Amawulire
Omukulu wésomero yekakkatise ku mwana oweyaka 12
Bya DAN WANDERA, Police e Luweero eriko omukulu wessomero rya Vision Primary and Nursery school gwetadeko obunyogoga ku bigambibwa nti yasobeza ku muyizi owa p7 Omwogezi wa poliisi e luwero isa ssemwogerere agamba nti omuwala eyasobezedwako wa myaka 12 wabula nga omukulu wessomero yamutiisa nti […]
Kabaka asabye Gavt egyewo emisolo ku bintu ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo
Bya Prossy Kisakye, Ssabasajja kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi 11, asabye gavt okugyawo omusolo ku bintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo mu bannauganda basobole okumyumirwa amazukira ga mukma waffe Yesu. Bino biri mu bbaluwaye obuli obubaka bwa pasika efulumizibwa enkya ya leero. Kabaka agambye nti […]
Omutendesi wa Police FC , Mubiru agobeddwa
Bya Prossy Kisakye, Kiraabu ya Police FC enabidde mu maaso abadde omutendesi wabwe Abdallah Mubiru olwokulemererwa okukola obulungi mu league ye ggwanga. Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumizidwa CEO wa kiraabu eno, CP Arinaitwe PK, Mubiru takyavunanyizibwa ku kutendeka tiimu eno. Ono agamye nti olukiiko lwa boodi […]
Uganda esabye owewulwe ku mugugu gwa babundabunda
Bya Benjamin Jumbe, Minisita omubeezi owa babundabunda Esther Anyakun asoomozeza gavt ya DR Congo ne South Sudan okusuula Uganda omukono ku banonyi bobubudamo balina okuva munsi zabwe. Bino abyogedde mu lukungana olwokukubaganya ebirowoozo ku babundabunda olutudde mu Kampala. Minisita agambye nti mu kiseera kino Uganda […]
VP Alupo asabye abakyala bayambibwa okuba nóbuggaga
Bya Juliet Nalwooga, Omumyuka w’omumkulembeze we ggwanga Jessica Alupo, asabye ab’ebyokwerinda okukuuma ebintu byabakyala bwekiba nti banaatuuka ku nkulakulana. Bino abyogeredde mu lukungaana olwa National Gender Forum mu Kampala, nagamba nti tewali muntu asaanye kugibwako lukusa kuba nabintu bibwe nga nabakyala mwobatwalidde. Azzeemu nateegeza nga […]
Ssabalabirizi Kazimba asabye Gavt okukuuma bannauganda mu biseera byennaku enkulu
Bya Prossy Kisakye, Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, Dr. Steven Kazimba Mugalu, asoomozeza gavumenti okukakasa nti bannauganda baweebwa obukuumi mu biseera bino ebyamazukira ga mukama waffe yesu. Bino abyogedde awa obubaka bwe obwamazukira nga asinzira mu makage e Namirembe. Omulanga gwa ssabalabirizi gugidde mu kaseera […]
Obusaanyi bulumbye disitulikiti 38 mu Uganda
Bya Benjamin Jumbe ne Prossy Kisakye, Minisitule eyebyobulamu nóbulunzi nóbuvubi ekakasiza okubalukawo kwobusaanyi obwekika kya African army worm, mu disitulikiti 38 mu ggwanga lino. Bino byogeddwa minisita omubeezi ow’eby’obulimi Fred Bwino, nga agamba nti obusaanyi buno bwavudde mu mawanga agatuliranye olwebugumu erisuse. Obusaanyi buno bwabulabe […]
Entiisa e Bugiri- abatuuze bagudde ku mulambo
Bya Kirunda Abubaker, Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Buwole mu Bugiri Northern Division, bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga gulengejja okumpi ne woteeri. Bino bibadde ku Sonai Hotel, nga tekinaba kutegerekeka kiki ekyamutuseeko. Ssentebbe wa LC 111, nga ye Sande Mukoba agambye nti omugenzi tamanyikiddwa bimukwatako, naye basubira […]
Munnamateeka Ssemakadde Kkooti emuweereza ekibaluwa ekirala
Bya Ruth Anderah, Omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda Road, Marion Mangeni ayisizza ekibaluwa ekirala ekiyita munnamateeka Isaac Ssemakadde okwanukula ku misango gye, egyokuyisa olugayi mu kooti nokukozesa obubi ebyuma bi kalimagezi. Ssemakadde abadde asubirwa mu kooti olwaleero wabula tazze, atenga ne bannamateeka be […]
Abavuganya betegekedde okulonda kw’Omoro
Bya Prosy Kisakye ne Benjamin Jumbe Abamu kub’oludda oluvuganya gavumenti bagamba nti betegese, okwetaba butereevu mu kuvuganya ku kifo kyomubaka we Omoro mu palamenti, mu kulonda okwokudibwamu okugenda okuberawo. Akakiiko kebyokulonda kalangiridde nti okulonda kujja kuberawo nga 26 May 2022 ngentekateeka zaatandise, ezokujuza ekifo ekyo. […]