Bya Ritah Kemigisa
Egwanga lya Pakistani liri mu ketalo okuggulawo ekitebbe kyalyo mu Kampala ku ntandikwa y’omwezi ogujja omwaka guno 2022.
Agha Aslam, nga ye mukwanaganya wemirimu ku kibiina kya Pakistan Association of Uganda, agambye nti omukolo gujja kuberawo mu wiiki esooka eya March.
Agambye nt balindiridde Irfan Wazir, omumyuka wakulira emirimu ku kitebbe kya Pakistan mu kibuga…
Bya Ivan Ssenabulya
Okunonyereza kwa poliisi nakakiiko aka State House Anti-corruption Unit kugenda mu maaso, ku misango egyekuusa ku bufere nobukumpanya okutrwala ettaka yiika 28 e Mukono.
Wiiki ewedde, poliisi yakutte munnamateeka Kenneth Nsubuga Sebagayunga, nabantu abalala okwabadde Zahura Shamim, Hakim Bigomba ne Musa Lukungu nebasimbibwa mu kooti.
Baavunaniddwa obufere, okujingirirra ebiwandiiko nokwekobaana okuzza omusango bwebaali bafuna ekyapa…
Bya Barbra Nalweyiso
Minisita w’eby’ettaka Judth Nabakooba Nalule ayingidde mu nkayana z’ettaka eryagabibwako ebyapa e Kyatebe mu ggombolora y’e Nalutuntu mu disitulikiti ye Kassanda.
Minisita okugenda e Nalutuntu kiddiridde abantu baayo okwekubira enduulu oluvannyuma lw’abantu 2; okuli David Kabagambire ne Hajj Faiz Mohamed Wasswa okufuna ekyapa kya Freehold ku ttaka lino mu mankwetu nga beeyambisa akakiiko k’eby’ettaka…
Bya Benjamin Jumbe
Abakugu era abalondoola ensonga zebyokwerinda, bagamba babusabuusa omukago ogwatondedwawo amawanga ku byokwerinda ogwa Africa Global Security Foundation.
Omukago guno gwatandise nensi 5 okuli; Congo Brazaville, DRC, Mauritius, Senegal, Togo ne Uganda nga gwatongozebwa wiiki ewedde mu kibuga Dakar e Senegal.
Eyali ssabaminisita wegwanga John Patrick Amama Mbabazi ye ssentebbe womukago eyasokedde ddala.
Bwabadde ayogerako naffe Prof…
Bya Ritah Kemigisa
Minisita omubeezi owensonga zebweru wegwanga, avunanyizbwa ku nkolagana yamawanga Henry Okello Oryem ategezezza nga Uganda weri mu nteseganya ne balirwana aba Democratic Republic of Congo, ku nnamula eyabawereddwa kooti yensi yonna eya International Criminal court of Justice (ICJ).
Kooti yalamudde, nebalagira Uganda okusasaula obukadde bwa $ 325 okuliwa eri DR-Congo olwokumenya amateeka ku mutendera…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu disitulikiti ye Buikwe etandise okunonyereza kubwa kondo, nobutemu obukoleddwa ku bakuumi 2 ku ssomero lya Naalya SS Lugazi Campus.
Abagenzi kuliko Ezangu Isaac owemyaka 29 ne Mawobe Geoffrey owa 32 nga babadde batuuze ku kyalo Kibubu B, mu Kitega Divizoni ye Kawolo mu munisipaali ye Lugazi.
Ettemu lino libaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero, ngemirambo gyabwe…
Bya Malikh Fahad
Poliisi e Masaka eriko abantu 5 begalidde, nga kigambibwa nti betabye mu kwonoona emmotoka ya poliisi.
Bino byabaddewo poliisi bweyabadde egobagana nabategesi bebivvulu e Masaka ku Mariaflo, ku lunnaku Lwabagalana.
Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda Muhamad Nsubuga agambye nti poliisi yayitiddwa nekuba omukka ogubalagala, okukakanya abantu ababadde batandise okukola effujjo nokwasa obutebe.
Abantu babadde…
Bya Ivan Ssenabulya
Minisita omubeezi owensonga zebweru wegwanga Henry Okello Oryem avuddeyo okuvumirira ebikolwa ebikyamu mu gavumenti, okutulugunya nebirala ebityoboola eddembe lyobuntu.
Oryem abadde ku NTV amakya ga leero, ngagambye nti obukulembeze bwomugenzi Amin tebugeregeranyizika ku bukulembeze obuliwo.
Agambye nti ekitta bantu nekiwamba bantu ebyaliwo ku mulembe gwa Amin, byakolebwanga gavumenti okwawukana ku bikolwa ebitonotono ebiriwo, ebikolebwa abantu…
Bya Ivan Ssenabulya
Munnamateeka awoza emisango gy’eddembe ly’obuntu Benjamin Katana asomozza ekkanisa ne bannadiini awamu, nti tebakoze kimala okulwanyisa obutali bwenkanya mu gwanga.
Katana agambye nti enfunda eziwera banadiini betabye nemu kulya ebijjulo ne gavumenti nebabasirisa, nebatasobola okwogera ku bikolwa ebikyamu.
Ono abadde ayogera ku mugenzi Janani Luwum eyali Ssabalabirizi wekkanisa ya Anglican, ngamujaguzza namutendereza olw’obuvumu bweyayolesa okuwakanya…
Bya Ivan Ssenabulya
Abamu kuba kansla abatuula ku lukiiko lwa munisipaali ye Mukono bambalidde tawuni kilaaka Godfrey Kisekka ne meeya Erisa Mukasa Nkoyoyo, olwokukolanga emirimu gadibe ngalye.
Bagamba nti bano bekobaana okuwa kampuni 3 omulimu gwokukungaanya kasasairo nokulongoosa ekibuga okuli; De Waste, Bin IT Ug limited ne Namakya Enterprises limited awataali kugoberera mitendera.
Mike Ssegawa, kansala wa Ngandu-Kigombya…