Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu disitulikiti ye Manafwa eriko taata owemyaka 63 gwegalidde olwokusobya ku muwala we.
Omukwate mutuuze mu tawuni kanso ye Bubwaya nga kigambibwa yakidde muwala we owemyaka 16, gweyezaliira namusobyako.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika akakasizza okukwatibwa kwomusajja ono.
Ategezezza ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Mukono yayitiddwa okutaasa abagoba ba bodaboda ku siteegi ye Bishop Stage, ababadde balwana.
Bano ekyabatakudde okulwana, ye defensi wa siteegi eno okukwata omu ku bagoba ba boda, aabtalina siteegi oba ekifo ekyenkalakkalira webakolera bebakazako elra lubyanza natwala ne piiki piiki ye.
Bano balangide abakulembe baabwe olwokweyagaliza nokubasabanga sente enyingi okubawa siteegi, ekibavirako okwewala…
Bya Ivan Ssenabulya
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, ebitaddemu engatto nayolekera essaza lue Buvuma, gyagenda okutongoza kawefube wa ‘Mwanyi terimba’
Katikkiro awerekeddwako minisita w'ebyobulimi Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, ow'ebyamawulire Owek Noah Kiyimba, ow'Abavubuka Owek Henry Sekabembe Kiberu, ngeno agenda kulambula nabantu ba Ssabasajja abwangaliira mu biznga okulaba embeera gyebalimu.
Mu lugendo luno, era kugendeddeko Ssenkulu wa Bboodi eya…
Bya Ritah Kemigisa
Aba Uganda Consumers' Protection Association (UCPA), bawabudde nti waliwo obwetaavu, okutondao ekitongole ekyetongodde ekya Rent Regulatory Board, okulungamya nokuteeka mu nkola etteeka lyobupangisa.
Ssenkulu wekitongole kino Sam Watasa agambye nti ekitongole kino kyekisaanye okulungamya ensonga yebisale.
Agambye nti basobola okugereka ekkomo ku bisale, okwewala ba nnyini mayumba okwongeza buli lwebagalidde.
Ebbago lya Landlord and Tenant Bill,…
Bya Ritah Kemigisa
Omukago gwa Bulaaya batadde gavumenti ya Uganda ku nninga, okukola okunonyereza okwanamaddala ku bikolwa byonna ebityoboola eddembe lyobuntu, ebibaddewo okuva mu Novemba wa 2020.
Zaali ennaku zomwezi 18 nenkeera waalwo nga 19, mu kegugungo ka Bobi Wine abantu 54 nebattibwa.
Kino era kyagobererwa nokubuzibwawo kwabantu mu bitundu ebyenjawulo, abagambibwa nti abasinga baali baaludda oluvuganya.
Mu kiwandiiko…
Bya Ivan Ssenabulya
Amagye gegwanga aga UPDF wansi womukago gwa African union mission in Somalia (Amisom) bagasse ku banaabwe okujaguza, olunnaku lwa Tarehe Sita Day.
Olunnku luno lukwatibwa buli nga 6 February, okujjukira obulumbaganyi abayekera ba NRA, bwebakola obwasooka ku nkambi ye Kabamba, eyali entandikwa yolutalo olwakulungula emyaka 5.
Olutalo luno lwerwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza, mu…
Bya Damalie Mukhaye
Ettendekero lye Makerere liraze ennaku ezamattikira ag’omulundi ogwa 72, mwebagenda okuttikira abayizi abali mu mutwalo 1 mu 4,000 mu masomo agenjawulo.
Mu kiwandiiko ekyafulumye, nekiwerezebwa abaddukanya amatendekero namatabi agenjawulo, amattikira gajja kutandika nga 23 May 23 mu Kampala, gakomekerezebwe nga 27 omwezi gwegumu.
Bino webijidde ngabayizi ba MUBs bakyagenda mu maaso nokukola ebigezo byabwe, era…
Bya Ivan Ssenabulya ne Christine Nakyeyune
Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti balayidde nti akediimo kaabwe, kaakugenda mu maaso okumala wiiki 2 okutuusa gavumenti lwenayanukula ku nsonga zaabwe, zebemulugunyako.
Ab’oludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu abakulira Mathiaus Mpuuga, wiiki ewedde bekanadagga nebafuluma palamenti nga bawakanya ekyokutulugunya abantu, okubuzibwawo kwabantu nebirala.
Bawakanya nokuggalira ababaka banaabwe Allan Ssewanyana ne Muhamad Ssegirinya, kooti…
Bya Barbra Nalweyiso
Abatuuze abawangaalira mu muluka ogw’e Kannyogoga mu ggombolora y’e Mududu basabye okukyusa ensalo za district y’e Mubende badde e Kassanda, bagamba nti Mubende ebasuliridde nnyo.
Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu bweyali eramba ensalo za districts ebbiri, Kassanda yatwala eggombolora y’e Kalwana Mubende nesigaza Butoloogo, wabula bagamba district tebafuddeeko kubawa buwereza.
Bagamba nti tebalina amazzi mayonjo, enguudo…
Bya Ndhaye Moses
Omuyambi era omukunzi wobuwagizi eri pulezidenti Museveni, munna NRM alajana afune obuyambi.
Nakagiri Rehmah Kyeyune owemyaka 65 yalwala enkizi, kati ali ku kistuliro mu ddwaliro e Mulago wiiki ziweze 2, okuva lwebamujja mu ddwaliro lyamagye e Bombo ngembeera ye, eyongedde okwononeka.
Bwabadde ayogerako naffe Nakagiri nyonyodde nti ali mu bulumi, talina ssente zabujanjabi nokubezaawo amaka…