenti ne palamenti. Mu kusooka waalingawo okusika omugwa wakati wessiga erifuzi ne palamenti, essiga eribaga amateeka naddala wansi wa Rebecca Kadaga. Bwabadde ayogerako […]
Abakozi ba gavumenti 4 babatidde e Karamojja
Bya Juliet Nalwooga Ab’obuyinza mu kitundu kye Karamoja bayungudde abebyokwerinda omuli amagye ne poliisi okuzuula abakungu ba gavumenti 4, abagambibwa okuba nti battiddwa aba-Karamoja ababbi bente. Abantu bano abana, kigambibwa nti bakugu mu byembeera yobudde, nga babadde bakolera wansi wa minisitule yamasanyalaze nobugagga obwomuttaka, nga […]