Amawulire
Abazadde abetaba ku mbaga z’obufubo bwabato baakukwatibwa
Bya Juliet Nalwooga Wofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti eriko file z’emisango amakumi 40, zebayise okwetegereza nga gyekuusa ku kukabawaza abaana abatenetuuka mu bikolwa byomukwano. Emisango gino gyamu January omwaka guno, 2022. Kino kibikuddwa Agnes Igoye, amyuka ssentebbe owa National Prevention of Trafficking in Persons office […]
Pakistan egenda kuggulawo ekitebbe kyayo mu Uganda
Bya Ritah Kemigisa Egwanga lya Pakistani liri mu ketalo okuggulawo ekitebbe kyalyo mu Kampala ku ntandikwa y’omwezi ogujja omwaka guno 2022. Agha Aslam, nga ye mukwanaganya wemirimu ku kibiina kya Pakistan Association of Uganda, agambye nti omukolo gujja kuberawo mu wiiki esooka eya March. Agambye […]
Munnamateeka bamukwatidde mu bufere
Bya Ivan Ssenabulya Okunonyereza kwa poliisi nakakiiko aka State House Anti-corruption Unit kugenda mu maaso, ku misango egyekuusa ku bufere nobukumpanya okutrwala ettaka yiika 28 e Mukono. Wiiki ewedde, poliisi yakutte munnamateeka Kenneth Nsubuga Sebagayunga, nabantu abalala okwabadde Zahura Shamim, Hakim Bigomba ne Musa Lukungu […]
Nabakooba alagidde okunonyereza kukolebwe
Bya Barbra Nalweyiso Minisita w’eby’ettaka Judth Nabakooba Nalule ayingidde mu nkayana z’ettaka eryagabibwako ebyapa e Kyatebe mu ggombolora y’e Nalutuntu mu disitulikiti ye Kassanda. Minisita okugenda e Nalutuntu kiddiridde abantu baayo okwekubira enduulu oluvannyuma lw’abantu 2; okuli David Kabagambire ne Hajj Faiz Mohamed Wasswa okufuna […]
Abakugu babusabuusa omukago gwa Africa Global Security Foundation
Bya Benjamin Jumbe Abakugu era abalondoola ensonga zebyokwerinda, bagamba babusabuusa omukago ogwatondedwawo amawanga ku byokwerinda ogwa Africa Global Security Foundation. Omukago guno gwatandise nensi 5 okuli; Congo Brazaville, DRC, Mauritius, Senegal, Togo ne Uganda nga gwatongozebwa wiiki ewedde mu kibuga Dakar e Senegal. Eyali ssabaminisita […]
Uganda esubizza okusasula DR-Congo
Bya Ritah Kemigisa Minisita omubeezi owensonga zebweru wegwanga, avunanyizbwa ku nkolagana yamawanga Henry Okello Oryem ategezezza nga Uganda weri mu nteseganya ne balirwana aba Democratic Republic of Congo, ku nnamula eyabawereddwa kooti yensi yonna eya International Criminal court of Justice (ICJ). Kooti yalamudde, nebalagira Uganda […]
Abazigu basse abakuumi 2 ku ssomero lya Naalya SS Lugazi
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi mu disitulikiti ye Buikwe etandise okunonyereza kubwa kondo, nobutemu obukoleddwa ku bakuumi 2 ku ssomero lya Naalya SS Lugazi Campus. Abagenzi kuliko Ezangu Isaac owemyaka 29 ne Mawobe Geoffrey owa 32 nga babadde batuuze ku kyalo Kibubu B, mu Kitega Divizoni ye Kawolo […]
Masaka: Poliisi ekutte 5 abayonoonye ebintu ku Mariaflo
Bya Malikh Fahad Poliisi e Masaka eriko abantu 5 begalidde, nga kigambibwa nti betabye mu kwonoona emmotoka ya poliisi. Bino byabaddewo poliisi bweyabadde egobagana nabategesi bebivvulu e Masaka ku Mariaflo, ku lunnaku Lwabagalana. Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda Muhamad Nsubuga agambye nti poliisi […]
Obukulembeze bwa Amin tebugerageranyizika ku buliwo
Bya Ivan Ssenabulya Minisita omubeezi owensonga zebweru wegwanga Henry Okello Oryem avuddeyo okuvumirira ebikolwa ebikyamu mu gavumenti, okutulugunya nebirala ebityoboola eddembe lyobuntu. Oryem abadde ku NTV amakya ga leero, ngagambye nti obukulembeze bwomugenzi Amin tebugeregeranyizika ku bukulembeze obuliwo. Agambye nti ekitta bantu nekiwamba bantu ebyaliwo […]
Bannadiini banenyezebwa nti tebakoze kimala
Bya Ivan Ssenabulya Munnamateeka awoza emisango gy’eddembe ly’obuntu Benjamin Katana asomozza ekkanisa ne bannadiini awamu, nti tebakoze kimala okulwanyisa obutali bwenkanya mu gwanga. Katana agambye nti enfunda eziwera banadiini betabye nemu kulya ebijjulo ne gavumenti nebabasirisa, nebatasobola okwogera ku bikolwa ebikyamu. Ono abadde ayogera ku […]