Amawulire
Olwaleero lunnaku lwa Leediyo
Bya Ivan Ssenabulya Omulereetu oba Radio gwemukutu gwempuliziganya era ensimbuko yokumanyisa abantu ekyakutte ekisooka wakati mu namungi wemikutu egiriwo. Kino kibikuddwa abekitongole kya UNESCO, nga bagamba nti Radio ekyali yamaanyi, kubanga etuuka ku bantu bangi ateera newa nemikisa okumanya ku bintu bingi, okuli okukubaganya ebirowoozo […]
BannaYuganda bawakanyizza ow’eLubowa mu polojekiti endala
Bya Ritah Kemigisa BannYuganda baddukidde ku mitimbagano, okuwakanya ekyakoleddwa gavumenti okutembeeta musiga nsimbi, okukola ekkolero lya kaawa. Minisita webyensimbi, olunnaku lweggulo yatadde emikono ku ndagaano ne Enrica Pinetti, ssentebbe wa booda Boodi owa Uganda Vinci Coffee Company Limited okuzimba ekkolero erisunsula emwanyi nokukola kaawa mu […]
Human Rights Watch Bagala Kakwenza emisango gimujibweko
Bya Ritah Kemigisa Abalwanirizi beddembe ly’obuntu aba Human Rights Watch basabye gavumenti ya Uganda okunonyereza ku bikolwa ebityoboola eddembe lyobuntu ebikolebwa amagye ku bantu babulijjo. Bino webijidde ngekikyasembyeyo ye muwandiisi webitabo, Kakwenza Rukirabashaija agambibwa nti baamutulugunya okumala ennaku 14. Mu kiwandiiko kyebafulumizza, basabye bagumenti okusuula emisango gyonna […]
Sudir awangudde omusango gwa Crane Bank
Bya Ruth Anderah Kooti ensukulumu eragidde Banka yegwanga enkulu, eriyirire Crane Banka, mu musango ogukulungudde emyaka 5 wakati waayo n’omusubuzi Sudhir Ruparelia, eyali nanyini Crane Bank Ltd. Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu Rubby Opio Aweri balamuddde nti Bank of Uganda kubanga bebasazeewo okujjawo omusango gwebaali bajulira […]
Abalokole bagenda kulonda abakulembeze
Bya Ivan Ssenabulya Abasumba babalokole abegattira mu kibiina kya National Fellowship of Born Again Pentecostal Churches batandise ku ntekateka ezinagobererwa mu kulonda obukulembeze obuppya bwekibiina obugya. Ekibiina kino nansangwa kigatta amakamisa emitwalo 3 okwetoloola egwanga lyonna. Bano basinzidde Busega ku Bible League, nga bakulembeddwa akulira […]
Mabirizi bamuyise anyonyole lwaki tebamusiba
Bya Ruth Anderah Kooti enkulu mu Kampala eyise munnamateeka Hassan Male Mabirizi, alabikeko okunyonyola lwaki tebamusiba mu kommera olwokujiyisaamu olugaayi. Ekiwandiiko ekimuyita, kyatereddwako omukono omulamuzi Musa Ssekaana, nga yalagiddwa okweyanjula olwaleero ku ssaawa 9 ezolweggulo. Ssabawolererezawa gavumenti yeyasa kooti, munnamateeka ono asibwe olwengeri gyatyobolamu kooti […]
Tayebwa alabudde aba NRM ku ky’okujjamu Jim Muhwezi obwesige
Bya Benjamin Jumbe Nampala wa gavumenti asabye ababaka ba NRM, obutateeka mikono ku kiwandiiko ekyagala okujjamu minisita webyokwerinda byegwanga obwesige. Ab’oludda oluvuganya gavumenti baatandise okukungaanya emikono, okujjamu minisita Maj Gen Jim Muhwezi obwesige, bagamba nti alemereddwa okumalawo ebikolwa ebyokutulugunya abantu nebirala ebityoboola eddembe lyobuntu. Mu […]
Ab’oludda oluvuganya bawandikidde Germany kubya Kakwenza
Bya Juliet Nalwooga Minisita wensonga zebweru wegwanga mu gavumenti eyekisikirize Nkunyingi Muwada, awakanyizza ebbaluwa eyawandikiddwa gavumenti ya Uganda eri ekitebbe kya Germany ku nsonga zomuwandiisi Kakwenza Rukirabasaija. Omubaka wa Bugiriman Mathias Schauer, nga 28 January yawandikira kooti ya Buganda Road bawe Kakwenza passporta ye, okumuyambako […]
Emorimor yafudde talina lubiri
Bya Benjamin Jumbe Gavumenti esomozeddwa nti okukulakulanya obukulembeze obwenono, kitekebwe ku birubirirrwa byegwanga. Okusaba kuno kukoleddwa, akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathius Mpuuga, palamenti bwebadde etude okusiima nokukungubagira Emorimor Augustine Papa Osuban. Mpuuga agambye nti bangi negyebuli kati tebanasasulwa olwebyobugagga ebyatwalibwa, gavumenti eya wakati. Agambye nti […]
UNEB yatandise okwetegereza ebifo omukolerwa ebigezo
Bya Damalie Mukhaye Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examination Board kitegezezza nga bwekitandise okuddamu okwekennenya ebifo omukolerwa ebigezo oba Examination Centers, okuzongerako nendala okuzigaziya. Kino kyadiridde amasomero agamu okufuna abayizi, omuwendo ogusukiridde, oluvanyuma lwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe. Kinajjukirwa nti ekitongole kya UNEB kyatandise ku […]