Amawulire
Museveni waakwetaba ku lunnaku lwa Luwum
Bya Tom Angurin Omukulembeze wegwanga Yoweri Kaguta Museveni kikakasiddwa nti wakwetaba mu bikujjuko ebyomulundi ogwa 7, ku lunnaku lwa Arch Bishop Janan Luwum Day, egigenda okuberawo nga 16 February e Kololo. Olunnaku luno lwalangirirwa mu mwaka gwa 2015, nga lukuzibwa buli nga 16 February okujjukira omugenzi. […]
Olwaleero lunnaku lwabagalana
Bya Ritah Kemigisa Bann-Uganda olwaleero begeasse kunsi yonna okukuza olunnaku lwabagalana oba Valentine’s Day. Mu mbeera eno abantu basabiddwa okulaga omukwano eri abalwadde ba epilepsy, ekirwadde kyobwongo naddala mu baana. Olunnaku olwaleero, lwerumu olukozesebwa okwefumintiriza kubulwadde buno olwa International Day of Epilepsy nga lukwatibwa buli […]
Eyakola obwakkondo bamukenderezza ekibonerezo
Bya Ruth Anderah Kooti ejjulirwamu, ekendezezza ekibonerezo ekyemyaka 38 okudda ku myaka 22 ekyali kyaweebwa omusajja ku misango gyokukuba kkondo. Omuvunaanwa Byaruhanga Okot yabba akasimu ka Nokia nemitwalo 6 mu mpeke, nga 12 May 2010 e Mpigi. Kooti enkulu e Mpigi yeyali yamuwa ekibonerezo kino, […]
Kooti ejjulirwamu enywezezza ekibonerezo ku mutemu
Bya Ruth Anderah Kooti ejjulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyemyaka 36 ekyaweebwa omukuumi, olwokutta banne 2 beyali akola nabo, ngoluvanyuma yadduka namasimu gaabwe okwali nensimbi enkalu emitwalo 2. Aria Angelo, omulamuzi wa kooti enkulu e Nakawa Elizabeth Nahamya yeyamuwa ekibonerezo kino ku misango gyobutemu nokukola obwa kkondo. […]
Okuwuliriza emisango gy’okujulira, egy’ebyokulonda kugenda kutandika
Ruth Anderah Entekateeka z’okuwuliriza emisango gy’okujulira, egyebyokulonda egiwera 81 zigenda kutandika mu kooti ejjulirwamu. Omuwandiisi wa kooti ejjulirwamu Susan Kanyange, agambye nti yakulembeddemu abawandiisi ba kooti abalala okuli Dr Alex Mushabe Karocho, Lillian Bucyana ne Henry Twinomuhwezi okulambika obudde nennaku ezokuwulirako emisango gino. Kino mu lulimi […]
Paapa Asabidde Ukraine
Bya Musasai Waffe Omulangira wa kkereziya, Paapa Francis yakulembeddemu abakristu ku kkeziya mu St. Peter’s Square okusabira egwanga lya Ukraine, mu kasirise. Asabye anti bannabyabufuzi basaanye bekube mu mitima, okunonyanga obutebnkevu nemirembe mu kifo kyentalo Bino webijidde nga waliwo obunkenke, amawanga gabazungu galumiriza Russia okwagala […]
Kony bamutaddeko obukadde $ 5
Bya Ivan Ssenabulya Ekitongole kyegwanga lya America, ekikola ku kasiimo nebirabo ku bantu abayigibwa, War Crime Rewards Program wansi wa US State Department battukizza omuyiggo ku Ssabayekera wa Lord’s Resistance Army Joseph Kony. Kony yetagibwa kooti yensi yonna the International Criminal Court, etuula mu kibuga […]
Oluguudo lwa Mityana-Mubende luluddewo nnyo
Bya Barbra Nalweyiso Ekitongole kyenguudo Uganda National Roads Authority mu kulambula enguudo ezikolebwa okuli olwa Mityana-Mubende Road olwa KM 86 n’olwa Kyenjojo –Fort portal road olwa km 50, bazudde nga waliwo ebirumira saako okukola akasoobo nadala ku luguudo lwa Mityana –Mubende. Ngenaku z’omwezi 6 January […]
Abadde ava okulya ewa amaama we, bamutemudde
Bya Barbra Nalweyiso Poliisi e Mityana etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musajja owemyaka 25, Muwonge William bwebafumise ebiso ebyamausse. Omugenzi abadde mutembeeyi wangatto, omutuuze nga mutuuze ku kyalo Kansuleti “A” mu divizoni ye Busimbi e Mityana. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Wamala Rachel […]
Abakulembeze basisinkanye nebasiima Uganda
Bya Juliet Nalwooga Amagye gegwanga aga UPDF ne banaabwe aba Democratic Republic of Congo (FARDC) baasimiddwa olwebikwekweto ebyawamu byebakoze okufuuza abajambula aba Allied Democratic Forces oba (ADF). Okusimibwa kuno kubadde mu lukungaana lwabakulembeze olubadde lukwata k mirembe, nga lwetabiddwamu owa wano Yoweri K Museveni, pwa […]