Amawulire
Fr Lokodo agenda kuzikibwa olwaleero
Bya Ritah Kemigisa Eyali minisita omukwasisa w’empisa nobuntu bulamu Rev Father Simon Lokodo agenda kuzikibwa olunnaku lwa leero. Rev Father Lokodo weyafiridde, nga kamisona atuula ku kakiiko keddembe lyobuntu aka Uganda Human rights commission, yafiira mu kibuga Geneva e Switzerland, gyebaali bagenze okwetaba mu lukungaana […]
Poliisi ekutte taata ku by’okusobya ku muwala we
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi mu disitulikiti ye Manafwa eriko taata owemyaka 63 gwegalidde olwokusobya ku muwala we. Omukwate mutuuze mu tawuni kanso ye Bubwaya nga kigambibwa yakidde muwala we owemyaka 16, gweyezaliira namusobyako. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika akakasizza okukwatibwa kwomusajja […]
Mukono: Aba boda boda balwanye
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi e Mukono yayitiddwa okutaasa abagoba ba bodaboda ku siteegi ye Bishop Stage, ababadde balwana. Bano ekyabatakudde okulwana, ye defensi wa siteegi eno okukwata omu ku bagoba ba boda, aabtalina siteegi oba ekifo ekyenkalakkalira webakolera bebakazako elra lubyanza natwala ne piiki piiki […]
Kattikiro agenze Buvuma okutongoza ‘Mwanyi Terimba’
Bya Ivan Ssenabulya Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, ebitaddemu engatto nayolekera essaza lue Buvuma, gyagenda okutongoza kawefube wa ‘Mwanyi terimba’ Katikkiro awerekeddwako minisita w’ebyobulimi Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, ow’ebyamawulire Owek Noah Kiyimba, ow’Abavubuka Owek Henry Sekabembe Kiberu, ngeno agenda kulambula nabantu ba Ssabasajja abwangaliira mu […]
Ekitongole ekinarungamya ebisale byobupangisa kyetagisa
Bya Ritah Kemigisa Aba Uganda Consumers’ Protection Association (UCPA), bawabudde nti waliwo obwetaavu, okutondao ekitongole ekyetongodde ekya Rent Regulatory Board, okulungamya nokuteeka mu nkola etteeka lyobupangisa. Ssenkulu wekitongole kino Sam Watasa agambye nti ekitongole kino kyekisaanye okulungamya ensonga yebisale. Agambye nti basobola okugereka ekkomo ku […]
Omukago gwa Bulaaya bazeemu okubanja obwenkanya eri abafiira mu kwekalakaasa kwa Novemba 2020
Bya Ritah Kemigisa Omukago gwa Bulaaya batadde gavumenti ya Uganda ku nninga, okukola okunonyereza okwanamaddala ku bikolwa byonna ebityoboola eddembe lyobuntu, ebibaddewo okuva mu Novemba wa 2020. Zaali ennaku zomwezi 18 nenkeera waalwo nga 19, mu kegugungo ka Bobi Wine abantu 54 nebattibwa. Kino era […]
Amagye ga UPDF mu AMISSOM gajaguzza Tareh-Sita
Bya Ivan Ssenabulya Amagye gegwanga aga UPDF wansi womukago gwa African union mission in Somalia (Amisom) bagasse ku banaabwe okujaguza, olunnaku lwa Tarehe Sita Day. Olunnku luno lukwatibwa buli nga 6 February, okujjukira obulumbaganyi abayekera ba NRA, bwebakola obwasooka ku nkambi ye Kabamba, eyali entandikwa […]
Amattikira g’eMakerere gaamu May
Bya Damalie Mukhaye Ettendekero lye Makerere liraze ennaku ezamattikira ag’omulundi ogwa 72, mwebagenda okuttikira abayizi abali mu mutwalo 1 mu 4,000 mu masomo agenjawulo. Mu kiwandiiko ekyafulumye, nekiwerezebwa abaddukanya amatendekero namatabi agenjawulo, amattikira gajja kutandika nga 23 May 23 mu Kampala, gakomekerezebwe nga 27 omwezi […]
Aba NUP balayidde obutateesa na gavumenti
Bya Ivan Ssenabulya ne Christine Nakyeyune Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti balayidde nti akediimo kaabwe, kaakugenda mu maaso okumala wiiki 2 okutuusa gavumenti lwenayanukula ku nsonga zaabwe, zebemulugunyako. Ab’oludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu abakulira Mathiaus Mpuuga, wiiki ewedde bekanadagga nebafuluma palamenti nga bawakanya ekyokutulugunya abantu, […]
Ab’e Butoloogo bagala kwekutula ku Mubende
Bya Barbra Nalweyiso Abatuuze abawangaalira mu muluka ogw’e Kannyogoga mu ggombolora y’e Mududu basabye okukyusa ensalo za district y’e Mubende badde e Kassanda, bagamba nti Mubende ebasuliridde nnyo. Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu bweyali eramba ensalo za districts ebbiri, Kassanda yatwala eggombolora y’e Kalwana Mubende nesigaza […]